TOP

Ebya Paasita Yiga ne Ssennyonga bisajjuse

Added 29th May 2018

Ebya Paasita Yiga ne Ssennyonga bisajjuse

PAASITA Jackson Ssennyonga bwe yalangirira olutalo ku b’ayita bannabbi ab’obulimba teyalowooza nti, Yiga Mbizzaayo ow’e Kawaala ajja kumuddiza omuliro “zaabike emipiira.” Yiga abadde akwata omuzindaalo n’alumba Ssennyonga awatali kutya kwogera kalebule. “Oyo Ssennyonga mufere.

Yeekwese mu P5 okunyaga abantu. Musajja akwata abakazi! Ani ataakimanya bwe yakabaasanya omuwala ku nnyonyi ne bamusiba mu Amerika?”, ebyo by’ebigambo Mbizzaayo kw'azimbira obubaka bwe okuyuzaayuza Ssennyonga. Gye biggweeredde nga Ssennyonga ensonga azitutte mu kkooti ayagala Mbizzaayo abonerezebwe okumwogerako kalebule asasule n’ensimbi. Ssennyonga yasooka kwanika Mbizzaayo bw’ali Nabbi w’obulimba.

Apanga abantu ne beefuula abalalu oba abalina ebirwadde olwo Yiga n’alabika ng’abawonyezza. Apanga obujulizi okulowoozesa abantu nti akola ebyamagero. Kyokka nga byonna bipange! Ssennyonga y’akulira Christian Life Church e Bwaise ate Yiga wa Revival Christian Church e Kawaala.

Omusango guli mu Kkooti Enkulu mu Kampala. Ssennyonga agamba nti Yiga yamulebula bwe yasinziira mu kkanisa ye nga August 28, 2017 n’ategeeza wakati mu bagoberezi be nti, Ssennyonga akabaasanya abaana abato, akwata abakazi, mubbi, asinza amasitaani, musajja atali mwesimbu ate abba ettaka ly’abagoberezi be.

N’agattako “Ssennyonga tasaanira kubeera musumba, mumenyi w’amateeka era mukumpanya.” Ebigambo yabyogera ne biragibwa butereevu ku ttivvi ya ABS ng’abagoberezi bwe basakaanya naddala bwe yayasanguza ebigambo nti, Ssennyonga yatigaatiga omuwala ku nnyonyi mu Amerika, ne bamusiba emyaka ebiri. Ayagala kkooti eragire Yiga amuliyirire, asasule n’ensimbi ezinaakola ku musango era Kkooti egaane Yiga n’abagoberezi obutaddayo kwogera ku Ssennyonga.

Ssennyonga agamba nti Yiga bwe yamala okumujolonga n’okumunafuya ate n’akowoola Ssennyonga agende e Kawaala amuteekeko empeta addemu amaanyi. Era Yiga yayogera nti ekkanisa ya Ssennyonga yali ya mugenzi Balabyekkubo eyagigula ku ssente ze naye n’afa kyokka Ssennyonga n’ayingirawo atamanyi muwendo gwa ssente zaazimba kkanisa wadde ezaagula ettaka.

Yalaze nti olw’okulebulwa Yiga,yafuna ebirwadde era alina ebbaluwa z’abasawo kwe bamujjanjabira. Yiga tetwamufunye kubaako by’ayogera. Twategeezeddwa nti ali South Africa. Kyokka Yiga alina akalango ke yateeka ku ttivvi ng’alumba Ssennyonga gw’agamba okulembera ekiwendo okumugoba mu busumba n’ategeeza nti tayinza kumugoba kuba tamuwandiikangako era tabeerangako munne.

YIGA YAYOGERA BINO KU SSENNYONGA Katonda y’amanyi omuntu omutuufu n’atali mutuufu, kati ggwe ani akuba ttooci mu bikolebwa mu kkanisa yange?

Oli munnamateeka olyoke onsalire omusango? Wamanya otya nti ndi mwenzi? kitegeezza naawe Ssennyonga oli mwenzi, olaba watuuka n’okukwata akaaana mu nnyonyi! Nze mmanyi fitina na buggya bye bikutawaanya.

Ssennyonga oli mubbi kuba n’ettaka okuli ekkanisa yo wanyaga linyage, lyali lya mugenzi Balabyekkubo. Nze sitinkuulwa misaana, bantikuula kiro, kati naye kiwuliremu.

Buli lw’onjogerako kinnyumira kuba kinnyongera mukisa era ompa ttuttumu. Y’ensonga lwaki hhenda mu maaso. Emyaka 13, gye mmaze nga nsumba ekkanisa, oyagala kwefuula nti ggwe antegeerera? Singa bye nnali nkola tebiriiyo, abantu bandibadde bakyajja!

SSENYONGA AMALIRIDDE OKWANIKA OBUSAMIZE BWA YIGA Ssennyonga yategeezezza Bukedde nti ye amanyi Yiga ng’omusamize, afera abantu nti akola ebyamagero kyokka nga byonna bya bulimba. Nze Yiga simuyita paasita kuba tabeerangako, era nze muyita Mw. Yiga kuba musajja mukulu mu myaka.

Abuzaabuzizza nnyo abantu. Ekirungi nze mulinako obujulizi ku buli kye mmwogerako omuli n’okubeera omusamize era obujulizi nja kubuwa mu kkooti. Njagala Yiga naye akole ekintu kye kimu aleete obujulizi ku bye yayogera. Bwe kimulema Ssennyonga hhenda kufaafagana naye.

Ssennyonga yaweze nti yaggulawo olutalo ku bannabbi aboobulimba abakulemberwa Yiga era olutalo tajja kuluweeza okutuusa ng’amaze okubawangula. Ng’abantu bonna bategedde nti, Yiga ne banne bafere. Nsuubira okufuna obwenkanya mu kkooti kuba ndi ku mazima ku buli kye njogera.

SSENNYONGA ALUDDE NG’AGUGULANA NE YIGA Gye buvuddeko waliwo ekibinja ky’abavubuka abaakulemberwa Brian Opio eyavaayo n’alumiriza Yiga nga bwe yamulagira okwefuula omulalu ng’amusuubizza okumuwa 800,000/-. Yagenda mu kkanisa ye e Kawaala n’amusabira n’awona. KyokkaYiga n’agaana okumusasula. Yagendayo nga January 5, 2018 wakati mu bantu abangi era abantu ne bakakasa nga Yiga bwe yali amuwonyezza eddalu. Kyokka Yiga oluvannyuma yategeeza nti bino byonna byali bipangiddwa Ssennyonga kuba abantu abaali bamulumiriza okubakozesa n’atabasasula yali tabalabangako.

Nga October 12, 2017, abasumba abeegattira mu bibiina eby'enjawulo baatuuza olukiiko lwa bannamawulire ku kkanisa ya Ssennyonga ne bagoba abasumba okuli; Nabbi Samuel Kakande owa Synagogue Church of All Nations e Mulago Ku Bbiri, Augustine Yiga ne Brother Ronnie Makabai owa ETM nga bakibateekako nti bafere abagenderera okuggya mu bantu ssente n’okupanga ebyamagero. Kyokka Yiga yabaanukula nti tebalina ngeri gye bayinza kumugoba kuba tabeerangako munnaabwe. N’agamba ntiongoba otya gw’otawandiika. Bwe nnali nfuuka paasita ku bangoba ani yampa olukusa?

ABASUMBA ABALALA ABAZZE BAGUGULANA Paasita Aloysiuos Bugingo owa Prayers Ministries International takwatagana na Dr. Joseph Serwadda owa Victorty Centre Ministries. Emirundi mingi Bugingo abadde alumba Sserwadda nga bw'atayagaliza, omubbi w’ettaka eyali amusindikidde ne mutabani we amubege. Kyokka ne Sserwadda naye yamwanukula nti tayinza kumumalirako budde kuba Bugingo aliko ekikyamu ku bwongo.

Bp. David Kiganda owa Christianity Focus Centre e Mengo - Kisenyi yayambalirako Serwadda bwe yali attukizza ekirowoozo ky’okuteekawo obukulembeze bw’abalokole obumu mu ggwanga n’amugamba nti; Sserwadda addeyo mu kibiina gye yeewaggula. Agamba nti twegatte naye mu mumbuulize asobola okubeera mu kibiina kyonna nga si y’akikulembera n’asigala ng’asaba okwegatta?Paasita Solomon Male emirundi mingi azze agugumbula abasumba okuli Samuel Kakande, Yiga Mbizzaayo okubeera abafere.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssennyonga musajja wa buggy...

Endiga z'omugenzi Augustine Yiga katono ziffe essanyu bwe zirabye ku musajja wa Katonda Bro. Ronnie Makabai owa...

Ab'e Kawempe balaajanye ku ...

okulaajana kuno baakukoze oluvannyuma lwa Ahmed Lukwago eyeegwanyiza ekifo ky’obwa kkansala bw’omuluka guno okukulemberamu...

Wakayima atangaazizza ku mp...

"Nze Wakayima Musoke Hannington Nsereko era abo abatidde akalulu bakkakkane kuba ffirimbi yavugga dda Kati tulinze...

Ennyumba y'oku kiggya abamu ku b'Engabi gye baagala Yiga aziikibwe. Ebifaananyi bya JOHN BOSCO MULYOWA

Abengabi beeyawuddemu ku by...

ABAKADDE b’ekkanisa ya Pasita Abizzaayo Yiga eggulo baatudde mu lukiiko olw’amangu olw’enkaayana ezaabaluseewo...

Paasita Bujjingo ng'agumya Jengo, mutabani w'omusumba Yiga

Ebiri mu katambi ka Paasita...

Ku Ssande nga October 25, 2020, Ssenyonga yasinziira mu kusaba mu kkanisa ye n’alumba abasumba ab’enjawulo omwali...