TOP

'Abasiiba mwegendereze ebigambo bye mwogera'

Added 4th June 2018

WALIWO abantu “abashiriku’’ nga be bagatta mu kusinza Allah n’ekintu ekirala. Kino basobola okukikola mu bigambo oba mu bikolwa kyokka nga basiiba.

 Sheikh Abdallah Musa Twantwawi

Sheikh Abdallah Musa Twantwawi

Bya MAHAD WAMALA
WALIWO abantu “abashiriku’’
nga beebagatta mu kusinza Allah
n’ekintu ekirala. Kino basobola
okukikola mu bigambo oba mu
bikolwa kyokka nga basiiba. Ddala
omuntu omushiriku akkirizibwa
okusiiba?
Sheikh Abdallah Musa Twantwawi
okulambulirira engeri omushiriku
gy’atateekeddwa kusiiba.
Nabbi Muhammad (S.A.W)
yagamba nti singa omuntu asiiba
omwezi gwa Ramadhan nga mukkiriza
era ng’asuubira empeera ewa
Allah, asonyiyibwa amazambi ge
gonna agaakulembera.
Ebigambo ebyo byajja nga bitegeeza
nti omuntu alina okubeera
n’enzikiriza entuufu, ng’akakasa
nti agoberera mateeka ga Allah ne
Nabbi we. Era omuntu ayawukana
ku mateeka ga Allah aba afuuse
kyewaggula.
Allah yagamba Nabbi Muhammad
(S.A.W) nti ssinga kaakutanda
n’ongattako ekintu kyonna, emirimu
gyo gyonna nandigisazizzaamu.
Era nagamba mu kulaani nti
omuntu yenna agatta ku Allah
n’enkintu ekirala talina Jjana.
Kati omuntu amushiriku asiibira
bwereere, kubanga shiriki ejjawo
enkolagana wakati w’omuntu ne
Allah we.
Nabbi Muhammad (S.A.W)
yagamba nti, singa omuntu
agenda ew’omulaguzi n’abaako
by’amulagudde n’abikakasa,
aba amaze okuwakanya Allah
n’omubaka we.
Abantu bagatta ku Allah mu
ngeri bbiri mu bigambo ne mu
bikolwa.
Ebikolwa bya shiriki omunene
mulimu; okugenda mu ssabo, okwalula
abalongo n’okuteeka
ssente mu bibbo byabwe,
okukuba ekitabo, okwesiba
yirizi, okuloga, okusala
enkoko n’ogiteeka mu
musingi gw’enju, okulaba
emmese ng’esala ekkubo
n’olaamiriza, okukaaba
kw’ekiwuugulu n’ogamba
nti kibika, okutuma omwana
akusisinkane akuwe
emikisa n’ebirala.
Ate Shiriki
ow’ebigambo, Nabbi Muhammad
(S.A.W) yagamba
ba swahaba nti kyensinga
okubatiisa ye shiriki omutono
(Shirik Aswigar) ne bamubuuza nti
yaliwa n’abaddamu nti kwekukola
omulimu naye
ng’ogukola lwa
kabandabe nga togukola ku lwa
Allah. Ne bamubuuza nti ate zambi
ki erisinga obunene n’abaganba nti
kwe kubanga Allah omuteekako
omuyambi. (Shiriki Akubar)
Omuddu asobola okusiiba
omwezi gwa Ramadhan mulamba
nga mugonvu okukamala naye
ng’abikola bantu kumulaba si ku
lwa Allah, amugamba nti wasiibanga
bantu kukulaba wabula ssi
ku lwa Allah.
Ebimu ku bigambo by’oyogera
n’ogatta ku Allah mulimu; engalo
okukusiiwa n’ogamba nti ogenda
kufuna ssente, emmese esaze
ekkubo nti gye 􀁋􀁋enda nja kufunirayo
ebizibu, Katonda agaba
nga mulalu, lubaale mbeera,
Katonda ayamba yeeyambye,
Singa tabadde gundi sandifunye,
kino
Nabbi Muhammad
yagamba nti omuddu
asobola okwogera
ekigambo nga
teyeefi iriddeeyo
naye nga
kinyiiza Allah
ne kimusuula
mu muliro.
Yagambye
nti abasiibi balina okwegendereza
ebigambo bye boogera.
OKUGENDA MU BASHEIKH
ABASOMI B’EDDUWA:
Kino Abasiraamu bakikola naye
nga kikyamu mu Busiraamu. Okusoma
edduwa tekwetaaga ssente
era kino kikyamu kuba omuntu ajja
obwesige ku Allah n’abuteeka ku
gwe amusomedde edduwa. Ggwe
kennyini omuntu funa wudhu yo,
osabe Allah wo mu lulimi lw’omanyi
omugambe ebizibu byo ajja kukwanukula.
Allah talina zambi ly’atasonyiwa
era abadde akola shiriki singa
yeenenya kati, Allah amusonyiwa.
Wabula singa yeenenyeza mu
makkati g’ekisiibo Allah akkirizaako
ennaku zaatandise n’okwenenya
ez’emabega tazikkiriza. Wabula
ssinga yeennenya ekisiibo bwe kiggwako
n’addayo aba munnanfusi.
Obukwakkulizo bw’okwenenya
Allah akusonyiwe, olina okukakasa
nti, ky’obadde okola kibi
era togenda kukiddamu. Olina
ku ky’obaddeko ng’oyagala

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

President Museveni

Pulezidenti Museveni akoze ...

Pulezidenti Museveni akoze enkyukakyuka mu Magye ga UDPF

Brig.Flavia Byekwaso alondeddwa okwogerera amagye ga UPDF

Brig. Flavia Byekwaso alond...

UPDF elonze Brig Gen Flavia Byekwaso mu kifo ky'omwogezi wa UPDF ekibaddemu Brig. Gen. Richard Karemire ate Karemire...

Ssaabasajja Kabaka ng'awa pobubaka bwe ku mukolo gw'amatikikra ag'omulundi ogwa 27

Kabaka akubirizza abantu ob...

KABAKA Ronald Muwenda Mutebi II alagidde abavubuka okukomya okwekubagiza n'okuggwamu essuubi naye beesitule bakole...

Abakulira abasuubuzi b'omu ...

ABAKULIRA  abasuubuzi b'omu Kikuubo bongedde amaanyi mu kukwasisa amateeka g'okulaba nga buli muntu ayingira e...

Okusaala mu muzikiti gwa Ka...

ABAKULEMBEZE ab'oku ntikko bokka ku lukiiko olufuga ekitebe ky'Obusiramu e Kampalamukadde ekya Uganda Muslim Supreme...