TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Embaga ya Harry ne Markle emazeewo obuwumbi 160

Embaga ya Harry ne Markle emazeewo obuwumbi 160

Added 19th May 2018

BAJETI y’embaga y’Omulangira Harry ne Meghan Markle emenye likodi. Ya bukadde bwa pawundi 30 mu za Uganda obuwumbi 160 (160,000,000,000/-).

 Abagole; Omulangira Harry ne Meghan Markle

Abagole; Omulangira Harry ne Meghan Markle

Okusinziira ku kkampuni ya Bridebook eyakwasibwa ogw’okutegeka embaga eno ey’ebyafaayo, ssente ezo ze baabalirira okusaasaanya ku bintu omuli ebimuli, emmere, ebiduula, ennyambala, eby’okwerinda, ebirabo, entambula ne kalonda omulala okuweesa omukolo ekitiibwa ekigya mu mulangira ali mu layini eyomukaaga mu balinze okutuula ku nnamulondo ya Bungereza eramulwa kati Kkwiini Elizabeth II.

Abagole abo babagatta leero ku ssaawa mukaaga mu kkanisa ya St. George e Windsor Castle ng’egenda kugenda mu byafaayo by’embaga 10 ezikyasinze okuba ez’ebbeeyi mu nsi yonna.

Ey’Omulangira William mukulu wa Harry bwe bazaalibwa omumbejja Diana Spencer, yamalawo obukadde bwa pawundi 20 (£20million) bwe yali awasa Kate Middleton mu 2011 era ng’eno egisinzeeko obukadde 12 obwa pawundi.

ENTEMAATEMA YA SSENTE

Okusinziira ku mawulire ga The Sun ag’e Bungereza aba Bridebook baabaliridde bwebati;

  • Caayi w’abagenyi ne sosegi ze banaanywerako bya £26,000 mu za Uganda 130,000,000/- Abagenyi baasooka kuyita 600 wabula baabataddeko ekifuba ne bongerako ne bawera 2,640.
  • Ebimuli bya £110,000 mu za Uganda 550,000,000/- kuliko eby’abagole, eby’okutimba mu kkanisa, awali emikolo, ku mmotoka n’ebirala.
  • Emirere 20 egigenda okufuuyibwa ku mikolo gya £90,000 mu za Uganda 450,000,000/-
  • Gawuni yabaliriddwamu £300,000 ne £400,000 mu za Uganda wakati wa 1,500,000,000/- ne 2,000,000,000/-
  • Keeci ya £50,000 mu za Uganda 250,000,000/- ekoleddwa mu Violet Bakery mu East London.
  • Weema egenda okutuuzibwamu abagenyi ya £300,000 mu za Uganda 1,500,000,000/-
  • Eby’okwerinda: Ezisinga ku zaasigaddewo zassiddwa ku by’okwerinda omuli embwa enkonzi z’olusu, ennyonyi ezeebongera mu bwengula okwekuuma obutujju, poliisi n’amagye agalawuna nga kw’ogasse agali mu leeya mu kibuga London kyonna, ennyonyi za drone ezeevuga zokka ezigenda zikuba ebifaananyi okulaba eby’okwerinda mu kitundu kyonna ekirimu abagole bwe biyimiridde n’ebirala.

Ebiduula; Abawala abataano ab’ekibiina kya Spice girls bateeberezebwa okwetaba ku mukolo ogwo nga buli omu asuubirwa okusasulwa akakadde kamu aka pawundi mu za Uganda 500,000,000/-.

Okusinziira ku b’olulyo olulangira, ssente zonna zavudde mu Bwakabaka wadde ng’abamu bakiwakanya naddala abawi b’omusolo abalowooza nti kwabadde kudiibuuda ssente za Bungereza. Sir Elton John, 71 ye muyimbi akulembedde banne.

Ono era ye yayimba mu kuziika maama wa Harry, emyaka 21 egiyise oluyimba lwa Candle in the wind.

Ku olwo lwe yayongera okuba mukwano gw’abaana ba Diana ababiri, William ne Harry era be baamwesabidde ayimbe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...