TOP

Owa Bodaboda awawaabidde kitaawe lwa kumwegaana

Added 8th June 2018

SEEKA Musa Luyombya Mayanja omukungu ku kitebe ky’Abasiramu ekya “Moslems Supreme Council” bamuwawaabidde mu kkooti lwa kwegaana mwana gwe yazaala mu yaaya emyaka 35 emabega.

 Najib Muhammed Masembe ng'annyonnyola

Najib Muhammed Masembe ng'annyonnyola

Bya ALICE NAMUTEBI

Najib Muhammed Masembe omuvuzi wa bodaboda y'aloopye kitaawe Hajji Mayanja mu kkooti e Mengo n'asaba bamuggyeeko omusaayi bagutwale mu ndagabutonde okuggyawo okubuasabuusa kwonna nti si ye kitaawe.

Masembe agamba nti Hajji Mayanja yaganza nnyina omugenzi Aisha Nakamya bwe yali akola obwayaaya mu maka ga muganda we, Muhammad Twaib Masembe.

Yagambye nti nnyina olwali okufuna olubuto Mayanja n'amugamba aluggyemu era mu kiseera ekyo we yagendera e Kuwait okwongera okusoma ng’alowooza Nakamya olubuto yaluggyamu kyokka nga lukyalimu.

Maama baamugoba ku bwayaaya ng'olubuto lukuze n'agenda mu kyalo e Gombe gye yanzaalira nga December 10, 1983.

Taata omuto maama we yali akola n'antuuma erinnya lya Najib Muhammed Masembe kubanga taata anzaala Mayanja yali mu Kuwait ng'okumuwuliza kizibu.

Bwe yakomawo mu Uganda baamutegeeza nti omuwala gwe yaleka attise olubuto yazaala n'agamba nti tasobola kuzaala mu yaaya era n'anneegaana.

Twabeera mu kyalo ne Maama ne ntandiika n’okusoma era maama yangamba nti taata yampeererako mu P.2.

Mu 1995 nga mpezezza emyaka 12 taata yagenda mu FIDA n'awawaabira maama.

Twali mu kyalo  takisi n'ereeta ebbaluwa nga batuyita mu FIDA. Mu bbaluwa mwalimu ne tulansipooti anaatutuusa mu kibuga era olunaku lwe baatulagira bwe lwatuuka ne tugenda mu FIDA ne banzigyako omusaayi ne taata naye tetwategeera byavaamu kubanga taata ye yali atambula n’omusawo eyatukebera.

Yatuwerekera okutuuka ppaaka n'atuwa ne tulansipooti atuzzaayo mu kyalo nga atugambye nti tugenda kugenda mu ddwaaliro eddala batukebera naye tetwaddamu kumuwuliza okutuusa lwe nnamaliriza P.7 Maama n'ankomyawo mu kibuga ewa taata omuto Masembe nga talina ssente zinnyongerayo.

Taata olwakitegeera nti ndi wa Hajji Masembe yamuyombesa nnyo era ne bakyawagana ng'agamba nti tasobola kuzaala mu yaaya.

Wabula Hajji Masembe teyangoba, nnasigala ng’amperera okutuusa mu S.3 ssente bwe zaamuggwaako.

Ekisinga okunnuma abantu bwe batuukirira taata abagamba nti amanyi era y'anzaala ensonga ajja kuzitereeza mu maaso naye bw'atuuka mu bakulu banne mu by’eddiini abagamba nti si y'anzaala kubanga ndi mwana wa kibi.

Eky’omukisa omulungi mu kika bammanyi era bannyaniriza ng’omwana waabwe kubanga n'afaanana taata ne mmumalayo naye ye olw’okuba yasoma nga nze saasoma ate nga  ne maama yali yaaya alaba nga sisaanira kubeera mu famire ye.

Yatuuka n’okumpaabiira ku poliisi nti mmutiisatiisa okumutta era mwesibako nkaayanire eby’obusika bye ng’afudde ekintu ekitali kituufu.

Kuno yagattako n’okumpeereza ekiwandiiko ekinvuma ng’akiyisa mu “post office” era buli muntu wa famire agezaako okunsembeza amukyawa.

Ye omulamuzi ku kkooti e Mengo ayise Seeka Mayanja okubeerawo mu kkooti nga June 19, 2018 lw'agenda okuwulira okusaba kwa Masembe okwokumuggyako omusaayi bamukebere oba nga ye kitaawe omutuufu amuzaala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dodoviko (aliko ssaako) ne banne ku mukolo ogumu.

Ebipya ebizuuse ku Dodoviki...

DODOVIKO Mwanje gwe balumiriza okumenya ekkanisa bongedde okumufunza! Lt. Col. Edith Nakalema olwamaze okukwata...

Lukwago nga bamukwasa empapula za FDC

FDC ewadde Lukwago bbendera...

ESSUUBI lya Ssalongo Erias Lukwago okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bw’eggwanga ku tikiti ya FDC mu 2021 likomye...

Omukuumi ng'atwala Trump

Engeri abakuumi ba Trump gy...

PULEZIDENTI wa Amerika, Donald Trump yabadde wakati mu lukung’aana lwa bannamawulire ng’attaanya ensonga ey’obutale...

Ekizimbe kya Mabiirizi ku Bombo Road. Mu katono ye Winnie Mabirizi

Nnamwandu wa Mabirizi asony...

ABAKULEMBEZE b'abasuubuzi basabye bannannyini bizimbe okutwala ekyokulabirako kya nnannyini kizimbe kya Nalubega...

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...