TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Palamenti ekkirizza gav't okussa emisolo ku 'mobile money', pikipiki, butto ne 'whats app''

Palamenti ekkirizza gav't okussa emisolo ku 'mobile money', pikipiki, butto ne 'whats app''

Added 30th May 2018

Palamenti ekkirizza gav't okussa emisolo ku 'mobile money', pikipiki, butto ne 'whats app''

PALAMENTI eyisizza etteeka erikiriza  gavumenti okussa omusolo ku ‘mobayiro mane’, bbutto, pikipiki ,n’okukozesa emikutu gya kompyuta egy’empulizinga nga ‘’whats up’’, ‘’viber’’ n’emirala egitabadde gya kusasulira.

Kino kyakulembeddwa  ababaka okukubagana empawa ku nsonga eno ng’abamu bagamba nti emisolo gigenda kugaziya enfuna ya gavumenti n’abalala nga bakayana nti ginyigiriza banaku .

 Bino byabaddewo mu palamenti ng’ababaka bateesa ku bbago ly’etteeka lya  ‘’Exercise duty amendment bill,2018’’ erigenda okussaawo emisolo egitali gimu. Abagiwagira bagamba nti kiyamba gavumenti okwongera ku nfuna yaayo n’okulakulanya eggwanga ng’abakiwakanya bagamba nti kinyigiriza abaavu.

Ababaka abatuula ku kakiiko ka palamenti ak’ebyensimbi mu lipooti yabwe eri palamenti ku nsonga eno baawagidde  gavumenti okussa omusolo ku bakozesa ‘mobayiro mane’ nga bagamba nti kigenda kwongera okuyamba eggwanga okufuna ssente

Era baawagidde emisolo ku bbuto ne pikipiki empya eziwandisibwa omulungi ogusooka. Kyokka  ne basaba omusolo ku binywebwa ebigonvu nga sooda gukendezebwe nga bagamba nti guli waggulu bw’ogerageranya  n’amawanga g’omulirwano. Baagala omusolo guno gukendezebwe okuva ku bitundu 13 gudde ku bitundu 12 kuba bwe guba waggulu kivaako okumukukusa okuva ebweru.

Ku ‘mabayiro mane’  ababaka bagamba mu lipooti nti omuntu asobola okweyambisa enkola endala yonna ey’okutambuza ssente. N’agamba nti abakozesa enkola endala babadde basasula n’olwekyo n’aba ‘mobayiro mane’ basasule.

Kyokka mu kukubaganya ebirowoozo ku nsonga eno mu palamenti eya wamu ababaka beetemyemu ng’abamu bawagira abalala bawakanya. Omumyuka wa ssentebe w’akakiiko kano Joy Katali yategeezezza nti abakozesa ‘mobayiro mane’ balina okusasula kuba n’abatambuza ssente mu ngeri endala basasula.

Omubaka Anna Nankabirwa (Kyankwanzi NRM), Abraham  Byandaala (Katikamu North) ne ssentebe w’akakiiko ka palamenti aka bajeti Amos Lugoloobi bawagidde emisolo gino nti gigenda kuyamba okuzimba enyingiza y’eggwanga gavumenti etuuse obuwereza ku bantu.Ne  James Kakooza (Kabula) n’agamba  abatayagala kuwa musolo gwa ‘mobayiro mane’ baleme kukozesa nkola eno.

Kyokka Patrick Nsamba (Kassanda North) n’awakanya ng’agamba nti emisolo gikosa baavu. David Abala (Ngora) yawakanyizza omusolo ku pikipiki ne mobayiro mane ate Elijah Okupa (Kasiro) n’agamba nti kikyamu abanene okwewoma okuwa omusolo ng’abanaku basasula. Oluvannyuma etteeka baliyisizza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulambo gwa Paasita Yiga g...

OMULAMBO gwa Paasita Augustine Yiga guggyiddwa mu ggwanika ly'eddwaliro ly'e Nsambya gy'abadde ajjanjabirwa ne...

Enkuba egoyezza ab'e Kyeban...

Obuzibu abatuuze bano babutadde ku bakola oluguudo lwa Northern bypass abaayiwa ettaka mu mikutu egyanditutte amazzi...

Paasita Kyazze

Paasita Kyazze naye ayogedd...

Agambye nti Omusumba Yiga abadde muyiiya nnyo, omusanyusa era ayagala ky'akola kyokka bino byonna yandibikoze...

Paasita Ssenyonga ng'ayogerera mu lukung'aana lwa bannamawulire

Paasita Ssenyonga atuuzizza...

Ayogedde ku mugenzi nga abadde nabbi ow'obulimba , omukabassanyi w'abakazi era nga waafiiridde abadde awerebye...

Omugenzi Col Shaban Bantariza

Col Bantariza afudde Covid1...

Gavumenti ekakasizza nti omugenzi Col. Shaban Bantariza yafudde kirwadde kya Covid 19.