TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba Fresh Diary bajaguzza emyaka 50 nga basunda amata

Aba Fresh Diary bajaguzza emyaka 50 nga basunda amata

Added 5th June 2018

Dr. Anna Rose Ademun Okurut kamisona w’eby’obulamu n’ebisolo mu Minisitule y’eby’obulimi n’obulunzi akunze abantu ba bulijjo okwettanira okunywa amata n’ebyo ebikolwamu olw’ebirungi ebigalimu.

 Okurut ng'ayogerako eri abaamawulire. EBIFAANANYI BYA PROSSY NABABINGE

Okurut ng'ayogerako eri abaamawulire. EBIFAANANYI BYA PROSSY NABABINGE

Bino abyogeredde ku wooteri ya Serena gy'asiimidde kampuni ya Fresh Diary obutasuulirira balunzi mu ggwanga ng’ebagulako amata ekintu ky'agambye nti kye kimu ku bifudde Minisitule eno ey'amaanyi.

Ono oluvannyuma yeegattiddwaako Oliver Mary, dayirekita wa bakitunzi ba kkampuni eno mu nsi za East Africa ne baloza ku yogati omupya atongozeddwa.

Kino kijjidde mu kiseera kye kimu nga kkampuni eno ewezezza emyaka 50 bukya etandika kukutuusako Bannayuganda amata ag’omulembe.

Okurut mu ssuuti ya bbulu ng'alega ku yogati omupya aba Fresh Diary gwe baakoze.

Oliver Mary, annyonyodde nti yogati ono bamutaddemu amaanyi n’obwongo obwenjawulo okulaba nga Bannayuganda bafuna ekisinga era ajjidde mu bika ebyenjawulo.

Mu ngeri y’emu, Mary ategeezezza nga kkampuni eno bw'emaliriza ekkolero ly’amata n’ebigakolwamu era essaawa yonna lyakutandika okukola. Lino liwemmense akakadde ka ddoola 1.

Olukiiko luno lwegattiddwa n’abakungu okuva mu kitongole ekikakasa omutindo mu ggwanga, ekya UNBS wamu ne ba ajenti ba kkampuni ya Fresh Diary.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omulimu gw'okuddaabiriza Nk...

Abaasomerako ku ssomero lya Nkumba P/S bayingidde omutendera ogw'okusatu mu kuddaabiriza ebizimbe ku ssomero lino...

UGANDA EKWATA KISOOKA MU AF...

OMUWANDIISI w'enkalakkkalira mu minisitule y'ebyobulamu Dr Diana Atwine abugaanye essanyu oluvanyuma lw'okufuna...

Joseph Nuwashaba ng'atwalibwa mu kkooti

Eyakwatibwa ku by'omwana ey...

Omusajja agambibwa okutemako omwana Faith Kyamagero ow'emyaka 4 omutwe aleeteddwa mu kkooti.

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu