TOP

Katumba Wamala aggyeewo paaka ya Lubigi

Added 14th May 2018

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo, Gen. Katumba Wamala alagidde ppaaka ya Lubigi eggyibwewo kisobozese emirimu gy’okukola oluguudo lwa Nansana - Busunju okutambula obulungi.

 Gen. Katumba (owookubiri ku kkono) mu kutongoza omulimu gw’okukola oluguudo. Wakati ye meeya Regina Bakitte addiriddwa omubaka Robert Kasule ne Haji Abdu Kiyimba (ku ddyo). Ku kkono ye Betty Naluyima.

Gen. Katumba (owookubiri ku kkono) mu kutongoza omulimu gw’okukola oluguudo. Wakati ye meeya Regina Bakitte addiriddwa omubaka Robert Kasule ne Haji Abdu Kiyimba (ku ddyo). Ku kkono ye Betty Naluyima.

Yategeezezza nti ppaaka eno eriwo mu bukyamu kuba eri mu lutobazzi era abaagiteekawo baakola kikyamu.

“Enkulungo y’e Namungoona ku luguudo lwa Northern Bypass ne Hoima Road yaggyiddwaawo kuba enguudo zigenda kubaako nnyingi ezeetooloola mu pulojekiti empya ey’okulongoosa Northern Bypass nga singa esigalawo eyinza okulemesa omulimu guno okutambula obulungi.

Aba takisi bagende mu ppaaka ya Munisipaali y’e Nansana,” Minisita Katumba bwe yategeezezza.

Yabadde atongoza omulimu gw’okukola oluguudo lwa Nansana –Wamala- Katooke Jinja Kalooli okulaba nga luyiibwa kkoolaasi.

Minisita era yasabye abantu obutayiwa kasasiro mu nguudo kuba kivaako emifulejje okuzibikira, enguudo ne zoonooneka n’awa eky’okulabirako ky’oluguudo lwa Nansana - Busunju olubatawaanyizza ennyo olw’abantu obutafaayo kululabirira n’okumanya ebirwonoona babyewale.

Minisita yeeyamye okukolera awamu n’abakulembeze mu munisipaali y’e Nansana okulaba ng’oluguudo lukolebwa nga tewali kutaataaganyizibwa era n’ayanjula n’ebyuma ebipya ebyaleeteddwa okukola oluguudo bye yakwasizza munisipaali.

Meeya wa munisipaali y’e Nansana, Regina Bakitte yategeezezza nti oluguudo luno luliko kiromita 9 era nga baakulukola mu bitundu okutuusa nga luwedde.

“Nsaba n’abantu batandike okuzimba ebizimbe ebiri ku mutindo kuba oluguudo bwe lunaakolebwa, bizinensi ez’amaanyi ze twagala okukolerako,” Bakitte bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...