
POLIISI esabye abazadde okutwala abaana baabwe ku masomero okumalawo obuzibu bwonna okubatuukako nga olusoma lwa ttaamu ey’okubiri lugguddewo.
“Nnina amawulire nti waliwo abantu bannakigwanyizi abalwanira n’okweyita bannannyini lusozi lwe Kagulu, kino tekisoboka,” Museveni bwe yategeezezza.
Bino yabyogedde bwe yabadde ku mukolo gw’okulinnya akasozi Kagulu ogwatuumiddwa Kagulu Rock Climbing Challenge ogwabadde mu ggombolola y’e Kagulu mu disitulikiti y’e Buyende ku Lwomukaaga.
Omukolo gwa Kagulu Rock Climbing Challenge gubaawo buli mwaka nga guno gwategekeddwa Minisitule y’ebyobulambuuzi mu Busoga ekulemberwa Minisita w’ebyobulambuzi Owek.
Hellen Namutamba. “Munansonyiwa situnuulidde mu Ssemateeka w’eggwanga naye gavumenti saako ne Palamenti y’eggwanga bye bivunaanyizibwa okufuula ekifo kyona eky’obulambuzi mu ggwanga ate ekifo ekimaze okulangirirwa, omuntu tasobola kuvaayo ate n’agamba nti kikye,” Pulezidenti bwe yategeezeza. Era yayongeddeko nti omuntu bw’abeera n’ebintu bye yali yazimba ku ttaka ly’ekifo ky’obulambuuzi kyonna, GAavumenti eyinza okumusasulamu ssente n’avaawo.
Pulezidenti okwogera bwati yabadde ayanukula okusaba kwa Katuukiro wa Busoga, Dr. Joseph Muvawala eyamusabye abayambe ku kulwanyisa omuntu eyeeyita nnannyini lusozi lwa Kagulu. Era Katuukiro yasabye Pulezidenti Museveni akube kkolansi enguudo ezigenda ku bifo by'obulambuzi byonna mu Busoga ng’atandikira ku zigenda e Kagulu.
Pulezidenti mu kumuddamu yategeezezza nti gavumenti ekola enguudo nnya okuli olwa Musita- Mayuge-Namayingo olutuuka e Busia ate egenda kukola omuli olw’e Iganga-Luuka okutuuka e Kamuli.
Yategeezeza nti Gavumenti yamala okukuba kkolansi enguudo okuli olwa Jinja-Kamuli ne Iganga-Kaliro.
Wabula yategeezeza nti Gavumenti yagabira ebitebe bya disitulikiti byonna mu ggwanga ebimotoka ebikozesebwa mu kulima enguudo n’asaba beeyambise ebyo balime enguudo mu bitundu byabwe.
Yalabudde disitulikiti ezipangisa ebyuma bino eri abantu ne babikozesa okukikomya era n’alabula ababikozesa okukomya okubba amafuta.
Yasiimye sipiika wa Palamenti Rebecca Kadaga okussa essira mu kaweefube w’okutumbula ebyobulambuzi mu Busoga.
Yagambye nti Busoga erina ebyobulambuuzi bingi ebitasangika walala n’awa ekyokulabirako ng’ensibuko y’omugga Kiyira n’asaba Obwakyabazinga bwa Busoga ssaako n’abantu abalala babikuume bireme kwonoonebwa.
Museveni yasabye Abasoga okwongera amaanyi mu kulima emmere ey’okutundako era n’asaba Kyabazinga wa Busoga okukubiriza abantu be okulima emmere.