TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusuubuzi gwe baawambidde e Kasubi bamusanze Wobulenzi

Omusuubuzi gwe baawambidde e Kasubi bamusanze Wobulenzi

Added 4th June 2018

Omusuubuzi mu katale k’e Kasubi, Henry Sematiko, eyawambiddwa okuva mu makaage agasangibwa e Kyengera ku luguudo oludda e Masaka, asangiddwa ng’asibiddwa emiguwa ng’asuuliddwa e Wobulenzi mu disitulikiti y’e Luweero.

 Sematiko ng'atwalibwa mu ddwaaliro e Mulago okufuna obujjanjabi. Ebifaananyi bya Stuart Yiga

Sematiko ng'atwalibwa mu ddwaaliro e Mulago okufuna obujjanjabi. Ebifaananyi bya Stuart Yiga

Rehema Nakawooya, yategeezezza Poliisi nti, waliwo abasajja bataano abaabalumba ennaku z’omwezi nga May,25, 2018, awaka ne babakonkona kyokka olwaggulawo oluggi, bavumbagira bba mu bwangu obw’ekitalo ne babulawo naye nti kyokka ensonga yazitegeeza Poliisi n’aggulawo omusango ku fayiro namba CRB: 113/2018,  ne batandika omuyiggo.

Sematiko nga bamusitula okumuyingiza mu mmotoka okutwalibwa mu ddwaaliro e Mulago

“We twamuzuulidde yabadde teyeetegeera nga yenna asibiddwa emikono n’amagulu, nga bamusudde ku mabbali g’ekkubo we twamusanze ne tumutwala mu ddwaliro e Mulago okufuna obujjanjabi,” bw’atyo Nakawooya bwe yategeezezza Poliisi.

Sematiko nga yaakazuulibwa. Yasangiddwa aliggyiddwa emiguwa

Okunoonyereza okwakakolebwa Poliisi kulaga nti Sematiko, abadde musaale mu nkaayana ezigenda mu maaso mu katale k’e Kasubi era omuntu omu yakwatiddwa abayambeko mu kunoonyereza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Embiranye ku kifo ky'obwap...

OKUNOONYEREZA okukoleddwa Vision Group kuzudde nti okuvuganya mu bitundu bya Uganda kusinga mu Buganda, wakati...

Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa mu kkomera e Kitalya

Farouk bba wa Julie Underwo...

BBA wa munnakatemba Julie Underwood azannya nga Sharon mu ba Ebonies, Hosyn Kiiza oluusi eyeeyita Farouk asindikiddwa...

Isima Mutagaya

Owa Mobile Money asindikidd...

KKOOTI ya Buganda Road esindise omukozi wa Mobile money mu kkomera e Kitalya nga kigambibwa nti yabba ssente obukadde...

Kasasa

Kkooti egobye okusaba kw'ab...

KKOOTI Enkulu ey’ebyettaka egobye okusaba kw’abaana ba Sekabaka Muteesa mwe babadde baagalira okubakkiriza okujulira...

Pte Asiimwe (ku kkono), Pte Mugabi, 2Lt Kasmula ne 2Lt Ankunda mu kaguli ka kkooti gye baavunaaniddwa n’abaserikale ba poliisi e Makindye.

Boofiisa basimbiddwa mu kko...

BOOFIISA ba poliisi basimbiddwa mu kkooti y’amagye ne bavunaanibwa okusomola ebyama bya Gavumenti ne babigabira...