TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Engeri omusolo gwa 'Mobile money' gye gugenda okukosa abantu

Engeri omusolo gwa 'Mobile money' gye gugenda okukosa abantu

Added 8th June 2018

GAVUMENTI egenda kukung'aanya obuwumbi 150 okuva mu musolo gw’ekitundu ekimu ku 100 ogwateereddwa ku ssente eziweerezebwa n’okuggyibwa ku ‘Mobile money’.

Guno gwe gumu ku misolo ogwamaze okuyisibwa Palamenti era ogulindiridde okusomebwa nga June 14, bajeti y’eggwanga bw’eneeba esomwa.

Kino kitegeeza nti bw’obeera oweereza emitwalo 10, bajja kuba bakuggyako 1,000/-. Mu kuggyayo ssente ze zimu era balina okukuggyako 1,000/-.

Zino zeegasse ku nkadde ezibaddewo. Okugeza omuntu okusindika 10,000/- ku ssimu babadde bamuggyako 1,000/- ate mu kuziggyayo ne bakutemako 880/-.

Emitwalo 10, okuzisindika ku ssimu bakutemako 1,500/- ate okuggyayo ne bakutemako 1,920/-.

Emitwalo 40 okuzisindika ku ssimu bakutemako 1,500/- ate okuziggyayo bakutemako 7,000/-. Abakugu mu byenfuna balaze okutya olw’omusolo guno ne bategeeza nti gwandikosa ebyenfuna by’eggwanga kuba bamufunampola bangi bakozesa ‘mobile money’ mu kutereka n’okusindika ssente.

James Katabalwa, omusomesa w’ebyenfuna e Makerere yategeezezza nti omusolo guno gugenda kuzza emabega ebyenfuna by’eggwanga kuba gukosa okutereka.

Yawadde eky’okulabirako nti abazadde abamu ababadde baweereza fiizi ku masomero nga bakozesa essimu olw’okwewala okusimba ennyiriri za bbanka bagenda kwesanga nga bazibuwaliddwa.

Okutandika ne July 1, 2018, okusindika 400,000/- bajja kuba bakuggyako 4,000/- ate nga ne bw’oba oziggyayo era olina okusasulayo 4,000/-. Zino zigenda kwegatta ku ssente enkadde ezibadde ziwoozebwa ezaalagiddwa.

Omusolo guno omuggya yagugeraageranyizza ku kulya eggi ne weesubya omuwula, kuba abantu boolekedde okukendeeza ku bungi bwa ssente ze baweereza okukola emirimu egyenjawulo Gavumenti gy’ewoozaako emisolo emirala.

Katabalwa yawabudde nti mu kiseera kino nga bbanka zeesibye mu bibuga mwokka n’obwavu obuluma abantu kibeera kikyamu okubazibira omuwaatwa gw’okutereka ogubadde gubanguyirwa.

Gavumenti esaanidde okulowooza ku bintu by’eggyamu ssente nga tebinyigiriza banaku.

OWEKITONGONGOLE KY’OBWANNAKYEWA AWABUDDE

Julius Mukunda, akulira ekitongole kya Civil Society Budget Advocacy (CSBAG) yagambye nti mu bantu bamufunampola omuntu omu ku bataano mu lunaku yeeyambisa mobile money’.

Bwe kituuka ku bavubuka ate kisukka kuba okuva mu 2014 okutuuka mu 2017, beeyongedde okuva ku bitundu 27 okutuuka ku 51 ku buli 100.

Mu kiseera kino Gavumenti esangiddwa ng’ewooza omusolo gwa 10 ku buli 100 ku ssente ezikuhhaanyizibwa kkampuni z’amasimu.

Wadde nga ssente zino zisasulwa kkampuni, kyokka era bakasitoma abanaku be bazisasulira mu butali bugenderevu.

Okugeza bwino alaga nti abantu abawera 61 ku buli 100 abakozesa ‘mobile money’ ya MTN basindika ssente ezitasukka 45,000/-.

Okubateekako omusolo omulala ku 45,000/- ogwa 450/- nga basindika ne ndala 450/- nga baggyayo kiyinza okubakosa ennyo.

AKULIRA ABAWI B’OMUSOLO SI MUMATIVU

Joseph Kasibante, akulira ekibiina ky’abawi b’emisolo ekya The National Tax Payers and Tax Protection Organization yeekengedde nti omusolo ku ‘mobile money’ gwolekedde okulemesa abantu okutereka ne basalawo okutambula ne ssente enkalu ekintu eky’obulabe.

Abantu bangi bakozesa ‘mobile money’ okuweereza ebisale by’abaana ku masomero ate ng’abalala bakuumirako n’obukadde bwa ssente.

Okuteekako omusolo kigenda kuwaliriza abantu okubeera ne ssente ennyingi mu nsawo ekiyinza okwongera obumenyi bw’amateeka.

Okwongera emisaala gy’abakozi ba Gavumenti okwakoleddwa mu bajeti kugenda kubulwa amakulu.

Yagambye nti omukozi eyayongezeddwa ng’afuna 1,400,000/-, oluvannyuma lw’okutoolako ssente za NSSF n’omusolo gwa Income Tax, omukozi ajja kusigazaawo kumpi 1,000,000/-.

Singa omukozi abeera asazeewo okufuna omusala ng’akozesa ‘mobile money’ babeera balina okumuggyako 10,000/- ogwenkana ekitundu ekimu ez’omuwendo gwa ssente. Abeera asigazza 990,000/-.

Singa akozesa ssente ze zimu okusindikira omuntu omulala 500,000/- babeera balina okukusalako 5,000.

Bw’ogezaako okusasula ebisale ng’ebyamasannyalaze era bongera ne bakutemako ekitundu kimu eky’omuwendo gwa ssente z’oweerezza. Mu kiseera kino bw’obeera oteeka ssente ku ssimu yo babadde tebakuggyako.

MINISITA ABIWAKANYIZZA

Minisita w’ebyensimbi, Matia Kasaija bwe yabadde atongoza wiiki ya bajeti ku Mmande ku kitebe kya minisitule gy’atwala yeewuunyizza okuba nga Palamenti yayisizza omusolo gw’ekitundu ekimu ku 100 ez’omuwendo gwa ssente eziba ziweerezebwa n’ategeeza nti kyakukosa bamufunampola.

Yategeezezza nti olukiiko lwa kabineeti lwasalawo okuwooza ssente zino zituuke ku 0.5 ku buli 100 era nga zirina kuggyibwa ku asindika yekka. Aggyayo ssente nga talina kuggyibwako ssente zino.

Yasuubizza okukola ekisoboka okulaba nga Palamenti kino ekikyusa nga Bajeti tennaba kusomebwa nga June 14, 2018.

Bwe baali bayisa omusolo guno mu Palamenti ababaka abamu baakiwakanya nga bagamba nti gugenda kutta bizinensi ya ‘mobile money’ kyokka abalala nga bawagira nti eggwanika ligenda kweyongeramu ensimbi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Avuganya Ssekandi ku ky'omu...

RICHARD SEBAMALA avuganya omumyuka wa Pulezidenti, Edward Kiwanuka Sekandi ku babaka bwa Palamenti obwa Bukoto...

Lubega

Ebikonde sibyevuma - Lubega

OMUGGUNZI w'ehhuumi, Joey Vegas Lubega annyuse ebikonde oluvannyuma lw'emyaka 23 bukya alinnya kigere kye ekisooka...

Donald Trump

Trump alemeddeko ku by'akal...

EBY’AKALULU ka ssaayansi byongedde Donald Trump n’ategeeza nga bw’ali omusajja omukulu atayinza kukkiriza kuleka...

Paapa eyawummula Joseph Aloisius Ratzinger

Paapa Joseph Aloisius Ratzi...

PAAPA Benedict XVI eyawummula ng’amannya ge ag’obuzaale ye Joseph Aloisius Ratzinger muyi. Ratzinger 93 obulwadde...

Abaabadde balambula ppaaka ekolebwa.

Abakola ppaaka enkadde bale...

Bakansala ba KCCA abatuula ku kakiiko akateekerateekera ekibuga n’okuzimba nga bali wamu n’abakugu baalambudde...