
Omu ku bawannyondo ng'akoona ennyumba
Ebintu bya bukadde nabukadde bye biyonooneddwa bawanyondo ba kkooti abazinzeeko ekyalo ne bakoona amayumba g’abatuuze n’okusaawa emmere yaabwe.
Bawannyondo ba kkooti ababadde bakuumibwa obutiribiri abasirikale ba poliisi kibatwalidde essaawa nga ttaano okuva ku ssaawa nga ssatu ez’okumakya okumenya n’okusaawa ebintu by’abatuuze abaludde nga baguguulana n’omugagga ku ttaka kwe bali.
Dick Banoba y’agambibwa okukozesa poliisi n’ewa bawannyondo ba kkooti nga bakoona amayumba g’abatuuze agali eyo mu 30 ku kyalo Kirangira mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono olwaleero
Abavubuka aboononye ebintu bakira babagalidde amajambiya agasala ennyo, embazzi, ensuuluulu, ebifumu n’emiggo nga batiisa okukuba oyo yenna agezaako okubalemesa okukola omulimu gwabwe.
Abamu ku batuuze bakira babayisaamu empi n’ensambaggere ate ng’oli bw’agezaako okubaako ky’ayogera n’okukaabira ebintu bye ebibadde byonoonebwa nga poliisi emuyoolayoola ng’emukuba ku kabangali yaayo ng’ekikolwa ekyo kivumiriddwa nnyo abatuuze.
Adduumira poliisi y’e Mukono, Henry Abaho abadde ne kabangali za poliisi nnya ezibadde zikubyeko abasirikale nga bagenda bawerekera n’okukuuma abavubuka ababadde bakoona n’okutema emmere y’abatuuze.
Mu mayumba agakoozeddwa mulimu n’agalabise nga ga basirikale ba UPDF olw’ebyambalo n’ebisawo ebisangiddwa mu mayumba ago.
Bakira abatuuze abagezaako okwegugunga nga babakubamu ne ttiyaggaasi n’amasasi nga bakkakkana. Bakira gye bamala okumenya n’okutema emmere nga gye basiba ssengenge.
Kigambibwa nti kkooti yasala omusango guno n’ekkiriza Banoba okukozesa ettaka lino mu mwaka gwa 2015 kyokka nga buli bawanyondo lwe babadde bagendayo okumenya ng’abatuuze babalemesa.
Ssentebe w’eggombolola y’e Nama, Erisa Ssebbaale avumiridde ekikolwa ekikoleddwa ku batuuze be mu ngeri embi ennyo ng’ate ne poliisi gye bandiddukidde bakira y’ewa abakola effujjo obukuumi.
Ssebbaale agambye ekizibu kwe kuba nga Banoba akozesa maanyi nga takkiriza kugenda kwogera na batuuze nga yagaana n’okutwala obusuulu okuva ku basenze abali ku ttaka eryo.