
Luyima ng'annyonnyola
ATWALA eby’entambula ku Poliisi ya CPS mu Kampala, Julius Luyima, alaze ebitundu eby’obulabe mu Kampala omukyali abeeyita basajja ba Abudalla Kitatta abakwata bodaboda za bannaabwe nga bakolagana n’abaserikale ku bu poliisi obutono mu Kampala.
Julius Luyima agamba nti, omuntu okukwata pikipiki ya munne nga si muserikale bubeera bubbi obw'etaaga okulwanyisa n’amaanyi nti kyokka ate abandibadde babulwanyisa bebakolagana n’abakwata pikipiki ate ekitongole kya Crime Intelligence ekyandibadde kibakwata nakyo tekifuddeyo.
Luyima agamba nti, okukwata pikipiki ezzizza omusango tekyandibadde kibi naye ggwe agikwata ogikutte nabigendererwa ki. Bweyabadde ayogera ku nsonga eno mu ofiisi ye, Luyima yagambye nti, basobodde okuyigiriza baddereeva n’abavuzi ba bodaboda mu Kampala okugondera amateeka wabula bano abakwata pikipiki bebafuuse omuziziko.
Agattako nti, okukola ebikwekweto bwebityo, birina kukolebwa omuserikale ng’ali mu yunifoomu nekibeera mu mateeka nga kikulembeddwa omuserikale wa poliisi y’ebidduka.
Agattako nti, poliisi y’ebidduka webeera tebabeerawo babaza ng’evuddeko oba mu bifo awatali muserikale wa poliisi ya bidduka webatandikira okukwata nebatulugunya abavuzi ba bodaboda babaggyemu ssente.
Agamba nti abakwata bodaboda bakolera mu bitundu okuli, Nakivubo Road, Cooper Complex, Nile Coach, Mini Price, Clock Tower, Punjani.
Pikipiki bwezikwatibwa, zitwalibwa ku bu poliisi obwetoloodde ebintu bino Luyima ky’agamba nti, lwaki abakulira bu poliisi buno bakkiriza okutereka pikipiki zino bwebaba tebalina ddiiru nabazikwata.
Agattako nti, bwebaba tebayambiddwa bakulira bu poliisi buno mu kulwanyisa abakwata pikipiki mu Kampala, obubbi bukyali bungi.
Agamba nti, singa pikipiki ekwatibwa ng’erina omusango gw’ekoze ku luguudo, fayiro ebeera erina okuwerezebwa mu ofiisi ekola ku nsonga z’ebidduka ku CPS n’ekolebwa.
Agamba nti bafunye okwemulugunya okuva ku Biwologoma, Mini Price, UsAFI, Kafumbe Mukasa ne Nile Coach ng’abantu beemulugunya ku bakwata pikipiki zaabwe mu bukyamu nezitawandiikibwa na mu bitabo bya poliisi ya bidduka.
Pikipiki ezikwatibwa ezimu zibulira ddala bannanyini zo nebataddamu kuziraba ate abalala babaggyamu ssente empitirivu okuzibaddiza.