TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omubaka Ssewungu alemedde ku ky'okutegeka okulonda kwa LC

Omubaka Ssewungu alemedde ku ky'okutegeka okulonda kwa LC

Added 25th May 2018

OLUVANNYUMA lw’omuwala Rose Nakisekka ow’e Kigo mu Kalungu okuwambibwa, abaamuwamba ne basaba ssente ate ne bamutta, omubaka wa Kalungu West, Joseph Ssewungu akkaatirizza nga bw’atagenda kuddiriza mu nteekateeka y’okulondesa obukiiko bwa LC1 mu kitundu ky’akiikirira.

 Ssewungu ng’ayogera n’abatuuze mu kuziika. Mu katono ye Nannyanzi.

Ssewungu ng’ayogera n’abatuuze mu kuziika. Mu katono ye Nannyanzi.

Ssewungu eyabadde mu kuziika omuwagizi wa DP, Joseph Kasule 97 e Nattita mu ggombolola y’e Kalungu Rural, yagambye nti akakiiko k’ebyokulonda akagaanyi okutegeka okulonda kwa LC1 ke kavuddeko embeera y’obutali butebenkevu mu bitundu okweyongera.

N’agamba nti, embeera evudde mu bubbi ne batandika okuwamba abantu n’okubatta kubanga tewali afaayo kulondoola abantu abapya ababeera bazze mu bitundu.

Yayongeddeko nti okulonda kw’agenda okutegeka mu mwezi ogujja nga kwa kusimba mu mugongo era abanaalondebwa be bajja okukulembera ebitundu byabwe n’okulaba ng’obutebenkevu buddawo.

Bino olwagudde mu matu g’omumyuka wa RDC e Kalungu, Sarah Nannyanzi n’alabula Ssewungu obuteetantala kutegeka kulonda kubanga obuyinza obukutegeka tabulina n’amukakasa ng’abeebyokwerinda bwe bamutaddeko eriiso ejjogi.

“Mukulu Ssewungu omuwala gw’akulembeza baamuwambira Kampala si Kalungu, noolwekyo aleme kuwubisa abantu nga bakola ebitali bituufu”, bwe yamulabudde.

OLUVANNYUMA lw’omuwala Rose Nakisekka
ow’e Kigo mu Kalungu okuwambibwa,
abaamuwamba ne basaba ssente
ate ne bamutta, omubaka wa Kalungu
West, Joseph Ssewungu akkaatirizza nga
bw’atagenda kuddiriza mu nteekateeka
y’okulondesa obukiiko bwa LC1 mu
kitundu ky’akiikirira.
Ssewungu eyabadde mu kuziika omuwagizi
wa DP, Joseph Kasule 97 e Nattita
mu ggombolola y’e Kalungu Rural,
yagambye nti akakiiko k’ebyokulonda
akagaanyi okutegeka okulonda kwa
LC1 ke kavuddeko embeera y’obutali
butebenkevu mu bitundu okweyongera.
N’agamba nti, embeera evudde mu
bubbi ne batandika okuwamba abantu
n’okubatta kubanga tewali afaayo kulondoola
abantu abapya ababeera bazze
mu bitundu. Yayongeddeko nti okulonda
kw’agenda okutegeka mu mwezi
ogujja nga kwa kusimba mu mugongo
era abanaalondebwa be bajja okukulembera
ebitundu byabwe n’okulaba
ng’obutebenkevu buddawo.
Bino olwagudde mu matu
g’omumyuka wa RDC e Kalungu,
Sarah Nannyanzi n’alabula Ssewungu
obuteetantala kutegeka kulonda
kubanga obuyinza obukutegeka tabulina
n’amukakasa ng’abeebyokwerinda bwe
bamutaddeko eriiso ejjogi.
“Mukulu Ssewungu omuwala
gw’akulembeza baamuwambira Kampala
si Kalungu, noolwekyo aleme kuwubisa
abantu nga bakola ebitali bituufu”, bwe
yamulabudde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....