TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssabadinkoni aleppuka n'ogw'okusobya ku muwala atanneetuuka azziddwaayo mu kkomera

Ssabadinkoni aleppuka n'ogw'okusobya ku muwala atanneetuuka azziddwaayo mu kkomera

Added 6th June 2018

SSABADIINKONI w'e Luteete mu bulabirizi bwa Luweero Rev. Can. Kezekiya Kalule (62) azziddwaayo ku limanda e Butuntumula oluvannyuma lw'okusomerwa omusango gw'okusobya ku muwala atannetuuka.

 Can. Kezekiya Kalule

Can. Kezekiya Kalule

Bya Samuel Kanyike           

Yasimbiddwa mu kkooti y'akulira abalamuzi abato e Luweero Juliet Harty Hatanga omuwaabi wa gavumenti Getrude Opio n'ategeeza nga bwe bakyanoonyereza ku musango guno. 

Omulamuzi Hatanga yazzeemu okutegeeza nga bwatalina buyinza buguwozesa n'amusindika ku limanda e Butuntumula okutuusa June 18 lwanakomezebwawo gwongerwe okumusomerwa. 

Okusinziira ku ludda oluwaabi Can. Kalule omutuuze ku kyalo Luteete mu muluka gw'e Kyampisi mu ggombolola y'e Bamunaanika mu Luweero kigambibwa omusango gw'okusobya ku muwala atannetuuka yaguzza Oct 2017 nga yali aleeteddwa wuwe okumulabirira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Olukiiko lwa NRM e Bukasa L...

WABADDEWO okusika omuguwa ku Ofiisi za NRM e Bukasa-Masozi mu Ggombolola y'e Bweyogerere mu Munisipaali y'e Kira...

Aba Takisi mu ppaaka y'oku ...

WABALUSEWO obutakanya mu ba takisi mu  ppaaka y'oku kaleerwe ekiwayi ekimu bwe kirumirizza nanyini ttaka kwe bakolera...

Nalweyiso ng'atottola obulamu bw'ekkomera

Gwe baakwatira mu Curfew ne...

OMUYIMBI  eyakwatibwa olw'okugyemeera ebiragiro bya pulezidenti oluvudde mu kkomera e Kigo nayiiya oluyimba lw'atumye...

Abaabadde batendekebwa okuyamba abakoseddwa mu mataba.

Ab'e Kasese abaakosebwa ama...

ABANTU b'e Kasese abaakosebwa amataba olw'omugga Nyamwamba okwabika bakyalaajanira gavumenti okubayamba waakiri...

 Abdallah Mubiru ng'ayogerako n'abazannyi be

Mubiru atendeka Police FC a...

OMUTENDESI wa Police FC, Abdallah Mubiru, aweze nga sizoni ejja bw’alina okulaba nga ttiimu ye evuganya ku bikopo....