TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Bakomando ba Yisirayiri batemudde Abapalasitina 60

Bakomando ba Yisirayiri batemudde Abapalasitina 60

Added 16th May 2018

BAMUNTUNSOLO ba Yisirayiri bataamye ne batta Abapalasitina 60 n’okulumya abalala 2,400 wakati mu kwesooza kw’amasasi n’ebikompola. Byabadde ku nsalo ya Yisirayiri ne Palesitine mu kitundu ky’e Gaza.

Olutalo n’okwekalakaasa kwavudde ku Katikkiro wa Yisirayiri Benjamin Netanyahu okutongoza ekitebe kya Amerika mu kibuga Yerusalemi okuva e Telaviv gye kibadde.

Okuva Amerika lwe yalangirira nti ekitebe kyayo ekiggye e Telaviv n’ekizza e Yerusalemi, Abapalasitina bazze bakiwakanya n’amawanga amalala nga bakiyita kuyiikiriza n’okusosonkereza kwa Yisirayiri okuddira ekibuga bbo kye bagamba nti tekirinaako buyinza ekya Yerusalemi okukifuula ekyayo.

Mu December w’omwaka oguwedde, Amerika yalangirira nga bw’etongozza Yerusalemi okuba ekibuga kya Yisirayiri ekikulu.

Emikolo gy’okutongoza ekitebe kya Amerika mu Yerusalemi gyakoleddwa omubaka wa Pulezidenti Trump ow’enjawulo mu kyondo kya Buwarabu Ivanka Trump ne bba era mukoddomi wa Trump Jared Kushner.

Olunaku lw’eggulo nga beetegekera okutongoza ekitebe kya Amerika, Yisirayiri yategese bamuntunsolo baayo abakambwe ne beetegeka ku nsalo zonna nga babagalidde emmundu zimutasubwa nga balinda ekiddako.

Abapalasitina nga bakozesa envuumuulo okukuba abajaasi ba Yisirayiri.

Olwamaze okutongoza ekitebe, akulira akabinja k’abayeekera aka al-Qaeda ayitibwa Ayman al-Zawahiri n’alangirira nti kati olutalo lutandise abantu abasoba mu mitwalo esatu ne beeyiwa ku nguudo mu Palesitine, Gaza n’awalala ne batandika okwekalaakasa n’okukasuka amayinja ku nsalo ya Yisirayiri.

Wano bamuntunsolo baabaanukuzza bukambwe ne batandika okubakubamu amasasi ne ttiyagaasi okumala essaawa okukkakkana ng’emirambo 60 gigudde, 2400 banyiga biwundu.

Pulezidenti wa Russia Vladimir Putin yategeezezza nti ekikolwa kya Amerika okutongoza Yerusalemi ng’ekibuga ekikulu ekya Yisirayiri n’okuzzaayo ekitebe kyayo n’okukitongoza n’ekitongoza kabonero akagenderedde okutabangula emirembe mu kitundu kino.

Palesitine ne Iran zaakivumiridde era ne zirangira Katikkiro Netanyahu okuba omulalu.

Kyokka bino Netanyahu tebyamukanze era yagenze mu maaso n’okuwaga nti tewali agenda kubatiisatiisa era buli anaakola effujjo bakomando be bagenda kumutta awatali kusaasira n’ayozaayoza amagye ge olw’ekikwekweto kye baakoze ku nsalo omwafiiridde abantu.

Jared Kushner ne mukyala we Ivanka Trump (wakati) abaatongozza ekitebe kya Amerika.

Netanyahu yayongeddeko nti okumanya kati tasiika binyomo, tagenda kussa mmundu okutuusa ng’amaze Assad owa Syria n’abamuwaga bonna amampaati n’alangirira nti bwe kiba kyetaagisa agenda kusindika bamuntunsolo be mu Syria batemule Pulezidenti Assad ekiba kibe.

Yamalirizza agamba nti ekinaawonya effujjo mu kyondo kya Buwarabu kuggyawo Assad, abamuwagira n’okumupokera ebyokulwanyisa “beesootinge”.

Ekibiina kya Arab Leaugue ekikola ku nsonga za Buwarabu kirangiridde olukung’aana ggaggadde mwe kigenda okuyita okuvumirira ekikolwa kya Yisirayiri ne Amerika kye bayise okutabangula ekitundu kyabwe.

Kyokka Katikkiro Netanyahu yabaanukudde ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Twitter nti olukung’aana lwe bategese alulindiridde n’amaddu kyokka bamanye nti buli ggwanga lirina obuvunaanyizibwa okukuuma ensalo zaalyo era ekyo Yisirayiri ky’ekolera ddala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...