TOP
  • Home
  • Amawulire
  • FDC etiisizza okukolawo akatiisa ku ttemu ly'okuwamba abawala erikudde ejjembe

FDC etiisizza okukolawo akatiisa ku ttemu ly'okuwamba abawala erikudde ejjembe

Added 14th May 2018

FDC enenyezza gavumenti olw’okulemwa okumalawo ekittabantu n’egamba nti obukulembeze bwayo bugenda kwesogga akafubo okutema empenda z’okusalira ensonga eno amagezi awatali kuddamu kulinda gavumenti gye bagamba nti erabika eremeddwa.

 Omwogezi wa FDC Ssemujju Nganda ng’ayogera eri bannamawulire. Ku ddyo ye mumyuka wa Ssabawandiisi w’ekibiina Harold  Kaija.

Omwogezi wa FDC Ssemujju Nganda ng’ayogera eri bannamawulire. Ku ddyo ye mumyuka wa Ssabawandiisi w’ekibiina Harold Kaija.

FDC era etegeezezza nti eri mu nteeseganya ne JEEMA okulaba nga basimbawo omuntu omu ku bubaka bwa Palamenti obw’ekibuga Bugiri mu kulonda okubindabinda.

Kyokka bagambye nti mu kulonda kw’okujjuza ababaka okugenda okubaawo mu Munisipaali zonna empya bagenda kusimbawo abaabwe.

Omwogezi wa FDC, Ibrahim Semuju Nganda eyabadde ne banne ku kitebe ky’ekibiin e Najjanakumbi bino ye yabitegeezeza bannamawulire ku Mmande.

Semuju yanenyezza Pulezidenti Museveni ne Gavumenti olw’okulemererwa okumalawo ettemu ly’ebijambiya n’okuwamba abakazi ng’abakikola basaba ab’enganda ssente.

‘’Pulezidenti Museveni yakyusa Minisita (w’obutebenkevu Brig. Henry Tumukunde) n’omuduumizi wa poliisi (Gen. Kale Kayihura  ) kyokka tewali kikyuse ettemu ligenda maaso.

Abakulembeze ba FDC bagenda kukubaganya ebirowoozo ku nsonga eno n’oluvannyuma babuulire ensi ekiddako, " Semuju bwe yagambye.

Yeemulugunyizza ku mbeera y’ebyenfuna eriwo mu ggwanga gye yagambye nti ereetedde bizinensi ezimu okuggalawo n’agamba nti tekyewuunyisa n’ekitebe kya UN okutiisa okuggalawo ofiisi zaakyo.

Yagambye nti mu kifo ky’okutumbula ebyenfuna Gavumenti yemalidde ku kusindika bajaasi baayo kutawulula nkaayana z’amawanga ga mulirwano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

KCCA ewaddeyo ekitundu kya ...

EKITONGOLE kya KCCA kyaddaaki kiwaddeyo ekitundu ku kibangirizi kya Centenary Park eri ekitongole ekivunaanyizibwa...

Pulaani y'okulonda mu 2021 ...

KU Lwokuna nga January 14, 2021 lwe lunaku lw’okulonderako ababaka ba Palamenti mu ggwanga lyonna. Omulamuzi Simon...

OC asse omutuuze e Lugala -...

OLUTALO poliisi mwe yakubidde omutuuze amasasi n’afiirawo lwatandise na kusobya ku mukazi eyakedde okugenda okukola...

Poliisi ewadde gwe yakuba e...

Poliisi yeetondedde omukazi omukadde eyakwatibwa ku katambi nga ofiisa waayo amuweweenyula kibooko.

Jjingo mutabani wa Yiga Mbizzaayo

Taata akyali mulamu tteke -...

Mutabani wa Paasita Yiga akakasizza nti kitaawe akyali mulamu katebule.