
Ezimu ku nguudo embi eziri mu munisipaali ye Kawempe
EBINNYA ebisusse mu nguudo ze kawempe okuli n’olw'eddwaliro ly'e Mulago byeraliikirizza baddereeva ne basaba gavumenti okusitukiramu okuzikola.
Enguudo ezimu ezaali zimanyikiddwa okubaamu ebinnya zikoleddwa okuli oluva e Kyebando okudda e Bwaise (olwa Mambule) , olw'e Kanyanya mu Kitala, olwa Bahai okuva e Kanyanya okudda e Kisaasi kyokka endala ziri mu mbeera mbi olw’ebinnya ebizijjuddemu .
Ezimu ku nguudo eziri mu mbeera embi kuliko olw'e Mulago ku ddwaliro olujjuddemu ebinnya ebyeraliikirizza abavuzi b’ebidduka bye bagamba nti biviiriddeko mmotoka zaabwe okwonooneka n’obubenje ssaako n’abamenyi b’amateeka okulufuula ekifo ky’okubbiramu abantu mu matumbi budde.
Olwa Lumasi oluva ku lw'e Gayaza okudda e Ttula , olw’omu Kafunda e Bwaise , oluva e Makerere Kavule ku ssomero lya Yellow okudda ku lwa Sir Apollo kaggwa, oluli emabega w’eggombolola okugenda okutuuka ku Jakana n'endala.
Dalausi Basirika ow'e Mulago yategeezezza nti enguudo mu Kawempe divisoni eziri mu mbeera embi nnyingi okuli n'olw’eddwaliro Mulago olumaze emyaka n'ebisiibo nga buli lwe lujjamu ebinnya balukuba biraka.
Yagasseeko nti Ambyulensi ne kabangaali za poliisi zisanga obuzibu okuyita mu binnya bino nga ziddusa abalwadde abayi ng’era kino kibaviirako okufa nga tebannatuusibwa mu ddwaliro.