
Richard Musaazi akola ogw’okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ng'asinziira Bungereza agamba nti waliwo ebirina okukolebwa Poliisi okuzzaawo enkolagana ennungi n’abantu baabulijjo baddemu okugyesiga n’okugikkiririzaamu.
Agamba nti poliisi erina okussa essira ku pulogulaamu eziyamba okukuuma obulamu bw’abantu ng’erwanyisa obumenyi bw’amateeka okusinga okukola kampeyini z’okulungiya ekifanaanyi kya poliisi mu bantu.
- Poliisi erina okufuna abaserikale abatendeke obulungi okukozesa obukodyo obutali bumu okulwanyisa obumenyi bw’amateeka nga tebakozesa maanyi mangi kutuusa bulabe ku bantu be baweereza.
- Bw’otunuulira embeera abaserikale ba Uganda gye balimu okugeza amayumba ge basulamu, beetaaga okuyambibwa.
- Poliisi erina okukimanya nti omulimu gwabwe omukulu kukuuma Bannayuganda n’ebintu byabwe. Noolwekyo balina okufaayo nga bakola emirimu gyabwe, okumanya obuyinza bwabwe we bukoma n’obwesigwa mu nkola y’emirimu gyabwe.
- Balina okwekenneenya obuzzi bw’emisango obunene ng’ettemu erikudde ejjembe mu ggwanga, okuwamba abantu, okubba mmotoka n’ebintu n’obw’ekika ekirala. Mu mbeera eno erina okufuna abakugu okwekenneenya ekiyinza okukolebwa okubimalawo.
- Poliisi erina okwongera ku mutindo gw’enkola y’emirimu gyayo n’okulaga obwangu mu by’okunoonyereza naddala nga waliwo ekiguddewo. Okugeza omuntu bw’aba attiddwa kibatwalira bbanga ki okufulumya lipooti. Kiba kirungi n’okuyisa abantu obulungi awatali kubasosola.
- Erina okulongoosa enkolagana yayo n’omuntu wa bulijjo kubanga guno gwe mutima gw’okulwanyisa obumenyi bw’amateeka. Omulimu gw’okukuuma amateeka n’ebiragiro gulina kwesigamizibwa ku bantu ba bulijjo abagiroopera abamenyi b’amateeka n’okubawa obujjulizi.
- Omuntu bw’aba alya bulungi, asula bulungi, alina emirembe akola bulungi emirimu egimuweebwa ate talya nguzi. Abakulu mu poliisi bwe banaalemwa okulwanyisa obuli bw’enguzi n’obumenyi bw’amateeka tebajja kusobola kubulwanyisa.