TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gavt. ezimbye pulayimale 54 mu myaka 2 - Minisita

Gavt. ezimbye pulayimale 54 mu myaka 2 - Minisita

Added 17th May 2018

Gavt. ezimbye pulayimale 54 mu myaka 2 - Minisita

 Minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo, Janet Museveni ng’omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule eno Alex Kakooza ku Media Centre.

Minisita w’ebyenjigiriza n’emizannyo, Janet Museveni ng’omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule eno Alex Kakooza ku Media Centre.

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo, Janet Museveni yennyamidde olw’abantu abatafa ku masomero ga pulayimale aga Bonnabasome nga beekwasa nti ga Gavumenti y’eteekeddwa okugafaako. Yasinzidde ku Media Centre ng’alambulula ebintu ebikoleddwa minisitule gy’akulembera mu myaka ebiri egy’ekisanja kya NRM ekyatandika mu 2016. Muky. Museveni yagambye nti, abantu abamu beesuuliddeyo ddala ogwa nnaggamba nga n’ekitono kye bandyekoledde, bakirinza Gavumenti.

Yakubirizza abakulembeze ba Gavumenti ez’ebitundu okukunga abazadde okukyusa endowooza zaabwe ku kugulira abaana ebyetaago ng’ebitabo, ekkalaamu ne yunifoomu.

Yalaze nti ekizibu ky’abazadde abataagala kuwa baana byakulya nga bali ku ssomero kikyaliwo era kikosezza nnyo omutindo gw’abayizi. Muky. Museveni yagambye nti, minisitule esobodde okuzimba amasomero ga pulayimale 54, ebibiina ebisomerwamu 356, ebizimbe bya ofiisi 53, kaabuyonjo z’abayizi ez’omulembe 108, kaabuyonjo z’abasomesa 63, ennyumba z’abasomesa 9 n’okugabira amasomero ga pulayimale ttanka z’amazzi 54.

Ebitabo ebiyamba abayizi okuyiga ebiwera 318,131 ebyamasomo ag’enjawulo n’ebitabo ebiruh− hamya abasomesa ebiwera 39,000 bigabiddwa. Amasomero ga siniya 12 gaazimbibwa mu magombolola ag’enjawulo.

Nga minisitule ekolaganira n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku biweerezebwa ku mpewo ekya UCC, basobodde okuwa amasomero agawera 70 ebyuma eby’omulembe ebibayamba okuyiga ssaayansi. Amatendekero g’ebyemikono agawera gafunye ebizimbe eby’omulembe okuli; Baamunanaika TC (Luweero), Kiruhura TC , Hoima School of Nursing, Ahmed Seguya TC (Kayunga), Kibatsi (Ntungamo), Tororo, Kalongo (Agago) n’amalala.

Yunivasite za Gavumenti eziwera mwenda ziddaabiriziddwa. SSENTE ZA PAADI TEZINNALABIKA Janat Museveni yagambye, nti wadde nga Pulezidenti Museveni yasuubiza okugulira abaana abawala abali mu masomero paadi, kyokka ssente zino tezinnaba kufunika era ne mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja tezaateekeddwaamu. Kyokka ssente bwe zinaafunika bajja kuzifuna.

Ebyemizannyo byawagiddwa nga Gavumenti eteeka ssente mu ttiimu z’eggwanga, omulimu gw’okuzimba ekisaawe ky’e Kapchorwa gugenda mu maaso, n’okuwagira emirimu gy’ebibiina byemizannyo mu ggwanga.

Ekibiina ekiddukanya ebyemizannyo ekya National Council of Sports baakyongeza ssente okutuuka ku buwumbi 14 ez’okuyamba FUFA, Common Wealth Games, She Cranes n’ebibiina byemizannyo ebirala. Enkola y’okulambula amasomero eyongeddwaamu amaanyi era nga bajja kwongera okukikola ku masomero ku mitendera gyonna.

Mu manifesito ya NRM eya 2016, Pulezidenti Museveni yasuubizza okuzimba essomero lya pulayimale mu buli muluka, okuzimba siniya ya Gavumenti mu buli ggombolola n’ettendekero ly’ebyemikono buli konsitityuwensi.

Mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja ogwa 2018/2019, Gavumenti esuubira okuzimba amasomero 100, okwongera emisaala gy’abasomesa aba minisitule n’okumaliriza emirimu gy’okuzimba egigenda mu maaso mu yunivasite za Gavumenti omunaana.

Alex Kakooza, omuwandiisi ow’enkalakkalira owa minisitule y’ebyenjigiriza yagambye nti omwaka ogujja Gavumenti egenda kutandika okussa mu nkola ebisomesebwa ebipya (Curriculum). Waliwo amasomo agaggyiddwaawo okusobozesa abayizi okusoma ebintu ebitono ebibayamba obutereevu.

Dr. Joseph Muvawala, akulira ekitongole kya National Planning Authority yatenderezza minisitule y’ebyenjigiriza olw’okuzimba amasomero ga pulayimale gye gatabadde. Yalaze nti mu kiseera kino emiruka egitalina masomero mu ggwanga giri ebitundu 4 ku buli 100

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...