TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abasimattuse akabenje Museveni abayiyeemu obukadde 3 buli omu: Bacamuse

Abasimattuse akabenje Museveni abayiyeemu obukadde 3 buli omu: Bacamuse

Added 28th May 2018

AVUNAANYIZIBWA ku byensimbi mu maka g’Obwapulezidenti, Lucy Nakyobe awadde aba famire z’abaasimattuse akabenje akaagudde e Nanda mu disitulikiti y’e Kiryandongo obukadde busatu buli omu.

 Amongi ne looya we Nsekanabo mu kakiiko. Nakyobe ng’akwasa Majid Kintu obukadde busatu.

Amongi ne looya we Nsekanabo mu kakiiko. Nakyobe ng’akwasa Majid Kintu obukadde busatu.

Yabadde atuukiriza ekisuubizo kya Pulezidenti eky’okuyamba abaalumiziddwa nga babawa ssente ez’okubajjanjaba n’abaafiiriddwa ez’okubayamba mu kuziika.

Abantu 22 be baafiridde mu kabenje n’abalala ne balumizibwa nga bajjanjabirwa mu ddwaaliro e Mulago ne Nsambya.

Nakyobe ssente zino yazikwasizza abalwadde bennyini ku bitanda byabwe ng’obwedda buli afuna ssente bamuwa olupapula kwawandiika okukakasa nti azifunye.

Abalwadde bataano abajanjabirwa e Mulago be baasoose okuweebwa ssente nga kuliko, Majid Kintu eyamenyese okugulu, David Mutebi alumizibwa mu mbirizi, Ruth Martha Nabisuubi, Simon Ojok ne Abudu Ssempijja.

Joel Wasswa eyasangiddwa nga yakasiibulwa ne basuubiza naye okumuwa ezize. Nakyobe oluvannyuma yagenze mu ddwaaliro e Nsambya gye yasanze abalwadde musanvu nabo n’abawa ssente zaabwe n’asuubiza okunoonya aba famire z’abafudde nga buli omu waakufuna obukadde butaano.

Omu ku balwadde ng'afuna ssente

 

Abalwadde ssente zaabacamudde, Majid Kintu n’agamba nti aba famire ye amagezi gabadde gabeesibye nga banoonya ssente z’okuggula ekyuma eky’okumussaamu era nga zino bagenda kuzikozesa ng’entandikwa.

Ate eyaliko omubaka wa Kooki mu Palamenti, Maj. Erazimus Mugumya Magulumaali yagambye nti embeera amalwaliro g’omu byalo gye galimu yennyamizza ng’abantu abamu abaggwa ku kabenje basobola okufa olw’obutafuna bujjanjabi butuufu. Maj. Magulumaali yabadde mu kuziika muzzukulu we, Norman Mugumya Mulangwa, 10 eyafudde n’abantu abalala 21 e Kiryandongo.

Bazzukulu be, Nathan Mulangwa Magulumaali 8, Malcon Kabunga ne Muka mwana we, Jackline Apio Mulangwa baafunbye ebisago nga bajjanjabirwa mu ddwaaliro e Nsambya. Eyafudde mutabani wa Denis Mulangwa nga yaziikiddwa e Bulyakamu mu ggombolola y’e Lwanda e Kooki mu Rakai.

Yategezezza nti, bazzukulu be okuggwa ku kabenje, nnyaabwe Jackline Apio abadde yabatwala ewaabwe gye bamuzaala e Lira okuwummula nga baabadde bakomawo okutandika okusoma.

Magulumaali yategeezezza nti, akabenje tosobola kukeewala wabula Gavumenti yandibadde efaayo okulongoosa amalwaliro agali ku nguudo ezigenda ewala ng’abantu abagendayo basobola okufuna obujjanjabi obutuufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaleppuka n'ogwokulya mu n...

KKOOTI yamagye e Makindye yejjeerezza abajaasi bataano ababadde bavunaanibwa okukola olukwe okuvuunika gavument...

Nuwashaba (ku kkono) lwe baamultwala ku kkooti okukola siteetimenti. Ku ddyo ye mwana Kyamagero eyattiddwa

Nuwashaba alaze bwe yafuna ...

OMUSAJJA gwe baakutte n’omutwe ku Palamenti ayogedde engeri gye yaweebwa ddiiru y’okusala omutwe gw’omwana n’alumiriza...

Nagirinya eyattibwa

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Nagirinya: Ffayiro ye efuus...

OMULIRO ogwayokezza ofiisi y’akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango e Katwe, gukyatabudde abantu olw’engeri...

Katikkiro, Charles Peter Mayiga ng’aliko by’ayogera ne Emmanuel Katongole mu kusabira Kitaka e Lubaga.

Kabaka atenderezza emirimu ...

SSAABASAJJA Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi atenderezza emirimu egikoleddwa Francis Xavier Kitaka eyafa...