TOP

Abooluganda 3 batting'anye lwa ttaka

Added 1st June 2018

Abooluganda 3 batting’anye lwa ttaka

 Ekyalo kyajjudde ebiwoobe ng’abooluganda battiηηanye e Kisanje mu Bukulula.

Ekyalo kyajjudde ebiwoobe ng’abooluganda battiηηanye e Kisanje mu Bukulula.

ABOOLUGANDA battiddwa mu kiro kimu olw’enkayaana z’ekibanja. Abamu babadde bazimbye amasabo ku ttaka ly’ekiggya! Ettemu litandikidde ku taata okwekobaana ne mutabani we ne batta mwannyina n’omujjwa.

Baasookedde ku mujjwa Mustafa Gwalamubisi 52 ng’ono baamuttidde mu ssabo gye baamutemeddeko omutwe. Nnyina Benna Nalwadda 80, bw’afulumye okudduukirira mutabani we Mustafa ng’eno bw’alaya enduulu, naye ne bamukuba omuyini ku mutwe. Bw’agudde tazzeemu.

Abadduukirize olutuuse ne balaba omulambo gwa Nalwadda mu luggya lw’akayumba ke n’ogwa Mustafa mu ssabo, ne bajjula obusungu. Baakoleddewo omuyiggo ne bakwata Vincent Kasolo 75 ne mutabani we Matia Kalimunda 25 ne babakuba bubi nnyo. Ettemu lino lyabaddewo ku ssaawa 7:00 ez’ekiro ekyakeesezza Olwokuna ku kyalo Kisanje West e Bukulula mu Kalungu.

Poliisi y’e Mukoko n’ey’e Lukaya eyaduumiddwa ASP Viane Birungi we baatuukiddewo ng’abatuuze bataamye okukira engo enkubeko. Poliisi yawandagazza amasasi mu bbanga kyokka nga Kasolo amaze okufa ate Kalimunda ye ng’aliko kikuba mukono. Ssentebe wa LC I Richard Musiitwa n’abatuuze bakitadde ku Kasolo nti yalemwa okumatira omugabo ogwamuweebwa kitaabwe omugenzi Polinaali Kajjangwa.

Bagamba nti kitaabwe okufa yaleka ayawulizzaako Kasolo ekitundu kye kyokka n’asigala ng’alulunkanira n’ekya bannyina kuba bazaalibwa abaana bataano ng’omulenzi alimu omu yekka. “Kasolo aludde ng’agugulana ne mwannyina ng’amugobaganya mu kayumba ke okutuusa jjolyabalamu bwe baamwongedde ekitundu ekirala ku kibanja kyokka era teyamatidde”, abatuuze bwe bakkaatirizza.

Ensonga endala ebadde y’amasabo nga gano omujjwa Gwalamubisi yagazimbawo ne nnyina Nalwadda ekitaasanyusa Kasolo. Kigambibwa nti omujjwa abadde agasawuliramu naye nga Kasolo kimubobbya omutwe era ng’akinenyeza bannyina nti ABAKUGU mu byobulamu bategeezezza nti kookolo w’omumwa gwa nnabaana yeeyongedde mu bakyala ng’entabwe eva ku butagemesa baana n’abakyala obuteekebeza.

Dr. Nolep Mugisha okuva mu ddwaaliro e Mulago ye yategeezezza bino mu musomo ab’ekibiina kya ‘Uganda Women’s Cancer Support organization’ gwe baategese ku EUREKA Hotel e Ntinda. Yabalabudde ku butaganza basajja bangi.

Ye Dr. Immaculate Ampeire yasabye abakyala okwekebeza kookolo w’omumwa gwa nnabaana. KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II (wansi) akungubagidde Omutaka Kisolo Herbert Muwanga, Oweηηonge eyabula ku Lwokuna lwa wiiki ewedde n’agamba nti Obwakabaka bufi iriddwa omuntu akoze ekinene okunyweza Nnamulondo.

Obubaka bwe obwawandiikiddwa Omuwandiisi we omukulu ow’ekyama, Peter Mpanga bwasomeddwa Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu e Mmengo, Joseph Kawuki nga ye yakiikiridde Katikkiro wa Buganda nga batereka (okuziika) Kisolo e Bwezza- Busujju ku Lwokusatu. OMUVUBUKA abadde avuga bodaboda akubiddwa ennyondo n’atwalibwa e Mulago nga takyategeera.

Omusajja ono eyategeerekeseeko erya Nsamba (ku ddyo) ng’abeera Nateete, poliisi yamulonze ku kkubo ng’akubiddwa ennyondo n’emutwala e Mulago gye yaweereddwa ekitanda. Abasawo bayita amanyi omusajja ono okugenda e Mulago okumuyamba kubanga tategeera bulungi oluvannyuma lw’okufuna ekisago eky’amaanyi ku mutwe.

BALABUDDE KU KOOKOLO WA NNABAANA KABAKA AKUNGUBAGIDDE OMUTAKA KISOLO BAMUKUBYE ENNYONDO KU MUTWE Ekyalo kyajjudde ebiwoobe ng’abooluganda battiηηanye e Kisanje mu Bukulula. empewo ze bayingiza zitabulatabula ezaabwe. Kasolo bamulesezza enju ennungi ebadde emuzimbirwa omuko eyawasa muwala we Zalwango ow’e Kampala.

Ate mutabani we Matia Kalimunda abadde yayonooneka olw’enjaga gy’akozesa ng’emu yasangiddwa mu kayungu ng’alabika yasoose kuginywa okutta ssenga we n’omujjwa. Abafamire Joseph Ntale, Florence Ndagire ne Resty Nakalema bakakasizza nti Kasolo ne mutabani we Kalimunda be basse Nalwadda ne Gwalamubisi.

Era bategeezezza nti Kasolo amaze ebbanga ng’alaalika mwannyina Nalwadda okumutta ng’olumu awandiika ebibaluwa n’abimutimbira ku nju n’okubimansa mu luggya. Kansala w’e Bukulula ku disitulikiti e Kalungu, Charles Sserwanja yagambye nti obutamatira bwa Kasolo bwe bumussizza. ASP Birungi oluvannyuma lw’okukuηηaanya obujulizi baggyeewo emirambo ne bagitwala mu ggwanika e Masaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ab'e Korea batandise kampey...

AB’E Korea bali mu kugaba musaayi okumala ennaku ttaano okutaasa bannaabwe abakwatibwa ekirwadde kya Corona.

Omubaka Amelia Kyambadde nga yeegasse ku batuuze okukola bulungibwansi

Abakulembeze mwongere amaan...

EKIBIINA ky'obwannakyewa kikulembeddemu abatuuze b'e Mpambire ne bakola bulungibwansi omubaka Amelia Kyambadde...

Omugenzi Maj. Gen. Eric Mukasa

Kabaka atenderezza munnamag...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II akungubagidde omugenzi Maj.Gen. Eric Mukasa gwayogeddeko ng’omu ku bavubuka abazira...

Ebiragiro by'akakiiko k'ama...

EBIRAGIRO by'akakiiko k'amasaza bitemyemu abaddukanya ttiimu ezenjawulo ng'abamu babiwagira ,ate ng'abalala bawera...

Aba akeedi bawanjagidde Gav...

ABAKULEMBEZE ba KACITA balabudde nti bavudde ku nkola y'akakiiko akassibwaawo okulambula akeedi mu Kampala okukakasa...