TOP
  • Home
  • Amawulire
  • 'Mulime emmwaanyi temutunda ttaka kugula bodaboda'

'Mulime emmwaanyi temutunda ttaka kugula bodaboda'

Added 20th May 2018

VIIKA General w’essaza lya Kampala, Msgr. Charles Kasibante akubirizza ab’e Mawokota okulima emmwaanyi mu kifo ky’okutunda ettaka ne bagenda mu bibuga okuvuga bodaboda.

 Abalimi b’emmwaanyi e Mpigi nga baaniriza Msgr. Kasibante e Mitala Maria.

Abalimi b’emmwaanyi e Mpigi nga baaniriza Msgr. Kasibante e Mitala Maria.

Bino yabyogeredde Mitala Maria mu ggombolola y’e Buwamu mu Mpigi ku mukolo gw’okuggulawo ekyuma ky’emmwaanyi ekizimbiddwa Abakristu abeegattira mu bibiina by’abalimi b’emmwaanyi mu Mpigi ne Butambala nga bayambibwako ekibiina kya Caritas.

Omukolo gwatandise n’ekitambiro kya mmisa, Msgr. Kasibante n’avumirira ettemu erisusse mu ggwanga nga liva ku bantu abatayagala kukola n’akunga Abakristu okukola kubanga gwe mulanga gwa Kabaka ne Ssaabasumba, Dr. Kizito Lwanga.

Yasabye Abakristu okukozesa ekyuma kino okukyusa embeera zaabwe.

Episcopo viika wa Mitala Maria, Rev. Fr. Denis Kizito yagambye nti balina enteekateeka y’okulima emmwaanyi ku buli kisomesa.

Ssentebe w’ekibiina ky’abalimi b’emmwaanyi ekya Bukakimu Coffee Business, Joseph Mary Buyungo asiimye Ssaabasumba Dr. Lwanga okubawa ekyuma n’asuubiza nti baakukikozesa bakulaakulanye Klezia.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu