TOP

Abagambibwa okutta owa Monitor babasindise Kigo

Added 17th May 2018

Abagambibwa okutta owa Monitor babasindise Kigo

 Kaaya (ku kkono), Najjuma wakati ne nnyabwe Namugenyi nga bali mu kkooti e Wakiso.

Kaaya (ku kkono), Najjuma wakati ne nnyabwe Namugenyi nga bali mu kkooti e Wakiso.

ABAGAMBIBWA okutta eyali omukozi mu kkampuni ya Daily Monitor, Abel Katende, eggulo (Olwokusatu) baasindikiddwa ku limanda mu kkomera e Kigo gye banaggyibwa batwalibwe mu kkooti.

Abaasindikiddwa e Kigo kuliko, nnamwandu w’omugenzi, Janet Namugenyi 52 n’abaana b’omugenzi okuli Gideon Kaaya (18) ne Lillian Najjuma (29) nga bano kigambibwa nti be baali mu lukwe lw’okumutta. Bano baatuusiddwa ku kkooti e Wakiso ku ssaawa 3:00 ez’oku makya era nga ku ssaawa 6:00 baatwaliddwa mu maaso g’omulamuzi omukulu owa kkooti y’e Wakiso, Dorothy Lwanga wakati mu bukuumi obw’amaanyi eri abaserikale b’amakomera.

Omulamuzi Lwanga yabasomedde omusango guno era oluvannyuma n’ababuuza obaomusango ogubasomeddwa bagutegedde. Nnamwandu Namugenyi yategezezza nti eby’ogeddwa abitegedde era omulamuzi teyabakkirizza kwewozaako n’abasindika mu kkomera e Kigo okutuusa nga May 30, 2018 lwe bagenda okukomezebwawo.

“Eno kkooti terina buyinza buwozesa musango guno era kkooti Enkulu yokka y’erina obuyinza okubawozesa nga mu kino mbasindise ku limanda e Kigo gye munaavanga okuleetebwa mu kkooti okutuusa nga poliisi ekuηηaanyizza obujulizi bwonna obukwata ku musango guno olwo mutwalibwe mu kkooti Enkulu.” Omulamuzi Lwanga bwe yategeezezza.

Omugenzi Katende yattibwa nga April 27, 2018 ku kyalo Busaawa mu Ggombolola y’e Masuliita mu disitulikiti y’e Wakiso, omulambo gwe ne gusuulibwa mu kaabuyonjo. Mu kiseera kino, poliisi ey-igga abooluganda lw’omugenzi abalala abeenyigira mu kutta kitaabwe okuli, Charity Nabukalu ne Barbra Nabanjala nga bano beekobaana n’omuserikale ku poliisi y’e Katooke, Alex Kagimu ng’ono yakwatiddwa era akuumibwa ku poliisi y’e Kawempe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agugulana ne KCCA atiisizza...

HAJJI Rashid Ssenyonjo Musisi atiisizza okukung'anya famire ye batuule mu luguudo ompi n'amayumba ge e Lweza...

Trump anywezezza ebyokwerin...

Abaserikale abamukuuma beebulungudde White House okuva mu ggye erimanyiddwa nga The Washington, DC National Guard,...

 Mwamula Juma, the UPTU General Secretary speaking the press in Kampala. Looking on is a member of UPTU. Courtesy photo

Uganda Private Teachers Uni...

Mwamula Juma, the UPTU General Secretary said the government directive is more of a populist voice than a realistic...

 Kayiwa

Munnamakolera asabye Gav't ...

MUNNAMAKKOLERO Steven Kayiwa nga y'akiikirira Bannamakkolero mu lukiiko lwa Buganda olukulu asabye gavumenti eyawakati...

Bagabidde abakozi b'Abachin...

MINISITULE y'ebyobulamu egabidde abakozi mu b'omu nnimiro z'abachina abalimira omuceere mu Lwera n'abavubi b'oku...