
‘‘TAATA weebale kunsomesa n’okuntendeka mu kubuulira enjiri. Nange kankuwe akamotoka kano otambulirengamu owone okukuuta enfudu n’okubuukira bodaboda’’. Omusumba Joseph Ssekatte ne mukyala we aba Jerico Breakers International Ministries e Kyebando mu Nsooba bwe baagambye nga bakwasa omusumba Kazungu ne mukyala we mmotoka y’ekika kya Harrier okubatendeka okubuulira ekigambo kya Katonda.
Owoolugambo waffe atugambye nti Omusumba Kazungu ye yatandikawo kkanisa eno ku mulembe gwa Iddi Amin kyokka oluvannyuma baagikwasa Bassekate okugitwala mu maaso.
Ssekate yagambye nti abaana bangi bafuna ssente ne batayamba bazadde baabwe ne babalinda okufa ne bagula ssanduuke ez’ebbeeyi n’okubaziika mu kitiibwa n’agamba nti Bakazungu baabayamba okubafuula kye bali tebayinza kubaleka ngatto zaabwe kuggwerera nga balaba.
Waliwo abaagambye nti newankubadde mmotoka eno baagitaddeko akapande ka Pr. Kazungu, etambuddeko ng’eri ku nnamba UAP ****.