TOP

Ssebuufu byongedde okumwonoonekera

Added 31st May 2018

Ssebuufu byongedde okumwonoonekera

 Ssebuufu ne Don Betty Katushabe kati omugenzi

Ssebuufu ne Don Betty Katushabe kati omugenzi

OMUJULIZI owa 22 mu musango gw’okutta omusuubuzi Donah Katusabe alaze kkooti amasimu Muhamad Ssebuufu ge yakubira abanene mu poliisi ku lunaku omugenzi lwe yattibwa. Mu be yakubira kuliko eyali aduumira CPS, Aaron Baguma.

Omujulizi ye Detective Cpl Brian Magoola omukugu mu kulondoola n’okulumika amasimu. Eggulo, yalaze omulamuzi lipoota eraga olukalala lw’amasimu Ssebuufu ne Baguma ge beekubira nga October 21, 2015.

Ku olwo Katusabe lwe yattibwa. Baguma yasooka kuvunaanibwa wamu ne Ssebuufu kyokka omusango bwe gwatandika okuwulirwa omuwaabi wa Gavumenti n’ayimiriza okuvunaana Baguma ng’agamba nti tewali bujulizi bumala kumuluma.

Omusango guwulirwa Omulamuzi wa kkooti enkulu Anglin Ssenoga. Ssebuufu eyabadde mu kaguli, avunaanibwa ne bakanyama be musanvu okuli; Paul Tasingika, Phillip Mirambe, Steven Lwanga, Shaban Odutu, Yoweri Kitayimbwa ne Damaseni Ssentongo. Kigambibwa nti batta Katusabe lwa ssente obukadde 9, Ssebuufu ze yali amubanja ku mmotoka gye yamuguliza ku kibanda kya Pine ku Lumumba Avenue e Nakasero. Omusango gwatandika okuwulirwa nga February 5, 2018.

Oludda oluwaabi lwakaleeta abajulizi 22, n’ebizibiti okuli emmotoka UAP 155T eyakozesebwa okuwamba Katusabe. Ekizibiti ekirala kya musaayi ogwamuvaamu nga bamukuba. Magoola, mukugu mu kulondoola amasimu ku kitebe kya poliisi e Naggulu.

Yagambye nti nga October 21, 2015 ku ssaawa 3 ez’ekiro, Ssebuufu yakubira Baguma era kirabika yali atambula kubanga essimu ye yakwatibwa emirongooti egy’enjawulo omuli ogw’oku Lumumba Avenue, Aha Towers ne Mulago.

Ku ssaawa 5:00 ez’ekiro Baguma yakubira Ssebuufu ne boogera era n’addamu okumukubira ku ssaawa 5:41 nga Baguma ali mu bitundu bya Hotel Africana n’e Kololo. Ekiro ekyo Katusabe lwe yattibwa. Mu balala Ssebuufu beyakubira kuliko; Sam Kiwanuka amanyiddwa nga “Damage” nga naye mutunzi wa mmotoka.

Magoola yagambye: Oweekitiibwa omulamuzi, okusinziira ku bye nnazuula, Baguma ne Ssebuufu baali mu mpuliziganya kubanga beekubira amasimu emirundi mingi ku lunaku Katusabe lwe yattibwa. Kyokka yagambye nti bye baayogera tabimanyi kubanga ye yali alondoola masimu ge baakuba n’ebifo mwe baali.

Ebikwatagana ne bye baayogera tabimanyi. Kigambibwa nti Katusabe yawambibwa Ssebuufu okuva mu maka ge, e Bwebajja ku ssaawa nga 8:00 emisana n’atwalibwa ku kibanda kya Ssebuufu ku Pine gye yakubibwa. Poliisi yagenda okumutaasa, yasanga aliko kikuba mukono n’afi ira mu ddwaaliro e Mulago ku ssaawa 2:00 ez’ekiro nga baakamutuusaayo.

Omulamuzi yakkirizza lipooti ya Magoola era egenda kukozesebwa ng’obujulizi bw’anaaba asala omusango. Omujulizi omulala yali omukugu wa poliisi mu kusoma ebinkumu, Pius Caningom eyalaga omusaayi poliisi gwe yasanga mu mmotokaeyakozesebwa mu kuwamba Katusabe.

Omusaayi gwali mu mutto gw’emabega era omukugu wa Gavumenti Geoffrey Onen eyakebera omusaayi guno yakakasa nti gwa Katusabe. Ate omuserikale Francis Amanzuruku eyaggya Katusabe ku Pine we baamukubira yategeeza kkooti nti yagenda okumutuukako ng’ebigambo abiggya wala.

Yali akubiddwa ng’alina ebiwundu ku mikono n’amagulu nga bivaamu omusaayi mungi. Ate omuserikale Specioza Nyanzi eyakozesebwa okukima Katusabe e Bwebajja yagamba nti Katusabe yamutuusiza ku Pine n’amuleka mu ofi isi ya Ssebuufu akawungeezi kyokka enkeera ne bamutegeeza nti yali attiddwa.

Ssebuufu avunaanibwa ava bweru. Mu kkomera yamalayo emyezi 11, ne yeeyimirirwa Tamale Mirundi ne Sheikh Nuhu Muzaata.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuserikale ng'ayingiza Mabaale  mu kaduukulu.

Eyateeze muliraanwa n'amute...

POLIISI y’e Mpigi ekutte omutuuze n’emuggalira lwa kukakkana ku muliraanwa we n’amutema ejjambiya ku nsingo n’ekigendererwa...

Asooka ku kkono ye mumyuka w'akulira yunivasite ya UCU, Prof. Aaron  Mushengyezi ate asooka (ku ddyo) ye Ndyanabo.

Vision Group enywezezza enk...

YUNIVASITE ya Uganda Christian University eyongedde okunyweza enkolagana yaayo ne Vision Group. Enkolagana eno...

Sipiika Jacob Oulanyah.

Omumyuka wa Sipiika wa Pala...

OMUMYUKA wa Sipiika wa Palamenti, Jacob Oulanyah era nga yeegwanyiza n’entebe ya Sipiika mu kisanja kya Palamenti...

Christine Luttu, Pulezidenti wa Rotary Club y'e Kololo ng'akwasa Charles Mugme (ku ddyo) engule.

Bannalotale basiimiddwa olw...

ABALOTALE ye Kololo basiimye abamu ku bammemba baabwe abakoleredde ennyo ekibiina kyabwe mu kutuusa obuweereza...

Abaavunaaniddwa mu kkooti y'amagye.

ABAGAMBIBWA OKUNYAGA OMUKOZ...

ABAGAMBIBWA okulumba amaka g’omukozi wa bbanka nga bakozesa emmundu basimbiddwa mu kkooti y’amagye omu nakkiriza...