
Minisita Bahat
MINISITA omubeezi ow’ebyenfuna n’okuteekerateekera eggwanga, David Bahati agambye nti Gavumenti tegenda kuteeka musolo ku buli SACCO wabula ezo ezeesobola ezikola ssente eziwera.
Wabula omukugu mu byenfuna n’enkulaakulana, Charles Ocici akulira Enterprise Uganda yamuwabudde nti okuteeka omusolo ku SACCO, Gavumenti egenda kubeera ng’ezisanyaawo. Yagambye nti, kye yandikoze kwe kukwata ssente ne bazongera mu SACCO ez’enjawulo, abantu ne bazeewola okukola bizinensi olwo bizinensi ezikulaakulanye ne bazisoloozaako omusolo.
Bahati yagambye nti, enkulaakulana okujja ku ggwanga eyawukana kinene nnyo n’okugaggawala. Yajjukizza abantu nti Museveni bw’abategeeza bulijjo nti Gavumenti ekoze enguudo, kati abantu basaanye bazikozese okutwala ebyamaguzi mu katale basobole okugaggawala era n’amasannyalaze agatuuse mu bitundu, bagakozese okwekulaakulanya.
Bino yabyogedde aggalawo omusomo ogwategekeddwa Bannakigezi ku kwekulaakulanya n’okukyusa endowooza ebasiba mu bwavu. Ocici ng’asomesa yategeezezza abantu nti, omuntu tateekwa kutandika bizinensi na ssente ze yeewoze wabula okuzeewola okwongera mw’eyo gye yatandikawo edda esobole okuyitimuka.
Era abagenda mu SACCO okwewola tebasuubira nkulaakulana ya maanyi kyokka abo abatereseeyo ssente ne ziwera basobola okuzeewolerako.