TOP

Enteekateeka z'okulonda kwa LC I

Added 26th May 2018

Enteekateeka z'okulonda kwa LC I

 Ssentebe w'akakiiko k'ebyokulonda Byamukama.

Ssentebe w'akakiiko k'ebyokulonda Byamukama.

OKULONDA bassentebe b’ebyalo kwakubaawo nga July 10 omwaka guno. Okwewandiisa kwakumala ennaku nnya okuva June 22 okutuuka June 25. Kwo okutimba enkalala z’abalonzi kwakubaawo okuva June 26 ne June 27. Bino bye bimu ku biri mu nteekateeka y’okulonda eyafulumiziddwa akakiiko k’ebyokulonda.

Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda omulamuzi Simon Byabakama yategeezezza nti, okuwandiisa abantu abanaalonda kwakukolebwa mu byalo 60,801 ebiri mu ggwanga. Yatangaazizza nti tebagenda kuddamu kuwandiisa buto okuggyako mu byalo ebipya 1,134 kyokka n’abo abatewandiisa mu October wa 2017 ba ddembe okuddamu okwewandiisa bwe baba baagala okwetaba mu kulonda kuno.

Yagambye nti abantu bokka abakkirizibwa okulonda beebo abalina emyaka 18 n’okusingawo ate nga batuuze mu byalo ebyo. Abo bonna abaasenguka balina okuddamu okwewandiisiza eyo gye bali. Okwewandiisa kwa kuzingiramu okukuhhaanya n’okutereeza enkalala zombi empya n’enkadde.

Okusunsula abaneesimbawo ku bukiiko bw’abakyala kugenda kubaawo okuva June 27 okutuuka June 28 mu byalo ebipya ku bitebe by’ebyalo ebyo. Ebifo eby'okuvuganyaako kuliko; Ow'abakyala, omumyuka we, omuwandiisi, ow’ebyamawulire n’omuwanika. Kampeyini z’abakyala zigenda kutandika okuva nga June 30, okutuuka July 2 olwo okulonda kubeewo nga July 3.

Okwewandiisa kwa bassentebe kutandike nga July 4-5 olwo kampeyini zive nga July 6 okutuuka July 9 okulonda kubeeyo enkeera nga July 10. Byabakama yayongeddeko nti omuntu okwesimbawo tekyetaagisa bbaluwa ya buyigirize bwonna n’abataasoma ba ddembe okwesimbawo era balondebwe.

PULOGULAAMU MU BUJJUVU

June 22-25; okwewandiisa n’okuzza obuggya enkalala z’abalonzi

June 25; Olunaku olusembayo okuzza obuggya enkalala z’abalonzi
June 26-27; Okutimba enkalala z’abalonzi
July 4-5; Okuwandiisa abanaavuganya ku bwassentebe bwa LC1
July 6-9: Kampeyini z’abavuganya ku kifo kya ssentebe wa LC1
July 10; Okulonda bassentebe ba LC1; okulangirira abawangudde era balonde akakiiko ke banaakola nako. Okulonda kwa kusimba mu mugongo
 
OKULONDA KU LCII
July 11-12; Okutereeza enkalala z’abalonzi
July 13-16; Okutimba enkalala z’abalonzi
July 24; Okuwandiisa amannya g’abanaavuganya ku kifo kya ssentebe wa LCII
July 25-26; Kampeyini z’abeesimbyewo
July 27; Okulonda bassentebe ba LCII.

Abakozi ba Gavumenti nabo bakkirizibwa okwesimbawo nga tebalekulidde bifo byabwe kyokka tebalina kuba na kibiina.

EMIRIMU 191,850 GYE GIRIWO Akakiiko kalonze abantu 191, 850 okukola ku kulonda kuno. kuliko 6,801 b’oku byalo, 6,801 bagenda kukuuma butebenkevu ate 8, 390 bagenda kubeera ku miruka.

Abalala 1, 667 bakolere ku magombolola okulaba nga buli kintu kitambula bulungi. Byabakama yategeezezza nti akakiiko kakkaanyizza nti Gavumenti olunaku lw’okulonda okulangirira nti, lwa kuwummula mu ggwanga wonna kisobozese abantu bonna abakkirizibwa okuli n’abayizi b’amasomero basobole okukwenyigiramu. Enkola egenda okugoberera ya kusimba mu mugongo era okubala obululu kugenda kukolebwa abakozi b’akakiiko abanaaba bassiddwa mu bitundu ebyo.

LUBADDE LUGENDO LUWANVU Akakiiko k’ebyokulonda okulangirira okulonda kuno lwe kunaaberayo, kubadde kusiitaana wakati ku kunoonya ensimbi ze beetaaga ng’eno abeesimbyewo bwe bayomba olw’okulagaanya ebitatuuka. Okuva mu 2001, akakiiko kabadde kalagaanya okussaawo okulonda naye ne kitabaawo.

Akakiiko kaafunye obuwumbi musanvu endala okuyambako okutegeka okulonda kuno n’okw’abamagombolola. Kino kyaddirira palamenti okulagira minisitule y’ebyensimbi abawe ssente. Bannayuganda baakoma okulonda abakulembeze b’ebyalo emyaka 17 egiyise mu 2001.

Mu 2017 akakiiko kaafuna obuwumbi 15 okutegeka okulonda kyokka kkooti y’eyimiriza okulonda kuno ng’ebula olunaku lumu okulonda okubaawo nga November 12, 2017. Abaawaaba baawa ensonga nti abamu bayizi abaali mu lusoma mu kiseera ekyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssaabasumba Lwanga (owookubiri ku ddyo) n'abakulu abalala mu Klezia nga baziika Fr. Lumanyika e Lubaga.

Bannayuganda mukolerere emi...

SSAABASUMBA w'Essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga asabye Bannayuganda okukolerera emirembe n’awa...

Balooya ba Ssewanyana nga balina bye bamwebuuzaako.

Omubaka Ssewanyana ne banne...

Omubaka wa Makindye West, Allan Ssewanyana eyasindikibwa mu kkomera e Kitalya wiiki ewedde n'abawagizi be  kyaddaaki...

Nabbi Omukazi ayagala ABS ...

MARGIE Kayima (Nabbi Omukazi) ayagala aba ABS TV bamusasule obukadde 700 lwa kukozesa eddoboozi lye mu kalango...

Mugagga ng'alaga ezimu ku nte eziri ku ffaamu ye.

ETTAKA ERIRIMU AMAZZI G'ENS...

MAUREEN Mugagga agamba nti yafuna ettaka okuli ensulo z'amazzi agakulukuta agafuuse ensulo y'obugagga kubanga gamusobozesa...

Minisita w'ebyenguudo Gen. Katumba Wamala ng'atongoza ebyuma ebikola enguudo e Masaka.

'Alina pulaani ku nguudo gw...

OKWETEGEKERA akalulu ka 2021, Vision Group etwala ne Bukedde ekoze okunoonyereza n'ezuula ebizibu ebiruma abantu...