TOP

Basonze ku bintu 4 ku basse Abiriga

Added 11th June 2018

Abatemu balabika baludde nga baliimisa Abiriga. Baabadde bamanyi essaawa z’atuukirako awaka(mu kisiibo) abadde atuuka ku ssaawa nga 1:00 akawungeezi asiibulukuke n’abawaka.

 Abamu ku babaka ba palamenti okuli; Betty Anywar, Betty Omongi, Robert Kyagulanyi ne Paul Mwiru nga bakaaba eggulo mu palamenti.

Abamu ku babaka ba palamenti okuli; Betty Anywar, Betty Omongi, Robert Kyagulanyi ne Paul Mwiru nga bakaaba eggulo mu palamenti.

Abatemu balabika baludde nga baliimisa Abiriga. Baabadde bamanyi essaawa z’atuukirako awaka(mu kisiibo) abadde atuuka ku ssaawa nga 1:00 akawungeezi asiibulukuke n’abawaka.

Abiriga okuva mu 2017, abadde mu kutya olw’obulamu bwe era olumu baamuyingirira ne bamunyaga. Abadde assa ebifaananyi ku mukutu gwa kompyuta okuli eky’entaana n’assaako ebigambi nti “entaana eyo gye munjagaliza.

” Birimu ADF?:  Abebyokwerinda olunwe balusonze ku bayeekera ba Allied Democratic Forces (ADF).

Bano bazze basongebwamu okutta Bamaseeka okuli Abdul Kharim Ssentamu wabula bbo tebavangayo kwewaana nti be batta abantu abamaanyi mu Uganda.

Pulezidenti yabadde amaze okutegeeza eggwanga ku Lwokusatu nti abanene okuli Kaweesi battibwa ADF.

Era amaanyi gabadde gabawedde oluvannyuma lw’ebitongole by’Ebyokwerinda okubassaako akazito.

Kiyinzika okuba ng’abatemu bano baayagadde kujungulula bya Pulezidenti balage nti bakyalina amaanyi era basobola okutta ne bagenda?

LWAKI BASSE ABIRIGA?

Wadde bangi batwala Abiriga nga kazannyirizi atalina bulabe, kyokka musajja w’amaanyi mujaasi eyawummulira ku ddaala lya Colonel, yali muyeekera, mubaka wa palamenti, kikonge kya NRM era musajja wa Museveni gw’abadde atuma mu bifo ebizibu nga RDC ate y’omu ku bakungu abatono abalina abakuumi nga b’amagye.

Okutta Abiriga bubaka bw’amaanyi naddala nga Pulezidenti yakakasa eggwanga nti abatemu tebatiisa, babatudde ku nfeete.

MULIMU EBYA TOGIKWATAKO?

Abiriga abadde akidding’ana nti bangi abamutiisatiisa bamulanga kuwagira kuggyawo kkomo ku myaka gya Pulezidenti. Abiriga azze afuna ebizibu okuva lwe yawagira ekiteeso ky’okuggya ekkomo ku myaka.

Robert Kasule Ssebunya, omubaka wa Nansana Municipali, Abiriga mwabadde asula yagambye nti, abatta abantu mu ggwanga bakuba bannamagye ekiraga nti nabo batendeke era bakugu mu mmundu.

Kyokka ssinga baamusse lwa kuwagira kugikwatako, lwaki tebaamutta mwaka guwedde ng’ekiteeso tekinnayisibwa okukanga ababaka abalala abaali bakiwagira?

BE YALI NABO MU BUYEEKERA

Kisoboka okuba ng’okuva lwe yava mu buyeekera mu kibiina kya Uganda National Rescue Front (UNRF) banne be yali nabo baamunyiigira nga bamutunuulidde ng’abaliddemu olukwe okwegatta ku NRA? Ate bwe yagwa mu bintu n’atabajjukira kubanga bangi obwavu bubagoya.

Ekibiina kino kyali kikulirwa Gen. Moses Ali era nga kirimu n’owooluganda lwa Abiriga, Maj. Gen. Ali Bamuze.

Kyokka bambega abamu ensonga eno tebagiteeka nnyo ku mwanjo nga bagamba nti emyaka egisukka 30 egiyiseewo, bwe kuba kwesasuza kwandibadde kwakolebwa dda nga ne Abiriga tannaweebwa bukuumi bw’abadde alina.

OBUBINJA BW’ABATEMU OBULI MUNDA:

Waliwo obubinja bw’abatemu abakozesa emmundu obulowoozebwa nti buli munda mu ggwanga ate ng’obumu buyambibwako abantu abakyamu.

Bano Pulezidenti yaboogerako nti baayingira mu bitongole by’ebyokwerinda. Obubinja obwo abamu bateebereza nti bwe buzze butemula mu ngeri y’emu era olwokuba bumanyi akawonvu n’akagga akali mu byokwerinda.

Abatemu babulawo nga tewali abakutte. Abamu bateebereza nti mu mbeera ebaddewo eya ISO okugezaako okufuuza abatta Kaweesi, okutta omuntu omulala ali mu ttuluba lya Abiriga, kye kyabadde kiyinza okuwugula abanoonyereza okubaggya ku Kaweesi.

Era okutta Abiriga nga waakayita ennaku bbiri nga Pulezidenti yaakamala okukakasa eggwanga nti agenda kufufuggaza abatemu abo kabonero akalaga nti baagala kusindika bubaka bulaga nti si batemu babulijjo.

BAAGALA KULAGA NTI ABATWALA EBYOKWERINDA TEBASOBOLA

Gen Kayihura we yaviira mu poliisi ng’ettemu n’okuwamba abawala byeyongedde. Kyalowoozebwa nti ttiimu ya Okoth Ochola ne Sabiiti Muzeeyi ejja kuleetawo enjawulo.

Kyokka okuwamba abantu kweyongedde nga n’okutta omunene alinga Abiriga kiraga nti ttiimu empya nayo tennaleetawo njawulo.

BASOOKA KWAGALA KUMUTTIRA ARUA

Ku Lwamukaaga nga October 14, 2017, abantu abakyamu, baasala ssengenge w’ekikomera ne bayingira mu maka ga Abiriga n’ekidomola ky’amafuta.

Enkuba yali etonnya, era okusinziira ku muka Abiriga, Amina Sijali, ekyabawonya kwali kuzuukuka era abazigu bwe bawulira oluggi nga lweggula ne badduka.

Baalekawo ekidomola ky’amafuta ku mulyango ge baali bagenda okukozesa okwokelera Abiriga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abakungu mu kibiina kya Gen.Muntu nga baslaa Cake okwaniriza Winnie Kiiza

Winnie Kiiza yegasse ku kib...

OMUBAKA omukyala owa Kasese, Winfred Kiiza yegaasse ku kibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) n’aweza...

Bannayuganda muve mu tulo -...

PULEZIDENTI Museveni akunze Bannayuganda okuva mu ttulo bataandike okusala amagezi g’okunoonya obuggagga n’asaba...

Gavana Mutebile

COVID19 ayigirizza Bannayug...

GAVANA wa bbanka enkulu Tumusiime Mutebile agambye nti Bannayuganda bagenda kukendeeza ku kumala gasasaanya nsimbi...

Nunda yeesize Katonda ku ky...

JACKSON Nunda olukutudde ddiiru ne URA FC n’asuubiza okuddamu okwaka nga bwe yali nga tannafuna buvune mu KCCA...

Golola

Golola alidde ogwa Tooro Un...

OMUTENDESI Edward Golola olumuwadde omulimu gwa Tooro United FC n’akomyawo banne bwe baawangula ekikopo ky’Essaza...