TOP

Ab'akatale k'e Bugoloobi bagobye aba Multiplex

Added 26th May 2018

Ab’akatale k’e Bugoloobi bagobye aba Multiplex

 Mahuruba (akutte akazindaalo) nga yeewozaako ku by’okutunda Paakingi y’akatale.

Mahuruba (akutte akazindaalo) nga yeewozaako ku by’okutunda Paakingi y’akatale.

EMIRIMU gyasannyaladde ku katale k’e Bugoloobi abakakoleramu bwe beegugunze ne boonoona langi aba Multiplex gye baasiize mu paakingi y’akatale nga baagala okusolooza buli mmotoka eneesimba mu kifo kino.

Aba Multiplex baazinze akatale kano ku Lwokubiri ekiro nga bali wamu n’abaserikale ne batandika okusiiga langi mu paakingi y’akatale. Abasuubuzi balumiriza abamu ku bakulembeze b’akatale kano abakulemberwa ssentebe Bruhan Wamala ne Julius Mahuruba okutunda paakingi y’akatale.

Ssentebe Wamala yabyegaanyi n’agamba nti bwe yawulira ku bigambo bino yawandiika ebbaluwa eri KCCA ng’ali wamu ne kansala wa Nakawa 1, Moses Okwera nga bawakanya Multiplex okwagala okutwala paakingi y’akatale. Agamba nti baazinzeeko akatale ne batandika okusiiga langi nga naye tebamutegeezezza.

Abakulembeze bonna beegaanyi okutunda paakingi y’akatale. Kansala Okwera yagambye nti KCCA tekkirizangako Multiplex kusolooza ssente ku bantu basimba mmotoka mu paakingi y’akatale kano.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...