TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Engeri gy'okozesa 'Social Media' n'ototta kisiibo kyo

Engeri gy'okozesa 'Social Media' n'ototta kisiibo kyo

Added 29th May 2018

MU kiseera kino abantu bangi naddala abavubuka Abasiraamu bajjumbidde nnyo emikutu emikwanira wala egimanyiddwa nga ‘social media’ ebiseera bye bandikoleddemu Ibaada (emirimu emirungi) babimalira ku mikutu egyo.

 Omusiraamu ng'alaga obubaka bwa WhatsApp ku ssimu.

Omusiraamu ng'alaga obubaka bwa WhatsApp ku ssimu.

Mu mbeera eno, abakozesa emikutu gino okuli; facebook, WhatsApp, twitter n’emirala bagikozesa bubi kuba bangi balabako buseegu ekiboononera okusiiba kwabwe.

Sheikh Imran Ssali, Imaamu w’omuzikiti omukulu e Kampalamukadde, annyonnyola engeri emikutu gya ‘social media’ bwe gisobola okukwonooneramu ekisiibo.

“Tufunye omukisa omwezi gwa Ramadhan ne gutusangawo naye mu kiseera kino waliwo ebintu ebiyinza okukendeeza empeera zaffe oluusi n’oku kyonoonera ddala nga kiva ku ‘social media’. Abantu bangi batamidde nnyo Facebook ne WhatsApp omuvubuka kiyinza okumutwalira olunaku lulamba ng’ali ku mikutu egyo.

ENKOZESA YA ‘SOCIAL MEDIA’ EKWONOONERA EKISIIBO;

  • Olugambo, obulimba, okwejerega, okwevuma n’ebirala bye bisinga ku mikutu gino. Osobola okufiirwa ekisiibo ng’oli ku Facebook ng’olimba, ovuma n’ebirala. Waliwo abalowooza nti obulimba bw’oku Facebook si bubi, ekyo kikyamu. Nabbi Muhammad (S.A.W) yagamba nti omuntu yenna atalekaayo lugambo, kugeya, kulimba, tewali nsonga lwaki aleka emmere ye n’ebyokunywa bye.
  • Okugimalako obudde bungi ne kikuggya ku kusinza Allah. Omukkiriza yenna yandibadde afaayo okukozesa obudde bwonna ng’atendereza Allah kuba guno mwezi gwa kweyoolera mpeera. Wabula obudde bungi Abasiraamu babumala ku ‘social media’.
    Omuvubuka asobola okuyitwako esswala ng’ali ku ‘WhatsApp’ oba Facebook ng’abimaliddeko ebirowoozo bye byonna. Bangi tebatunula mu Kulaani kyokka ng’omwezi guno gwa kugisoma. Mu Busiraamu, obudde kintu kikulu nnyo gye tuli, era buli ssaawa ekuyitako, Allah ajja kukubuuza kye wagikoleramu. Bw’odda mu bitakugasa, ojja kufiirwa empeera mu kisiibo.
  • Obutambi bw’obuseegu ku mukutu gino byonoona ekisiibo kyo, omuntu asiibye, talina nsonga lwaki alaba eby’obuseegu. Abasiraamu abalaba obutambi oba abantu bali obwereere mu firimu okusiiba kwabwe kufu.

BW’OSOBOLA OKUGANYULWA MU ‘SOCIAL MEDIA’ MU KISIIBO KYO;

Waliwo engeri gy’osobola okukozesaamu ‘social media’ zino n’osobola okufuna mu kisiibo kyo okuli;

  1. Kubeerako abasomi ba kulaani; Essimu yo osobola okutambula nayo ng’owuliriza Kulaani n'ofunamu.
  2. Kubeerako emisomo gy’eddiini, n'abasomesa ba yirimu abalungi b’osobola okuwuliriza n’ofunamu.
  3. Osobola okukolerako ddaawa ng’osomesa banno bye batamanyi n’ofuna empeera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabineeti eteesezza okuggul...

KABINEETI eggulo yateesezza ku kuggulawo akeedi n’ebirina okussibwa mu nkola nga ziggulwawo.

Ekibalo ky'okulima ennyaany...

ENNYAANYA kireme ekyettanirwa abangi olw’okuba kikula mangu ate nga kirina akatale okutandikira ku bantu b’okukyalo...

Basajjabalaba

Ebyapa Basajjabalaba by'ali...

EBYAPA omugagga Haji Hassan Basajjabalaba bye yafuna ku ttaka lya Panda PL e Luzira, bisattiza abatuuze nga bagamba...

Abatuuze nga bagezaako okuzikiriza omuliro

Omuliro gwokezza amayumba 1...

ABATUUZE b’e Kawaala bali mu maziga olw’omuliro ogugambibwa okuva ku masannyalaze okusaanyaawo amayumba agawera...

Abakozi ba Imperial Royale ...

ABAKOZI ba wooteeri ya Imperial Royale bavunaaniddwa okujingirira ebiwandiiko n’okufiiriza gavumenti ya Uganda...