TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Amagye googedde Kitatta gyeyaggya emmundu- Yabukadde 27

Amagye googedde Kitatta gyeyaggya emmundu- Yabukadde 27

Added 26th May 2018

Amagye googedde Kitatta gyeyaggya emmundu- Yabukadde 27

 Emmundu ya zaabu amagye gye yalumiriza Kitatta okubeera nayo.

Emmundu ya zaabu amagye gye yalumiriza Kitatta okubeera nayo.

AMAGYE gakyewuunya Abudallah Kitatta gye yaggya ekirowoozo ekibeera ne pisito eya zaabu egula obuwanana ate nga si mujaasi. Pisito eno yakukusibwa kuva Yisirayiri. Amagye era gewuunya ebigendererwa bya Kitatta kubanga mu kibiina kye ekya Bodaboda 2010 mulimu “eggye” eryezooba n’abaserikale e Busega; era eggye lya Kitatta kaabula kata liremese abaserikale okutwala omuntu waabwe eyakwatibwa e Busega nga January 19, 2018.

Pisito ya Kitatta egwa mu kika kya Titanium Gold Desert Eagle enkola enkadde. Egula okuva ku doola 5,000 (eza Uganda 18,680,000/-) n’okweyongerayo. Eya Kitatta egula obukadde 27 nga tekuli misolo.

Yakolebwa kkampuni ya Magnum Research and Israeli Military Industries ey’Abayisirayiri. Yamaanyi okusinga pisito ezisinga obungi. Kkampuni ezikolera ku “order” (soma wooda) kubanga temala gajajaamizibwa. Eno ye pisito eyaleeteddwa mu kkooti y’amagye e Makindye ng’ekizibiti mu misango egivunaanibwa Kitatta ne banne 12 egy’okuba n’emmundu n’ebyambalo by’amagye mu bukyamu.

EMMUNDU ZA ZAABU SI ZAABULIJJO - BRIG. KAREMANI Omwogezi w’eggye lya UPDF, Brig. Richard Karemire yagambye nti emmundu eza zaabu si mmundu zaAbulijjo. Bangi abagula pisito bakozesa za kwekuumisa ezimanyiddwa.

Kitatta amagye gakimussaako okubeera n'emmundu ya zaabu.

 

Era olw’okuba mu Uganda teziriimu, okugireeta ofuna olukusa olw’enjawulo. Kyokka n’emmundu endala eziyingira mu ggwanga zeEtaaga olukusa. Emmundu ya Kitatta yakukusibwa okuyingira wano nga tefunye lukusa.

Pte. Richard Kasaija omujaasi wa CMI eyakwata Kitatta yategeezezza kkooti ku Mmande nti, pisito eno yanjawulo ku mmundu z'azze alaba, zaabu tebaasigako musiige, wabula yonna ya zaabu okuggyako ekipiira ekiddugavu ekiriko kye kitali kya zaabu.

N’agamba nti Kitatta alabika pisito agimanyi amaanyi gaayo, kubanga bwe baagenda okumukwata nga January 20, 2018 mu wooteeri ya Vine Tea e Wakaliga yagaana okuggulawo oluggi. “Twakozesa ekisumuluzo kya wooteeri ekirala, kyokka bwe twayingira, Kitatta yeesibira mu kaabuyonjo. Twamala kumuwa biragiro nti bw’ataggulawo tumukuba amasasi n’alyokka agonda. Kyokka bwe yaggulawo yalina pisito eyeewuunyisa ate nga n’essasi alitadde mu 'chamber' (cemba) nga yali yeetegese okutukuba”, omujaasi bwe yategeezezza.

EGGYE LYA KITATTA Kasaija yannyonnyodde kkooti nti, okukwata Kitatta ne basajja be tebyabadde byangu, katono babalemese okubakwata. Yagambye nti bwe baafuna obujulizi nti eyali asse omubazi w’ebitabo wa Case Hospital yali avuga bodaboda e Busega, baagenda okumukwata.

Omusajja gwe baali baagala okukwata baamusangawo ku siteegi ya bodaboda, kyokka bwe baamukwata abasajja munaana be baali balowooza nti ba bodaboda baasalako amagye ne bagalemesa okumutwala. Olw’okuba okugenda okukwata omusajja ono baasooka kweyanjula ku poliisi y’e Nateete, baalina okuddayo okugitegeeza nga misoni ewedde.

Eggye lya Kitatta eryali likulirwa Huzair Kiwalabye lyaggulawo olutalo olwo abaserikale ne beesanga mu kattu. Ekyabawonya, abasajja ba Kitatta baasalako ekkubo erigenda e Nateete nga bategedde nti amagye gye gagenda okuyisa musajja waabwe. Aba bodaboda abamu beegabanyamu ne bagenda ku bitaala by’e Nateete bazibe amakubo gonna ge balina okuyitamu babaggyeko munnaabwe.

Kasaija agattako nti,, baavuga badda Busega ne bakyamira ku Masiro Road wabula aba bodaboda baasigala babagoba. Baaweta ku Kalema Road baggukire ku ddwaaliro ly’e Lubaga, wabula wakati nga tebannatuuka ku ddwaaliro, aba bodaboda abaali bakulembeddwaamu Joel Kibirge, beeyongera okubagoba okutuusa eyakulira ekikwekweto ky’amagye lwe yabalagira okuyimira.

Yagambye nti, abasajja ba Kitatta baabakasukira abajaasi amayinja ne gaasa endabirwamu y’emmotoka naye Kasaija ne gamukuba omukono ekyabawaliriza okukuba amasasi olwo basajja ba Kitatta ne babuna emiwabo. Mu kavuvungano, baakwatako abamu okuli ne Kibirige wabula aba bodaboda ne baddamu ne beekunga buto. Okuva awo abamagye baakwata ku Sir.

Albert Cook Road ne bagwa ku Bombo Road ne bakkirira e Makerere ne bayunga ku Gaddafi Road ne bagwa ku Martin Road e Kampalamukadde ne batuuka awali Miritale ewa Kisekka.

Yannyonnyodde nti okutuusa abasibe e Mbuya, tekyali kyangu baalina okukubira CMI ne Miritale okubayamba. Abasibe bwe baabatuusa e Mbuya baabaggyako essimu ne basangamu ennamba kumpi bonna gye baali bakozesezza mu kiseera we beezoobera n’amagye. Essimu eno baagizuula nga ya Kitatta nga mu biseera we baalwanira n’aba bodaboda, Kitatta ye yali awa ababodaboda ebiragiro ku ssimu.

ENGERI GYE BAAKWATA KITATTA Enkeera nga January 20, baabasindika okukwata omuntu omulala ku King Fahad mu Kampala wabula bagenda okutuukawo ng’avuddewo. Baamanya nga Kitatta yali agenze ku Vine Tea Hotel e Wakaliga gye baamukwatira.

Bwe baatuuka ku wooteeri, beegabamu abamu ne bayingira munda abalala ne basigala ebweru. Agaba eyabakulembera n’asaba ekitabo ky’abagenyi n’alaba erinnya n’ennamba y’omuntu gwe baali banoonya nga ye Kitatta n’asaba okumutwala mu kisenge mw'ali. Baakonkona nga Kitatta taggulawo okutuusa omukozi ku wooteeri lwe yaleeta ekisumuluzo ekirala n’aggulawo nga Kitatta taliimu.

Yali yeggalidde mu kaabuyonjo ne bamulagira aggulewo n’agaana okutuusa lwe baamugamba nti oluggi bagenda kulugguza ssasi. Bwe yafuluma baamulagira okuwanika emikono ne bamwaza ne bamusanga ne pisito eya zaabu ng’erimu amasasi ataano ng’erimu alitadde mu ‘chemba’ alinze kukuba.

Baamuteeka ku mpingu ne bamutwala awali emmotoka ye, banne be yali nabo ne badduka wabula abaajaasi abaali wabweru ne babakwata. Emmotoka ya Kitatta yayazibwa nga mulimu emmundu endala biri.

Emu ng’eri ku ludda lw’omusaabaze ng’erimu amasasi 15 ate endala kika kya SMG ng’eri ku lwa ddereeva ng’erimu amasasi 30. Abaali badduka baategeeza nti baserikale. Baabasaba empapula ezoogera ku mmundu nga tebazirina.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nnawasa omubanda n'antamya ...

NZE Naboth Nuwagira, 27, mbeera Kitintale. Obulamu bwange bwonna eby’abakyala saabiwanga nnyo budde nga nnoonya...

'Amafuta' g'omusumba gaanzi...

GIFT Katusiime, 20, eyali atembeeya caayi mu Kampala ali mu kusoberwa okutagambika. Alumiriza omusumba gye yali...

Omukazi ampa ssente n'alina...

Nnina abakazi babiri ng’omu ndaba alina empisa era ava mu maka malungi. Omulala ansiga obukulu era akola ng’ampa...

Maj. Gen. Kyanda ng’ayogera n’aba LDU e Kakiri.

Aba LDU basabiddwa okulongo...

AKULIRA emirimu mu magye g’okuttaka, Maj.Gen. Leopold Kyanda, akyalidde abaserikale ba LDU e Kakiri, n’abakalaatira...

Minisita Nabakooba

Abawala b'amassomero abafu...

OMUWENDO gw’abaana abato abafuna embuto mu kiseera ky’omuggalo gw’okwerinda obulwadde bwa ssenyiga gweyongedde...