TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abazadde bazirise bwe bagudde ku mirambo gy'abaana baabwe 2 abaawambibwa ne battibwa mu bukambwe

Abazadde bazirise bwe bagudde ku mirambo gy'abaana baabwe 2 abaawambibwa ne battibwa mu bukambwe

Added 23rd May 2018

ABAZADDE bazirise abaana baabwe ababiri be baabuzaawo bwe babazudde ng’emirambo gyabwe gisuuliddwa mu mwala oluvannyuma lw’okubatta.

  Namaleega (ku kkono) Nakiwunga bwe yali afaanana nga muto.

Namaleega (ku kkono) Nakiwunga bwe yali afaanana nga muto.

Abaana bano okuli ow’emyaka ena n’ebiri n’ekitundu, ba Charles Katende ne Christine Nantume ab’oku kyalo Naluvule, Wakiso nga baabula Lwakutaano lwa wiiki ewedde ne bazuulwa ku Mmande ya wiiki eno.

Abagenzi kuliko; Isreal Namaleega 4, ne Dorcus Nakiwunga ow’emyaka ebiri n’ekitundu nga baawambibwa omuntu ataamanyika n’abatwala era okuddamu okubalaba baasanze mirambo oluvannyuma lw’okuttibwa mu bukambwe.

KITAAWE W'ABAANA ANNYONNYOLA

Katende, kitaawe w'abaana, agamba nti abaana baabwe baababulako mu ngeri etaategeerekeka era amangu ddala nga bakizudde nti tebaliiwo, baatandikirawo okunoonya okumpi n’ewala kyokka ne babula era kw’olwo ne buziba nga tebabazudde.

Omuyiggo gwagenze mu maaso kyokka nga tebalina kye balaba wabula bakira bakubirwa amasimu ag’okumuwa amagezi okusobola okuzuula abaana nga byonna buteerere tewali ky’atuukako wabula nga ali ku kimu yeebuuza omuntu eyatutte abaana be ne ky’abaagaza.

Ayongerako nti zaabadde essaawa nga 12:00 ez’akawungeezi ku Mmande ng’ali waka mu birowoozo oluvannyuma lw’okugomoka buli wantu, omulaalo n’ajja ng’adduka nga bw’amuyita nti, “Katende oluwa”, era yalowoozezza nti abaana be baabadde balabise.

Kyokka yawunze omusajja bwe yakamutemye nti yabadde alabye omulambo gw’omu ku baana be nga gusuuliddwa mu kintu ekiringa omufulejje mu kibira. Yasitukiddemu okutuuka mu kibira okwetegereza yasoose kulaba mulambo gwa mwana we omuwala.

Bwe baayongedde okuwenja ne basanga n’omulambo gw’omwana omulenzi.

Omwana omuwala akagoye ke yabaddemu kaabadde kafundikiddwa ku lubuto kyokka nga ye omulenzi ali mu ngoye ze zonna wabula baagenze okumwetegereza, ng’olulimi lusaliddwaamu n’ebitundu bye eby’ekyama.

Emirambo poliisi yagiggyeewo n’egitwala e Mulago oluvannyuma gye gyaggyiddwa okutwalibwa e Magala mu ggombolola y’e Ssekanyonyi Mityana abaana bano gye baaziikiddwa wakati mu biwoobe.

"Abaana Katonda ye yabampa era y’abatutte naye nneebaza Katonda olw'okunfuula omulokole kuba baliraanwa bangi abansobezza naye nga nze nsirika. Nkakasa nti sigenda kuwoolera ggwanga wabula Katonda omukulu ennyo y’agenda okusalawo”, Katende bwe yategeezezza wakati mu maziga.

MAAMA W'ABAANA AYOGEDDE

Nantume yagambye nti gye buvuddeko waliwo mmotoka eyajja n’esimba okumpi n’awaka kyokka teyagifaako olw’okuba nti awo ku muliraano waaliwo omukolo n’alowooza nti yali ezze lwa mikolo. N’agattako nti ateebereza nti mmotoka eno erina akakwate n’okuttibwa kw’abaana be.

Omubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti y’e Wakiso, Maj. David Matovu yagumizza abakungubazi nti, abaakoze ekikolwa kino baakunoonyezebwa yonna gye bali bakwatibwe era bakangavvulwe olw’ettemu lye baatuusizza ku baana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...