TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuwala omulala attiddwa omulambo gwe ne bagukumako omuliro

Omuwala omulala attiddwa omulambo gwe ne bagukumako omuliro

Added 22nd May 2018

Omuwala omulala attiddwa omulambo gwe ne bagukumako omuliro

 Poliisi ng’etwala omulambo gwa Evelyn.

Poliisi ng’etwala omulambo gwa Evelyn.

ABATUUZE b’e Kireka D mu Acholi quarters ekisangibwa mu Namugongo Divizion baguddemu ekyekango bwe bagudde ku mulambo gw’omuwala ategeerekeseeko erya Evelyn ow’emyaka 18, nga bamusse ne bamukumako omuliro ne bamusuula mu nsiko e Kireka okuliraana Prime Radio.

Ono okulabibwa kiddiridde abaana abaabadde bazannyira mu kifo ekyo, okulengera omuntu alinga eyeebase ne bategeeza bazadde baabwe. Baagenze okutuukawo nga mufu ne bayita poliisi.

Jackline Nakityo omutuuze ku kyalo ekyo ategeezezza nti Evelyn yali akola mu bbaala ye wabula n’adda ku mulimu gw’okukuba amayinja nga bw’agatunda. Omulambo gwa Evelyn baagwokedde mu kifo ekyo kyennyini nga guvuddeko oluliba. Wano waasangiddwaawo ekidomola ky’amafuta n’ekibiriiti ebigambibwa nti bye bimu ku byakozeseddwa mu kumwokya.

Abatuuze balumirizza muganzi we, gw’abadde yaakaganza gwe bataatuukirizza mannya nti yandiba nga ye yamusse kubanga eggulolimu baamulabye n’ekidomola ky’amafuta bwe kityo kyennyini.

Bano baategeezezza poliisi y’e Kireka, eyaleese embwa enkonzi z’olusu, ezaatambudde paka ku mulyango gw’omuvubuka ono. Embwa zaagezezzaako okukoona oluggi naye nga waggale ate nga naye taliiwo.

Poliisi y’e Kireka etutte omulambo e Mulago okwongera okugwekebejja wabula n’erabula abatuuze naddala balandiroodi okwegendereza abantu be basenza ku mayumba kubanga abamu basenga ku mizigo mu kitundu kukoleramu ttemu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omumyuka wa Pulezidenti wa FDC Joyce Ssebuggwawo (ow’okubiri ku ddyo) ng’atongoza akakiiko k’ekibiina akagenda okuyigga obululu bwakyo mu Kampala ne Wakiso.

FDC etongozza akakiiko akan...

FDC etongozza akakiiko akagenda okunoonyeza abantu baayo akalulu mu Kampala ne Wakiso n’etegeeza nti Col. Kiiza...

Shakira Bagume ng'ayonsa bbebi we

Laba okusoomooza bamaama ab...

Okuyonsa abaana kyankizo nnyo eri abaana abawere era Maama yenna ateekeddwa okuyonsa kino kisobozese omwana okukula...

Aba LDU bazzeemu okukola eb...

ABASERIKALE b’eggye ekkuuma byalo erya LDU, bazzeemu okukola ebikwekweto okufuuza abateeberezebwa okubeera abamenyi...

Poliisi ng'eggyawo omulambo gwa Mukiibi

Omusuubi w'e Nakulabye yeek...

OMUSUUBUZI w’e Nakulabye omututumufu aguze amafuta ga petulooli ne yeekumirako omuliro mu kinaabiro emisana ttuku...

Abeegwanyiza entebe y'obwap...

EBBUGUMU lyeyongedde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda abantu abeegwanyiza entebe y’obwapulezidenti bw’eggwanga...