TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Sipiika eyakwata ow'emyaka 16 bamutaddeko obikwakkulizo obukakali

Sipiika eyakwata ow'emyaka 16 bamutaddeko obikwakkulizo obukakali

Added 19th May 2018

SIPIIKA wa Munisipaali ya Kira Frank Ssemukuye abadde attunka n’omuwala Shifirini Adikini okumukozesa ku myaka emito (16) n'amuzaalamu omwana ate n’atamulabirira aludde ddaaki n'akkiriza okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe.

 Akello ne Ssemukuye (ku kkono).

Akello ne Ssemukuye (ku kkono).

Adikini nga kati alina emyaka 18 agamba, mu 2016 Ssemukuye yamufumbiikiriza mu kiyigo ng’anaaba n'amukozesa n’amufunyisa olubuto ate bwe yamutegeezaako n'alwegaana.

Ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde minisita Nakiwala Kiyingi yasisinkana enjuyi zombi mu ofiisi ye n'assa Ssemukuye ku nninga n'akkiriza nti, omwana wuwe n'amuwa n’erinnya erya Leticia Kisaakye Nakyambadde.

Wadde Ssemukuye yakkirizza omwana, minisita Nakiwala yamulagidde bagende ne ku musaayi okukakasa nti, omwana ddala wuwe.

OBUKWAKKULIZO OBUMUTEEREDDWAAKO

1 Okulabirira omwana Leticia Kisaakye Nakyambadde.

2 Obutaddamu kuwakana nti si ye kitaawe w'omwana omutuufu.

3 Okusasula ssente ez’okulabirira omwana buli mwezi ssente 100,00/- ng'ennaku z'omwezi 15 tezinnayita.

4 Okuweerera Adikini kkoosi y’okukola enviiri ssente 120,000/- etandika mu September w'omwaka guno.

5 Obweyamo buno bugenda kuteekebwa mu nkola ekitongole ekikola ku nsonga z’abaana mu minisitule y’ekikula ky’abantu ne kkooti ekola ku nsonga z’abaana e Nakawa.

Kyokka wadde Ssemukuye yabadde akkirizza obukwakkulizo buno, bwe yatuuse okussa omukono ku ndagaano yataddeko mufu. Kino munnamateeka w’omuwala Barbra Akullo yakirabye n’amuwaliriza okussaako omukono omutuufu.

TUMUTWALA MU KKOOTI

Munnamateeka Akello yategeezezza nti, Ssemukuye k'akkirizza nti omwana wuwe kimala bumazi okukakasa nti yasobya ku mwana era tajaganya nti, ensonga ziwedde akadde konna agenda kusimbibwa mu kkooti kuba yeegatta n'omuwala omuto alina emyaka 16 gyokka.

Agambye nti, omusango guno guludde nga tegugenda mu maaso olw'ensonga nti, wabadde tewali bujulizi bukakasa kusobya ku mwana wabula k'akkirizza nti omwana wuwe kimala okumatiza omulamuzi nti, Sipiika yasobya ku mwana atannaba kwetuuka ng’alina okubonerezebwa.

Famire ya Adikini erina ebbaluwa kwe baamugemera eraga nti, yazaalibwa nga Agust 9, 2000.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amasannyalaze gakubye babir...

Entiisa yabuutikidde abatuuze ku kyalo Wantoni mu Mukono Central division, Mukono munisipaali, abasajja babiri...

Loodi Meeya Erias Lukwago ngakyazizza dayirekita wa Kampala omuggya, Dorothy Kisaka

Loodi meeya akyazzizza dayi...

  Ababiri basoose mu kafubo mu ofiisi za Loodi Meeya okumala essaawa bbiri nga bateesa. Lukwago yamwanjulidde...

Gav't etandise okugabira Ba...

GAVUMENTI etandise okugabira Bannakampala masiki eziyamba okutangira ssenyiga omukambwe kyokka abamu ku ba LC abaazikwasiddwa...

Kazinda ng'aleeteddwa mu kkooti

Kazinda ayolekedde okuyimbu...

EYALI omubalirizi omukulu mu ofiisi ya Katikkiro wa Uganda Geoffrey Kazinda ayolekedde okuyimbulwa mu kkomera e...

Kitatta ng'ali mu kaguli ka kkooti

Abudallah Kitatta ayimbuddw...

Hajji Abudallah Kitatta eyali omuyima wa bodaboda 2010 ayimbuddwa okuva mu kkomera gy'amaze emyaka 3.