TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ensonga za Tanga Odoi ne Kasule Lumumba zirinnye enkandaggo

Ensonga za Tanga Odoi ne Kasule Lumumba zirinnye enkandaggo

Added 9th June 2018

Ensonga za Tanga Odoi ne Kasule Lumumba zirinnye enkandaggo

 Tanga Odoi ne Kasule Lumumba bwe bali kumbiranye

Tanga Odoi ne Kasule Lumumba bwe bali kumbiranye

Ssaabawandiisi wa NRM, Justine Kasule Lumumba okunenya mukama we mu lujjudde kyavudde ku butali bumativu bw’alina. Omumyuka we Richard Todwong ye yasooka okuta akaka mu April wa 2018, bwe yategeeza nti, obukulembeze bwa NRM abantu okubweyagaliramu balina okusooka okukola ku bizibu bino omuli; enguzi, okwegwanyiza n’obusosoze.

Yasinziira mu lukiiko olugatta enzikiriza ez’enjawulo olwali e Ntebe. “Bwe tuteekomeko ku ngeri gye tujugubaniramu ebyobugagga by’eggwanga nga binyagibwa awatali akuba ku mukono, abantu bajja kutuuka okutuwaliriza okuva mu buyinza. Ensozi za Kampala zigaziwa n’ebizimbe buli olukya, kyokka amasomero n’amalwaliro byongera kubeera bibi,” Todwong bwe yagambye.

ENSONGA EZITABUDDE LUMUMBA Lumumba aludde ng’asaba Pulezidenti Museveni agonjoole ekizibu kya Tanga Odoi, akulira akakiiko k’ebyokulonda mu kibiina kya NRM, gw’agamba nti agootaanyizza enzirukanya y’emirimu gy’ekibiina. “Odoi amaze emyaka esatu ng’ankolokota kyokka nga nsirise, nga nzitwala ng’ensonga z’omu nju.

We ntuukidde okuvaayo nga kisusse y’ensonga lwaki njagala Pulezidenti nga ssentebe w’ekibiina aveeyo mu bwangu akwate ku musajja we Tanga Odoi”, Kasule bwe yategeezezza mu lukuhhaana lw’abaamawulire lwe yatuuzizza ku kitebe kya NRM ku Kyaddondo Road ku Lwokuna.

Lumumba okuvaayo kabonero akalaga nti olutalo lw’abakulembeze bano bombi lukyalanda kuba bazze bawulirwa nga bagugulana. Yalaze nga bwe yawandiikidde Pulezidenti ebbaluwa ku nsonga eno.

Tanga Odoi azze anenya Lumumba nga bw’atalina bukugu mu kukulembera nga kye kyavako n’abakozi ku kitebe kya NRM, okulemwa okusasulwa omusaala gwa myezi mwenda, nga waliwo n’abakozi ab’empewo abaawandiikibwa. Olulala yalumiriza Lumumba nga bw’ali omuzinyi omulungi asobola okukunga abantu, kyokka nga bwe kituuka ku by’obukulembeze talina ky’asobola kukola.

Yatuuka n’okutegeeza nti; “Lumumba teyafuna mukisa kugenda mu matendekero ga waggulu nga Makerere okusobola okumanya eby’obukulembeze bwe bikwatibwamu. Yakulirako ebyenjigiriza mu disitulikiti n’oluvannyuma n’afuuka omubaka wa Palamenti.

Mulungi mu kukunga abantu n’azina amazina g’Ekisoga n’abacamula, naye mu bukulembeze tasobola.”. Okuwaanyisiganya ebigambo mu lujjudde kuno kwatuusa ne bassentebe ba NRM okusaba Pulezidenti awummuze Tanga Odoi olw’obutawa bakama bekitiibwa. Kyokka ensonda ku kitebe kya NRM zaategeezezza nti Dr. Tanga, musajja munyoomi ng’abantu abatalina buyigirize bumwenkana oba okumusinga tayagala babeere bakama be.

Ekimu ku bibatabula kwe kuba nti Lumumba ne bw’ayita enkiiko, Tanga tazeetabaamu okuggyako ng’akakasizza nti (Lumumba) tajja kulubaamu. Baategeezezza nti buli okulonda okubaayo NRM n’ewangulwa Tanga Odoi avaayo mangu n’alumiriza Lumumba nti ye yavuddeko obuzibu.

Kyokka Lumumba agamba nti Tanga Odoi ng’akulira ebyokulonda awa enkizo abantu abatalina maanyi mu bitundu ne bawangula akamyufu era n’abalangirira. Wabula bwe batuuka mu kalulu ka bonna ne bagwa, ate ne biddira Lumumba nti teyakoze kimala kufunira NRM buwanguzi.

Ensonga z’ensimbi n’okulekebwa ebbali mu nteekateeka ezirowoozebwa nti ekitebe ky’ekibiina ky’ekyandizikulembeddemu nakyo baludde nga bakyemulugunyako. Ensonda zaategeezezza nti mu kulonda kw’e Rukungiri okwakaggwa, Tanga Odoi yatabuse ne Gen. Jim Muhwezi ng’entabwe eva ku Tanga okusooka okubategeeza nti owa NRM yabadde awangudde.

Yagasseeko nti ekyawanguzza NRM, lwa nsonga nti Lumumba yabadde tazze mu kalulu, ekyaggye Muhwezi mu mbeera ne batabuka. Kigambibwa nti Lumumba ne Todwong baakizuula nti mu kusuulawo ebifo by’obubaka ne bagenda ku kitebe kya NRM baabala bubi era bombi balina ekirowoozo ekiddayo okwesimbawo mu bitundu byabwe mu kulonda okujja, bave mu nkaayana ezitaggwa.

ALAZE EBIRINA OKUTEREEZEBWA Kasule yasabye Museveni ayingire n’amaanyi ku kigambo ky’okubuzaawo abakyala n’abaana n’agamba nti kino kiraga obunafu mu byokwerinda bye babadde batambulizaako okusaba obululu mu bantu. “Ekigambo ky’ebyokwerinda kye kimu ku bye tubadde tutambulizaako okuperereza abantu okuwagira NRM .

Bwe kitulemerera tubeera tuli mu bbanga, twagala Pulezidenti nga bwe yavaayo ku kibbabaana ne ku kino atuyambe”, Kasule bwe yagambye. Yalambise ebintu bingi mu kiseera kino ebisoomooza ekibiina kya NRM okuli; ebbula ly’emirimu mu bavubuka, enkaayana mu kibiina ng’abantu beerowoozaako bokka, abantu okulowooleza mu nsimbi nga baliko abantu be balonda mu bifo ebyenjawulo ekireetedde okufuna abatali batuufu.

Okukuubagana wakati w’abakozi ba Gavumenti n’abakulembeze b’ekibiina n’ebirala. Kyokka yagumizza Bannayuganda nti ekibiina kya NRM kikyali ky’amaanyi y’ensonga lwaki kisobodde okuwangula mu bifo ebyenjawulo mu kulonda kw’okuddamu nga ku bifo 36 bawanguddeko 27.

Kasule Lumumba yavuddeyo n’ayanukula Pulezidenti ku ky’okugenda ng’assaawo obukiiko obwenjawulo okumuyambako ku kukola emirimu n’amuwa amagezi okwongera amaanyi mu bitongole ebiriwo mu mateeka nga bassemugayaavu bw’abasangamu abagobe asseewo abasobola okukola emirimu gyabwe nga bwe girambikibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwana eyasalibwako omutwe ...

Omwana eyasalibwako omutwe e Masaka ne bagutwala ku Palamenti aziikiddwa

Ssebbumba eyakubiddwa lwa bubbi

Abadde mu jjaamu e Kawempe ...

Abadde mu jjaamu e Kawempe bamukubye mizibu

Namasole wa Ssekabaka Mwang...

OLWALEERO Mariam Nampewo omusika wa Majeeri Lunkuse Namasole wa Mwanga II lwe bamuyingizza mu Lubiri lwe e Mpererwe...

Poliisi erung'amizza ku bib...

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza nti poliisi ssi yaakukoma kuvunaana bantu abazzizza obusango...

Bazzukulu b’omugenzi Bangirana ne bakadde baabwe nga bassa ekimuli ku ssaanduuke y’omugenzi. Mu katono ye mugenzi Bangirana.

Eyawangudde mu kamyufu e Bu...

CANON Alfred Bangirana 71, eyawangudde okukwata bendera ya NRM ku bwassentebe bwa disitulikiti y’e Bushenyi yasangiddwa...