TOP

Museveni ayogedde ku bawamba abawala ne babatta

Added 24th May 2018

Pulezidenti agambye nti abatemu abawamba abawala ne babatta babafunzizza era gwe basembyeyo okukwata yabadde n’emirambo esatu egy’abawala mu nju. Yawamba abawala bana kyokka omu n’amutolokako.

 Museveni ne Shamusa Nakasujja (ku kkono) eyamattuse abatemu ng’ali ne muganda we Amina Nakitto.

Museveni ne Shamusa Nakasujja (ku kkono) eyamattuse abatemu ng’ali ne muganda we Amina Nakitto.

Bya Tadeo Bwambale

Museveni eyabadde n’omuwala omulala ow’e Nakifuma, eyawambibwa ku Ppaaka kyokka n’atoloka ku batemu yagambye nti omusajja eyakwatiddwa baamwogezza n’ategeeza nti abawala abasatu be yasse bonna yasoose kubasobyako.

Omulala owookuna eyatolose yabadde ne Museveni eggulo, Omukulembeze w’eggwanga bwe yasisinkanye bannamawulire ba New Vision e Ntebe.

Museveni yagumizza eggwanga nti abawamba abantu bajja kusaanyizibwawo kubanga basobola okuzuulibwa.

Kyokka yagambye nti kyetaagisa abantu bonna okuba abeegendereza n’awa ekyokulabirako kya Shamusa Nakasujja 19, gwe baawamba ku Ppaaka ya takisi enkadde mu Kampala.

Yabadde n’omuwala ono, n’agamba nti yatuuka ku Ppaaka emisana ttuku ng’agenda Ndejje - Namasuba kyokka nga takisi teziriiwo.

N’abuuza omusajja eyeefuula ayamba omuwala n’amugamba nti emmotoka teziriiwo kyokka n’amukulembera amutwale mu Ppaaka ya Usafi.

Nga bagenda mu Usafi, omuwala baamukuba kalifoomu era we yakoma okutegeera. Yaddamu okutegeera enkeera ng’ali mu nju mu kifo ky’atategeera.

Yaggulawo oluggi ng’awaka tewali muntu n’atambula n’agenda n’afuna bodaboda eyamutwala e Ndejje ewa muganda we. Mu kiseera we yabeerera nga tategeera olwa kalifoomu, omutemu yakozesa essimu y’omuwala n’akubira abazadde be ng’abasaba obukadde 10.

Museveni n’omusawo w’e Masaka Resty Nakyambadde eyasimattuka abatemu.

 

Abeebyokwerinda baagoberedde ennamba y’essimu y’omuwala eyabayambye okukwata omusajja ono.

Omutemu ye Shakur era ennyumba gy’akozesa eri mu Kisenyi. Mu nnyumba eno baasanzeemu emirambo gy’abawala abalala esatu.

Ng’oggyeeko emirambo esatu, Shakur yakkirizza bwe yawamba abawala abalala basatu. Kyokka Pulezidenti teyayogedde oba nabo yabatta.

Shakur yatutte abeebyokwerinda ew’omusamize gw’akola naye.

Bukedde yategeddeko nti omusamize ono abeera e Namasuba mu Kikajjo ewuwe yasangiddwaayo omulambo n’obuwale bw’abawala nga kiteeberezebwa nti baasooka kubasobyako nga tebannabatta (Bukedde bye yazudde ku kabinja omuli omusamize ono akawamba n’okutta abawala bijja kufulumira mu Bukedde w’enkya ku Lwokutaano).

Abalala abakwatiddwa, Museveni yagambye nti kuliko omusajja Musa eyatemako Susan Magara engalo ze baaweereza abazadde be. Pulezidenti era yalaze omusawo w’e Masaka Resty Nakyambadde eyalumbibwa ababbi kyokka n’aba muzira n’akuba essimu ekyavaako abeebyokwerinda n’abatuuze okumuzingiza ne bamutta.

Omubbi ono yali atolose ku baserikale oluvannyuma lw’okukwatibwa mu batta abantu n’ebijambiya e Masaka.

Yamuwadde obukadde 10 okumwebaza n’akubiriza abantu abalala okweyisa ng’omusawo ono.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ntambi ng'atwalibwa mu kkomera e Luzira.

Sylvia Ntambi owa Equal Opp...

Omulamuzi Pamela Lamunu  owa kkooti ewozesa abalyake n'abakenuzi e Kololo  asindise Muweebwa mu kkomera bwalemeddwa...

Kalenda okuli ebifaananyi bya Yiga

Olumbe lwa Pasita Yiga balu...

Mu lumbe lwa pasita Yiga abatunda eby'okulya, masiki n'abatunda t-shirt okuli ekifaananyi ky'omugenzi bali mu keetalo...

Kaadi y'embaga ya Ramond ne Joy.

Abadde agenda okukuba embag...

Kigambibwa nti omugenzi baamuddusizza mu ddwaaliro Iya IHK abasawo gye bakizuulidde nti omusaayi gubadde gumaze...

Paasita Yiga ng'ali n'abagoberezi be

Ebintu by'azze apanga okufu...

OMU ku baali abakubi b’endongo mu Revival Band yagambye nti, yagyegattako mu 2014 kyokka nga baalina ekizibu ky’okuba...

Pasita Yiga ng’abuulira enjiri.

Engeri Yiga gye yeeyubula o...

AUGUSTINE Yiga ‘Abizzaayo', yazaalibwa mu maka maavu, n'alaba embaawo nnya zokka, tebyamulobera kwetetenkanya kufuuka...