TOP

Lwaki nzigwaamu mangu amaanyi?

Added 15th May 2018

Lwaki nzigwaamu mangu amaanyi?

LWAKI mmalamu mangu akagoba ate ne nzigwaamu amaanyi ku luutu emu yokka. Nnina emyaka 16. MWANA wange ng’otandise mangu okwegatta! Oli mwana mulenzi era sigaanyi gwe olina okukwana naye okyali muto.

Ssinga ofunyisa omuwala olubuto, ddala otuuse okubeera n’amaka? Okufuna obwagazi tekitegeeza nti otuuse okwegatta wabula kitegeeza nti omubiri gutandise okwetegekera okufuuka omusajja era n’okuzaala.

Kya butonde okufuna obwagazi naye okwegatta kubeerawo ng’omanyi n’obuvunaanyizibwa. Okutuuka amangu ku ntikko kya butonde olw’obwagazi bw’obeera nabwo era nsuubira nti watandika okwerooterera.

Okwerooterera kitegeeza nti entula zo zitandise okukola amagi g’ekisajja. Era bwe gayitirira gafuluma gokka. Naye eky’okutandika okwegatta ng’olina emyaka 16 kikosa bulamu bwo.

Okimanyi nti abavubuka abaatandika okwegatta nga bato kyangu okulwala siriimu kubanga akasusu ku busajja kabeera kaweweevu ate n’ekirala kyangu n’okufuna kookolo w’obusajja. Kale ku myaka gyo emito gityo wandibadde olindako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oba Daddy Andre ne Nina Roz...

Getwakafuna ge g’omuyimbi ow’erinnya Daddy Andre alabikidde mu bifaananyi ku mukutu gwa Twitter ng’ali n’omuyimbi...

Chanddiru ne mukwano gwe ng'amubudaabuda.

Omusomesa eyakubiddwa ttiya...

OMUSOMESA eyakubiddwa akakebe ka ttiyaggaasi mu liiso alongooseddwa n’akukkulumira poliisi olw’obuvune bwe yamutuusizzaako...

Musumba munsabireko embeera...

WALIWO enjogera egamba nti mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera. Enjogera eno yatuukidde bulungi ku muyimbi Sofie...

Ab'e Mbale basabye Kiwanda ...

ebyetaaga okutumbula mulimu; ekkuumiro ly’ebisolo erya Elgon National Park, ebiyiriro by’e Sipi, olusozi Masaba...