TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu Ssenga tukulaze engeri akaboozi lwe kayinza okutabula amaka

Leero mu Ssenga tukulaze engeri akaboozi lwe kayinza okutabula amaka

Added 15th May 2018

Leero mu Ssenga tukulaze engeri akaboozi lwe kayinza okutabula amaka

 Omusajja ng’agezaako okwegayirira mukyala we.

Omusajja ng’agezaako okwegayirira mukyala we.

ENSONGA z’ekisenge kye kimu ku biyinza okutabula oba okutebenkeza amaka. Emirundi mingi ku bafumbo bwe kubaako agaana oba eyekuluntaza ku nsiitaano y’omukwano, embeera y’awaka ebeeramu okuyomba, okugaana okutuukiriza obuvunaanyizibwa oba okulwana!

Kino tekikoma kukosa bafumbo bokka naye oluusi kizingiramu n’abaana oba abantu abalala abali awaka. Ku ludda lw’omukyala singa omusajja alemwa okukiika mu buliri oba okukola emirimu egy’ekibogwe, omuwulirira ku kuyomba buli kaseera oluusi n’okukuba abaana. ‘Birabe byayinga kubutika matama nga kitaawe waabyo.

Nze nabakoowa okunnumya omutwe nga kitammwe…’ Abalala bongerezaako okubapacca empi, kibooko oba okukasukira omwana ekintu ssinga amanya nti tajja kusobola kumugoba.

Bw’aba musajja nga y’ammiddwa akaboozi, atera okubeera omukambwe awaka, oluusi n’asalawo kusirika ng’ebigambo bibeera bibale ate abalala ne bazza tulo awaka. Mulimu n’abagaana okugula eby’awaka nga buli kye bamusaba awoza ngabw’atalina ssente.

Olwo abaana awaka abatamanyi kigenda mu maaso badda mu kwebuuza ekyatuuse ku bazadde anti bayitirizza okubakuba, okuyomba n’okubeera abakambwe. Leero nga tujaguza olunaku lw’ensi yonna olw’amaka tukulaga engeri ensonga z’omu kisenge gye ziyinza okumalawo emirembe mu maka oba okugatebenkeza. Omulamwa gw’olunaku luno guli nti: “Obuvunaanyizibwa bw’amaka mu nsi eringa ekyalo ekimu.” Gavumenti etegese okuleeta enkola eneegobererwa mu maka ng’eno esuubirwa okutongozebwa leero ku kisaawe e Kasana mu disitulikiti y’e Luweero mu kujaguza olunaku lw’amaka mu nsi yonna.

 Mary Nakawuk ng’annyonnyola

EBIVAAKO EMBEERA ENO Dan Ddamulira abuulirira abafumbo n’abali mu mukwano owa Nana Counseling Services agamba oluusi embeera y’okukambuwala, okuyomba oba okulwana olw’omu ku baagalana okumma munne akaboozi eva ku kusuubiriza nti munne osanga alina omulala gw’awa omukwano gwe.

Abalala bakikola mu kwesasuza nga waliwo ky’otatuukiriz- za, okufunamu obutakkaanya oba okukukwatira mu bwenzi ng’ekimu ku bibonerezo kya kukuba munne mugongo.

Ddamulira agamba nti abakazi abamu abata-manyi kuyomba, okulwana oba obusungu okubumalira ku baana, embeera y’omusajja obutakiika mu kisenge bagizza mu kubuuza baami baabwe nti ‘Oba baani abo abaakusigula ne bakunneerabiza….

Ndowooza ssente zonna kati ozimalira mu baggya bange…. naye nabo ekiseera kijja kutuuka obakoowe.’’

EBIYINZA OKUTEREEZA EMBEERA Wabula Ddamulira agamba nti oluusi tebubeera bwenzi naye waliwo abakola ennyo oba nga balina obuvunaanyizibwa obuwerako nga waddira awaka abeera akooye n’atasobola kwetaba mu bikolwa by’abafumbo. Wabula agamba nti okubeera n’amaka agatebenkedde buli omu alina okufi ssizaawo munne akadde n’atamukandaaliriza kumala mwezi oba okusukkawo.

Agamba nti ate kibeera kibi omusajja ng’akandaalirizza munne ate okumuddangako okumuvuma nad-dala nga bali mu kisenge oba ng’asabye munne beewuubemu.

Agamba nti embeera eno esindika abamu okwenyigira mu bwenzi ekiyinza okwongera okutabula amaka naddala ng’omu ategedde oba ng’awakankuddeyo obulwadde nga siriimu.

Awa abafumbo amagezi okukola ebizza omukwano ng’okutonera abaagalwa baabwe obulabo, okubawaana, okubawa ku nsimbi n’okubatwala okucakalamu ne beemalako situleesi. Ate Benah Nakazibwe, 66, ow’e Lukaya mu Kalungu agamba nti edda omwami yabeeranga mwami mu maka so si nga bino eby’okwefuula kyebatali.

Benah Nakazibwe awabudde.

 

Ekimu ku byalaganga obujjuvu bw’omusajja mu bufumbo kwe kutuukiriza obulungi obuvunanyizibwa bw’ekisenge era nga y’ensibuko y’essanyu awaka. Enkolagana n’empuliziganya ebitaliimu bukuusa byabangawo wakati w’omukyala n’omwami we, ekitegeeza nti omusajja lw’ataasobolanga kukiika bulungi mu kisenge omukyala yamanyanga ensonga era n’esalirwa amagezi. Naye ebya leero buli muntu asiriikirira munne n’ekiva mwebyo bwe bwenzi obuliwo kati. Bakojja ne bassenga baakolanga emirimu gyabwe naddala mu kiseera ng’omwana omulenzi oba omuwala boolekedde obufumbo ne bamanya ku bulikye balina okukolera okusoomozebwa kwe banaasanga mu maka, naye ebyaleero omukyala bba bw’atacanga bulungi kapiira mu kisaawe, addukira mu banne ab’emizigo oluusi abatamuwa magezi matuufu.

Abasajja b’ennaku zino bangi amaaso gabali nnyo mu ngalo ekitaaliwo edda omusajja bwe yeekuumiranga omwagalwa we nga ne bw’abeera ku safari wadde afuniddeyo okusoomoozebwa yagumiikirizanga n’akomyawo oluwombo awaka nga sirusumulule naye kati kizibu. Okusajjalaata kwafuuka okusajjalaata kyokka ng’abamu tasobola kulwana ‘ntalo’ zisukka mu lumu! Ku ludda lw’abakyala okukola ennaku zino bakukulembeza nnyo okusinga amaka n’abaami baabwe.

Olumu omusajja y’asooka n’okutuuka awaka n’omukyala bw’akomawo munne n’amugamba ku nsonga z’ekisenge nga yeefuula akooye ennyo. Bino bimalamu abaami amaanyi ekivaamu okutandikanga okuyitirako ebbali. Omukyala ne yeesanga nga lw’ayagadde okumutakula ate omwami si by’abaako kati amaka ne gatandikira awo okutabuka.

Mpagira abakyala okukola naye wabeewo n’okulowooza ku maka gammwe kubanga naffe edda twakolanga naye nga n’amaka gasigala gatebenkedde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...