TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Buganda ewadde Abasiraamu ekyapa kya yiika ttaano

Buganda ewadde Abasiraamu ekyapa kya yiika ttaano

Added 27th May 2018

Buganda ewadde Abasiraamu ekyapa kya yiika ttaano

 Katikkiro Charles Peter Mayiga ng'akwasa Omulanigra Kasimu Nakibinge ekyapa

Katikkiro Charles Peter Mayiga ng'akwasa Omulanigra Kasimu Nakibinge ekyapa

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II awadde abasiramu ekyapa okuzimbako omuzikiti ssaako n’okukolerako emirimu gy’enkulakulana okuli amasomero, amalwaliro n’emirala ng’ettaka lidda mu kifo kye eryo eryaliko omuzikiti mu Lubiri e Mmengo.
 
Ettaka lino lisangibwa ku bbuloka 495 poloti 9 Buswa- Ssisa- Busiro nga liwerako yiika ttaano ng’ekyapa kino Katikkiro Charles Peter Mayiga yakikwasizza Jjajja w’Obusiramu mu Uganda Omulangira Kassim Nakibinge.

“ Emabegako awo mwawulira ensonga z’Omuzikiti mu Lubiri e Mmengo. Sirowooza nti waliwo Omusiramu ataziwulirako. Omulangira Nakibinge n’abakulembeze b’Obusiramu tubadde tuwuliziganya bulungi ku nsonga eyo era byonna byetubadde twogeraganya mbadde mbyanjula ewa Ssabasajja Kabaka.

 
Bwatyo nno Ssabasajja Kabaka yasiima okufunira abasiramu ettaka eddene obulungi basobole okuzimbako omuzikiti n’ebyokwekulakulanya ng’amasomero n’amalwaliro. Olwaleero nnina essanyu okukwasa Omulangira Kassim Nakibinge ekyapa ky’ettaka Ssabasajja kyeyasiima okuwa abasiramu olw’ensonga eyo,” Mayiga bweyalambuludde okusiima kwa Kabaka.

Omuzikiti guno gwali mu Lubiri e Mmengo, gugambibwa okumenyebwa okuva mu Lubiri e Mmengo  ku ntandikwa ya 2013 era Abasiramu bangi bakissa ku Mayiga ebiseera ebyo eyali Minisita w’ebyamawulire e Mmengo okuba mu kkobaane ly’okuggyamu omuzikiti guno.

 
Bino byabadde Bulange- Mmengo ku Lwokutaano May 26, 2018 ku mukolo Obwakabaka kwebwasibululidde abasiramu mu kiseera kino eky’ekisiibo kyabwe ekitukuvu nga guno gwabadde mulundi gwakutaano ng’ekikolwa kino kikolebwa.
 
Nakibinge yeyabadde Omugenyi omukulu ku mukolo guno era mu kwogera kwe yasambazze ebyogerwa abantu nti Kibuli ne Mmengo tebikwatagana wabula nakiggumiza nti ye tasobola kubeera ‘mujjinga’ bwatyo kubanga enjawukana bwebeerawo ekirya omu ate bwekimumala kidda ku mulala.

 “ Waliwo ebigambo bingi ku nsonga y’Omuzikiti guno naye twatuula emyaka ena egiyise ne tukkiriziganya era Mmengo yebadde etubanja nti tuwandiise ekyapa kino mu mannya ki? Twali tumanyi nti ensonga z’obusiramu eziri mu mikono gya Gavumenti ziriterera wabula nekirwawo.

 
Ekirala twalwawo kubanga ensonga eno yakwata ku biwayi by’abasiramu byonna ne kiba nti bwetugamba nti tubiteeke mu kiwayi ekimu ate ekirala kijja kuwulira bubi,” Omulangira Nakibinge bweyanyonyodde.
 
Nakibinge yategezezza nti bakiriziganyizza okuteeka ekyapa kino mu linnya
UGANDA YOUNG MUSLIM MEN ASSOCIATION era bwatyo naye yakikwasizza Ssentebe w’ekibiina kino.
 
Mayiga yayongedde n'asaba abasiramu mu kisiibo kino okusabira Obumu okubukala mu Buganda ate n’okusabira Kabaka ayongere okukulembera obulungi abantu be.
 
Ye Supreme Mufti, Sheikh Kasule Ndirangwa yekokodde ettemu erikyase ensangi zino bwatyo n'asaba abasibe begayirire Omutonzi akwate ku mitima gy’abakyamu bano, abantu basobole okubeera mu mirembe mu ggwnaga lyabwe.
 
Omukolo gwetabiddwako Sheikh Kibaate, Baminisita ba Kabaka okuli Omumyuka Owokubiri owa Katikkiro Dr. Twaha Kaawaase, Sipiika Nelson Kawalya n’Omumyuka we Hajj Ahmed Lwasa ng’ono ye yabadde Ssentebe w’Olukiiko olwategese omukolo omwaka guno. Hajj Hamis Kakomo Omubeezi ow’ebyobulimi nga yeyabadde Kalabalaba.
 
Bannabyabufuzi kwabaddeko Loodi Meeya Erias Lukwago, Meeya w’e Makindye Ali Nganda Mulyanyama, Ssentebe wa Disitulikiti y’e Wakiso Matia Lwanga Bwanika n’abalala bangi betabye ku mukolo guno ng’oluvanyuma basadde era nebagabulwa ekijjulo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaasomerako e Kako nga bawaayo ebintu

Abaasomerako e Kako bawadde...

ABAYIZI abaasoomerako e Kako abeegattira mu kibiina kya Kako Old Students Association (KOSA) badduukiridde essomero...

RDC Kirabira ne ssentebe Matia Bwanika nga batema ddansi. EBIFAANANYI BYA PETER SSAAVA

CAO wa Wakiso atabaganyizza...

Akabaga kano akaabaddewo ku Lwokuna ku Maya Nature resort mu ggombolola y'e Nsangi e Wakiso, keetabiddwaako abakulira...

Omugenzi Sgt. Dick Magala

Abapoliisi abaafiiridde mu ...

GIBADDE miranga na kwazirana ku kitebe ky’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango (CID) e Kibuli...

Ebimu ku bibala ebitwalibwa ebweru. Mu katono ye Kanyije.

Abatwala ebirime ebweru bee...

Abat wala ebirime ebweru w’eggwanga beemulugunya ku buseere bw’entambula y’ennyonyi ez’emigugu ng’ebisale byalinnyisibwa...

Ssentebe wa Luwafu B, Iga Gonzaga ng’annyonnyola abamu ku batuuze be ebyavudde mu kkooti.

Kkooti eyimirizza NEMA okug...

ABATUUZE b’e Kansanga abasoba mu 300 bafunye ku buweerero Kkooti Enkulu bw’efulumizza ekiragiro ekigaana ekitongole...