TOP

Akalulu kaawudde Besigye ne Bobi

Added 8th June 2018

BOBI Wine ne Dr. Kizza Besigye akalulu k’e Bugiri kabaawudde ne basalawo ‘zaabike emipiira’! Babadde baakamala okwegatta ne bafuna obuwanguzi mu kalulu k’e Rukungiri, wabula ku luno buli omu atunuulizza munne omudumu.

 Basalirwa ng’ayogera oluvannyuma lw’okwewandiisa. Amuddiridde mu bimyufu ye mubaka Kyagulanyi (Bobi Wine).

Basalirwa ng’ayogera oluvannyuma lw’okwewandiisa. Amuddiridde mu bimyufu ye mubaka Kyagulanyi (Bobi Wine).

Besigye yasazeewo okuwagira Eunice Namatende eyajjidde ku kaadi ya FDC ate Bobi Wine (Robert Kyagulanyi) n’adda ku ludda lwa Asuman Basalirwa owa JEEMA.

Bannabyabufuzi abalala ku ludda oluvuganya gavumenti omuli n’aba FDC nabo beetemyemu, abamu ne basalawo okuwagira Basalirwa ate abalala ne bagenda ne Namatende.

Namatende ye yasoose okwewandiisa okuvuganya ku kifo ky’omubaka wa Bugiri Municipality ate oluvannyuma ne Basalirwa ne yeewandiisa ku Lwokusatu era bombi ne bakuba enkuhhaana ku lunaku lwe lumu ne beeraga eryanyi.

Basalirwa yakulembeddwa Bobi Wine ne bayisa ebivvulu oluvannyuma ne bakuba olukuh− haana mu kisaawe ky’essomero lya Hindokya P/S ate Namatende n’akuba olulwe mu Bus Park e Bugiri.

Dr. Abed Bwanika abadde agugumbula Besigye ennaku zino, naye yabadde mu kampeyini ya Basalirwa wamu n’abamu ku babaka ba palamenti ab’oludda oluvuganya gavumenti.

Baayambadde ebimyufu akabonero akaakozesebwa mu kuwakanya okuggyawo ekkomo ku myaka.

Mu ppaaka ya bbaasi, Besigye naye yabadde ataddemu ggiya ng’amatiza abalonzi bawe Namatende akalulu.

Besigye ng’ayogeramu ne Betty Nambooze (ku ddyo) ne Loodi meeya Erias Lukwago (owookubiri ku kkono). Ku kkono ye Allan Ssewannyana ate ayimiridde ye Mubarak Munyagwa abawagira Namatende e Bugiri.

BOBI WINE AWADDE ENSONGA

Oluvannyuma Bobi Wine yatadde ekiwandiiko ku yintaneti ng’annyonnyola lwaki yasazeewo ku luno okwawukana ne Besigye awagire Basalirwa.

Yagambye nti Basalirwa abadde mu ntalo zonna ez’oludda oluvuganya gavumenti ng’alwanira wamu ne banne era tamulinaamu kubuusabuusa kwonna nti bw’awangula ekifo kino waakubagattako ettoffaali ddene mu Palamenti.

Yalambuludde nti: Okuviira ddala e Makerere ng’akulembera abayizi, munnamateeka Basalirwa azze aggalirwa mu makomera ag’enjawulo naye nga tava ku mulamwa.

Tumulabye nga yeewuuba ku poliisi ne mu kkooti okutaasa abantu baffe ababeera bakwatiddwa olw’ebyobufuzi, naye n’asigala nga tayuuga.

Yagasseeko nti yeewuunyizza okulaba ng’abooludda oluvuganya balemeddwa okukkaanya ku muntu omu, abamu ne badda mu kulowooza ku bibiina byabwe ate nga mu balonzi obubaka buli we bagenda boogera bwe bumu, “Baagala ttiimu emu evuganya gavumenti, bagisseemu obwesige.”

Yayongeddeko nti ekiseera kye balimu si kya kutunuulira busongasonga ku muntu wabula kutunuulira mulamwa omunene gwe baliko ogw’okukyusa gavumenti nga bayita mu kuwangula ebifo ebiwerako; ate nga biwangulwa abantu abalina embavu mu kulwanyisa gavumenti.

Yeewuunyizza lwaki abakulembeze ku ludda oluvuganya tebalaba nti obuwanguzi bwe bafunye mu Jinja East (ekyawangulwa Paul Mwiru owa FDC) ne mu kalulu akaawedde wiiki ewedde e Rukungiri (akaawanguddwa Betty Muzanira owa FDC) buzze lwa kwegatta.

BESIGYE NAYE AYOGEDDE

Ku makya g’Olwokuna, Besigye ng’ali wamu ne Loodi Meeya Erias Lukwago, ababaka okuli Betty Nambooze, Allan Ssewannyana, Mubarak Munyagwa ne Moses Kasimbante wamu ne Hussein Kyanjo baatuuzizza olukuhhaana ku Fairway Hotel mu Kampala ku by’akalulu k’e Bugiri.

Besigye yagambye nti baagezezzaako okuteesa okulaba nga bafuna omuntu omu wabula ne bireme era kati kye basaba abali ku ludda oluvuganya kwe kuwagira abantu baabwe, wabula nga tewali alumba munne; basigale nga balumba ekibiina kimu NRM.

Owa NRM John Francis Oketcho (wakati) naye yeesimbyewo.

Yagambye nti; “Omuntu yenna agamba nti tuli mu kisinde kimu eky’okulwanyisa gavumenti eno ate n’adda ku munne gwe bali ku mulamwa ogumu n’amulumba; nze oyo naye mutunuulira ng’omulabe”.

LWAKI BAALEMEDDWA OKUSALAWO

Ensonda zaategeezezza nti okusalawo ku bantu ababiri kwakaluba oluvannyuma lwa Basalirwa ne Namatende buli omu okuleeta obujulizi obulaga nti muganzi mu kitundu.

Bugiri okugifuula Munisipaali yakutulwa ku Bukholi North nga muno Basalirwa abadde yaakeesimbawo enfunda ssatu nga bamuwangula wabula ng’ate enfunda zonsatule y’abadde asinza obululu mu Bugiri Town Council eyafuuliddwa Munisipaali.

Namatende naye yaleeta ebyava mu kalulu akawedde bwe yeesimbawo ku kifo ky’omubaka omukazi owa disitulikiti y’e Bugiri nga biraga nti wadde yawangulwa Agnes Taaka, wabula ate ye yasinza obululu mu Town Council y’emu.

Kigambibwa nti wano aba FDC abamu we baasaliddewo nti mu kitundu we balina omuntu alina embavu, tebayinza kuziyiza muntu oyo kwesimbawo.

Kigambibwa nti abamu baanyigira Basalirwa bwe yasalawo okuva ku Besigye mu kalulu ka 2016 n’agenda mu nkambi ya Amama Mbabazi era n’awoza n’omusango gwa Mbabazi ogw’ebyokulonda.

NRM NAYO YEETEMYEMU

Wadde abooludda oluvuganya baalemeddwa okukkaanya, naye n’aba NRM nabo bakyalemeddwa okukkaanya.

Abantu babiri beewandiisizza okuli John Francis Oketcho alina kkaadi ya NRM ne Haji Siraje Lyavala eyawangulwa mu kamyufu k’ekibiina.

Ab’enkambi ya Lyavala bagamba nti aba Basalirwa baapanga ne bayingira mu kamyufu ne bawa Oketcho obululu, olwo Basalirwa asobole okuvuganya n’owa NRM omunafu.

Lyavala agamba nti tayinza kukkiriza kibiina kufiirwa muntu wa maanyi, kwe kusalawo naye avuganye ku lulwe. Lyavala yali ssentebe wa disitulikiti y’e Bugiri okumala emyaka 17.

Ssaabawandiisi wa NRM Justine Kasule Lumumba naye yatuuzizza olukuhhaana lwa bannamawulire ku makya g’Olwokuna n’agamba nti bagenda kwogera n’abenkambi yaabwe beetereeze basobole okuwangula akalulu ako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakooza Mutale ng'aliko byannyonnyola.

Enkwe za baminisita ze ziwa...

MAJ. Kakooza Mutale awabudde Pulezidenti Museveni ku nsonga ezaamuwanguzza mu Buganda n'awakanya abakissa ku busosoze...

Balumirizza Cameroon eddogo

KATEMBA yalabikidde mu mpaka za CHAN eziyindira mu ggwanga lya Cameroon, omutendesi wa Zimbabwe, Zdravko Logarusic...

Pasita Musisi n’abazannyi ba Busiro abaasoose mu kkanisa ye e Kaggala, Wakiso ku Ssande.

'Ababaka mulwanirire emizan...

PASITA Paul Musisi, akulira ekkanisa ya Caring Heart Ministries e Kaggala mu Wakiso adduukiridde ttiimu y’essaza...

Abavubuka ba Yellow Power.

Aba Yellow Power baagala Ka...

ABAVUBUKA b'ekisinde kya Yellow Power mu NRM, nga bano bakola gwa kukunga bantu, baagala Ssaabawandiisi  w'ekibiina...

Omuteebi wa Busiro, Usama Arafat ng’asindirira ennyanda ku ggoolo ya Kyaggwe gye yawangula 2-1 mu gy’ebibinja. Eggulo, Busiro yakubye Mawogola 1-0 eggulo okwesogga semi.

Busiro ne Bulemeezi ziri ku...

BULEMEEZI ne Busiro zifungizza okuwangula ekikopo ky'omupiira eky'Amasaza ga Buganda. Bulemeezi yatimpudde Busujju...