TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mzee Zedde: Yeewuunya bannaddiini abavudde ku mulamwa

Mzee Zedde: Yeewuunya bannaddiini abavudde ku mulamwa

Added 29th May 2018

MZEE ZEDDE simanyi oba byendaba nammwe eyo bye mulaba? Neewuunya ensi gyeraga olw’ebikolobero ebitatadde nga biringa ebiranga enkomerero y’ensi.

Faaza Ssemogerere eyakkirizza ogw'okuzaala mu muwala atanneetuuka

Faaza Ssemogerere eyakkirizza ogw'okuzaala mu muwala atanneetuuka

Ggwe tegereza buli kiseera okuwulira nti Omusosodooti gundi yafunyisizza omuwala olubuto, ate olulala n’owulira ne Canon egindi nti ye ali ku gwa kusobya ku muwala atanneetuuka ate oba olyawo ne zireeta pasita gwe bakutte abitebye ku by’okuwamba omuwala n’amutta!

Ekikanga kwekuba nti ebintu bingi bigwawo ne watabaayo ddoboozi livaayo mu nzikiriza ez’enjawulo kuvumirira na kugumya bagoberezi ku baweereza nga bano ababeera bawabye.

Nnalinda Klezia okuvaayo ebeeko ky’eyogera ku Musosodooti eyakkiriza okuzaala mu muwala omwana ate n’asooka okumwegaana naye na buli kati siwulirangayo kanyego.

Naye nnali nasooka kulinda ddoboozi liva Luweero eryogera ku kikolwa kya Canon gwennalaba nga n’emyaka giwanvuye eyawemuka!

Abalokole nabo tukyababanja okubaako ky’eboogera ku Paasita w’e Mbikko gwe baayingiza mu by’okuttibwa kw’omuwala agambibwa nti yali na muganzi we ate ng’asoose kuganza na nnyina, laba ebyo.

Mu mateeka g’ensi, omuntu taba na musango okutuusa nga gumusinze n’olwekyo basajja ba Katonda aboogerwako tukitwala nti tebalina misango okutuusa nga basimbiddwa mu kkooti z’amateeka ne bawozesebwa era emisango ne gibamegga.

Wabula kyotosaanye kwerabira nti abantu bano obutafaananako ng’abalala, baasalawo kuweereza Mukama n’olwekyo n’okusongebwamu obusongebwa olunwe nga bateeberezebwa okubaako eby’amazambi bye beenyigiddemu kyennyamiza.

Mu nkola entuufu, abantu nga bano tewali na webandyesemberezza mbeera ebasonzesaamu lunwe lwa kwenyigira mu bikolwa ebikyamu era bwe basongebwamu ennwe, kitegeeza nti tebatuukiridde mu nkola ya mirimu gyabwe, baliko akabuuza kuba Abaganda bagamba nti ‘ awali omukka tewabula muliro”.

Kyannaku abantu abanditulyoye emyoyo ate ffe be basumba okutandika okubalyowa emyoyo! Nazzi kuno abaweereza ba Mukama baalinga bantu ba njawulo era ddala nga bw’omutunuulira olabira ddala nti yayawulibwa era yayitibwa naye abamu ku bantu baffe bano omutunuulira n’osoberwa.

Naddala abasajja mu kkanisa oba Eklezia mwali olumukwasa endiga, atandikira awo okweroboza, asumulula emu kw’emu ne wewuunya ddala oba omuntu ng’ono omukono gwa Katonda gubeera ku ye.

Amasinzizo mangi Katonda tagaliimu olw’abagakulira okwenyigira mu bintu ebimunyiiza kyokka abagoberezi ne bagenda mu maaso n’okugoberera omuntu ng’ono eyava edda ku mulamwa.

Nze kye ndaba, bangi ku bantu bano tebalina kuyitibwa kwa Mukama kuweereza ky’ova olaba nga tebakwatibwa nsonyi kwenyigira mu bikolwa ebyesittaza n’okuleeta ebbala ku mubiri gwa Kristo.

Wadde mukama waffe yagamba nti alikomawo okunona ekkanisa eteriiko bbala wadde olufunyiro, abakulu bano ekkanisa bagitaddeko ebbala eddene nga bayita mu bikolwa byabwe.

Ndowooza ekiseera kituuse bekikwatako okuddamu okwetegereza ennyo abantu abayingira mu buweereza bwa Katonda kuba ekituufu kiri nti abamu ku bo beenoonyeza bya nsi era obuweereza babweyambisa kufuna kyakulya na kweyagala kwa nsi.

Okusunsula abantu bano kyandibadde kyangu naye ate bw’otunula ku baweereza ku ludda lw’Abalokole engeri gyebayingiramu obuweereza kiba kizibu okubasunsula kubanga abamu bagamba nti Mukama abalabikira n’abafukako amafuta g’obuweereza olwo ani ayinza okubabuuza nga bafukiddwako amafuta?

Bapasita abamu baagaana okubaako ekibiina kyonna mwe bagwa ekyandibalung’amizza ku nkola y’emirimu gyabwe era bwe weetegereza, Bapasita nga bano basongebwamu nnyo ennwe olw’engeri gyebakolamu emirimu gyabwe.

Paasita bamukutte ku by'okuwamba omwana ne bamutta

Eby'omwana bireppusa Faaza!

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mwanje (wakati) nga "bamunywedde"

Ofiisa munsonyiwe nva kuziika!

MAKANIKA eyeeyise owa poliisi bamukutte n’alwanagana n’abaserikale ng’agamba nti tebalina kye bayinza ku mukola....

Abawawaabirwa, Christine Guwatudde Kintu, Joel Wajala , John Martin Owor  ne Lutimba Kyeyune Fred Martin nga bali mu kaguli

Bana basimbiddwa mu kkooti ...

Abakungu bana okuva mu ofiisi ya Ssaabaminisita abavunaanibwa okulya eza COVID19 basindikiddwa mu kkooti ewozesa...

Sazir Lumala disitulikiti Kaadi w'e Mukono ng'ayogera n'abamawulire ku poliisi e Mukono.

Disitulikiti Kaadi w'e Muko...

Bya ERIC YIGA POLIISI e Mukono ekutte disitulikiti Kaadi waayo Sheikh Sazir Lumala naggulwako omusango gw'okukozesa...

Abasiraamu balabuddwa okuko...

BYA JAMES  MAGALA  Kino kidiridde Poliisi okuyoola abasiraamu 25 e Mpingi nga bagambibwa okuba abayeekera mu...

Bagudde ku mulambo gwa mutu...

Abatuuze b'e Kawaala zooni 2 mu divizoni y'e Rubaga baguddemu ekyekango bwe basanze mutuuze munnaabwe nga yafiridde...