TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abavubuka mwewale okunyooma emirimu- Minisita Namuganza

Abavubuka mwewale okunyooma emirimu- Minisita Namuganza

Added 4th June 2018

Minisita omubeezi ow’ettaka mu ggwanga, Persis Namuganza avumiridde enkola y’obwassemugayaavu mu bavubuka ensangi zino ekibaviiriddeko n’okulondoba mu mirimu egimu ne bagaana okugikola ate nga baavu n’eky’okulya tebakirina.

 Namuganza ng'ayogera eri Bannamukono.

Namuganza ng'ayogera eri Bannamukono.

Namuganza agamba nti kikyamu gavumenti okuperereza bamusiga nsimbi abazze mu ggwanga ne batandika amakolero okuli mu kibangirizi e Namanve n’e Mbalala naye ng’eby’embi ate abakozi abagakolamu bava mu disitulikiti z’engulu nga Moroto, Karamoja, Lira n’endala.

Ono yabadde ayanukula ssentebe wa disitulikiti y’e Mukono, Andrew Ssenyonga eyamuloopedde nti wadde Mukono y’emu ku disitulikiti ezisinga okubeeramu amakolero amangi, ate eky’ennaku kwe kuba nti n’abavubuka bangi mu kitundu kye kimu tebalina mirimu.

Ssenyonga yagambye nti abavubuka mu kitundu kino baagaana okukola mu makolero olw’ensonga ez’enjawulo omuli okuba nti bamusiga nsimbi basasula ensimbi ntono, emirimu egirimu okuba egy’amaanyi ennyo nga bwe batyo baasalawo okusigala ku nguudo nga tebalina kye bakola ye ng’omukulembeze ky’avumirira.

“Eky’ennaku kwe kuba nti abakozi mu makolero gano abava mu bitundu bye wala ate bwe bakungaanya ensimbi bagula ettaka ly’obusika ku bavubuka bano bbo mu nsimbi ne bagulamu bodaboda abamu ne zibaviirako n’okufa n’endala ne zibbibwa bwe batyo ne basigala mu bwavu obutakoma. Twogedde ku nsonga zino okumala ebbanga naye be tubuulira tebawulira,” Ssneyonga bwe yannyonnyodde.

Bino byabadde mu kukuza olunaku lw’abakozi olwabadde ku kitebe kya disitulikiti y’e Mukono ku Lwokuna.

Mu kwanukula, Namuganza yasabye abazadde okukuza abaana baabwe nga bababuulira obubi n’obulabe obuli mu kunyooma emirimu n’obwa ssemugayaavu ekibaviiriddeko n’olumu okwefuulira abazadde baabwe ne babatta basobole okubalekera eby’obugagga beegazaanye.

Namuganza era yalabudde abavubuka abaafuna ensimbi ez’okwekulaakulanya eza Youth Livelihood Program (YLP) n’abakyala abafunye enzimbi eza UWEP okuzikozesa obulungi beewale okukola ng’abavubuka abasooka okuzifuna ne bazirya buli nga na kati abamu baliira ku nsiko.

Oluvannyuma yakwasizza ebibiina by’abakyala eby’enjawulo okuva mu magombolola 13 ceeke y’emsibi ya bukadde 178 ez’okukola emirimu beekulaakulanye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

President Museveni

Pulezidenti Museveni akoze ...

Pulezidenti Museveni akoze enkyukakyuka mu Magye ga UDPF

Brig.Flavia Byekwaso alondeddwa okwogerera amagye ga UPDF

Brig. Flavia Byekwaso alond...

UPDF elonze Brig Gen Flavia Byekwaso mu kifo ky'omwogezi wa UPDF ekibaddemu Brig. Gen. Richard Karemire ate Karemire...

Ssaabasajja Kabaka ng'awa pobubaka bwe ku mukolo gw'amatikikra ag'omulundi ogwa 27

Kabaka akubirizza abantu ob...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II alagidde abavubuka okukomya okwekubagiza n'okuggwamu essuubi naye beesitule bakole...

Abakulira abasuubuzi b'omu ...

ABAKULIRA  abasuubuzi b'omu Kikuubo bongedde amaanyi mu kukwasisa amateeka g'okulaba nga buli muntu ayingira e...

Okusaala mu muzikiti gwa Ka...

ABAKULEMBEZE ab'oku ntikko bokka ku lukiiko olufuga ekitebe ky'Obusiramu e Kampalamukadde ekya Uganda Muslim Supreme...