TOP

Bbebi bamukubye eddagala erimusse

Added 11th June 2018

DOKITA akubye bbebi empiso n’afa, nga kiteeberezebwa nti eddagala eryakozezeseddwa lyabadde ffu.

 Omwana Destiny Mukisa eyafudde

Omwana Destiny Mukisa eyafudde

DOKITA akubye bbebi empiso
n’afa, nga kiteeberezebwa nti eddagala
eryakozezeseddwa lyabadde ffu.
Poliisi eyanguye n’ekwata Dr.
Jackson Bakulu ne nnansi we,
Royce Kabugho be balumiriza nti
be baavuddeko okufa kw’omwana
Destiny Mukisa ow’omwaka ogumu.
Bagguddwaako omusango gwa
kutta muntu ku fayiro nnamba
DEF:01/2018.
Bino bibadde ku kyalo Kibutika
mu Lufuka zone e Ndejje mu
Makindye era nga Poliisi eggadde
n’akalwaliro mwe babadde bajjanjabira
akabadde kaakamala omwaka
gumu mu kitundu ku mizigo
gy’amaduuka ku luguudo olugenda
mu Kibutika.
Nansi Loyce Kabugho ye yasooka
okukolera
mu kalwaliro
kano
akaatandika
ng’omuzigo
ogutunda
eddagala
(Drug Shop)
wabula ne
yeegattibwako Dr. Jackson Baluku
era nga babadde bawa n’abalwadde
ebitanda.
Destiny Mukisa abadde azaalibwa
Pasita David Mukisa Lutalo omuyambi
mu kkanisa ya Light Temple
e Kabalagala era nga muyimbi mu
kkanisa eyo. Maama w’omugenzi ye
Maria Mukisa Kwagala nga batuuze
mu Lufuka Zone e Ndejje.
Mukisa agamba nti omwana
yalwala omusujja n’okuddukana
ne bamutwala mu kalwaliro ako
n’ajjanjabwa ku Ssande wabula embeera
n’egaana okutereera wadde
nga yaweebwa eddagala lingi okwali
n’obucupa bwa sirapu butaano.
Ayongerako nti Dr. Baluku yamuwa
ekitanda nga we bwakeerera
ku Lwokubiri yali yaakamuteekako
eccupa z’amazzi eziwerako kyokka
nga takyukako.
“Namugamba atusiibule
tumutwale mu ddwaaliro eddene
n’agaana. Yagamba nti k’amukube
empiso ya ‘Safe’ ey’amaanyi
wabula olwagimumaliramu omwana
n’azirika,” maama w’omwana bwe
yannyonnyodde.
Nnyina w’omwana agamba nti
bwe baalaba ng’embeera etabuse,
dokita yawa amagezi bamutwale
e Nsambya era baasitukiramu ne
dokita n’abawerekerako kyokka
baali tebannatuuka n’akutuka.
Beeyongerayo ne batuuka e
Nsambya abasawo ne bakebera
omulambo ne babategeeza nti
omwana yabadde akubiddwa eddagala
ekkyamu. Mu kiseera ekyo,
Dr. Baluku yabadde yeemuludde
dda ng’abuzeewo.
Poliisi yagguddewo omusango ku
Dr. Baluku ne Kabugho era n’etwala
omulambo gw’omwana okwongera
okugwekebejja.
Omwana yaziikiddwa ku biggya
bya bajjajjaabe ku kyalo Maziba
Mpigi ku Bikondo ku Lwokusatu.
Wabula ebyavudde mu kunoonyereza
e Mulago byalaze
ng’abakugu bakyalemeddwa
okuzuula eddagala eryakubiddwa
omwana kubanga omulambo
webaagutwaliddeyo, ab’e Nsambya
baabadde bamaze okugukubamu
eddagala erigukuuma obutavunda.
Jjajja w’omugenzi, Dr. Jane
Bbosa eyakulirako eddwaaliro
lya Yunivasite e Makerere
yavumiridde abasawo abatalina
bumanyirivu okujjanjaba abalwadde
ate n’akuutira n’abantu
bulijjo okwettanira amalwaliro ga
gavumenti n’amalala amanene
agalina abasawo abakugu okufuna
obujjanjabi obutuufu
Oluvannyuma Dr. Baluku yakwatiddwa
ne kizuulwa nti akalwaliro
kano tekabadde na lukusa lukakkiriza
kujjanjabirwamu bantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Poliisi ng’eteeka ekiwuduwudu ky’omulambo gwa Kadiidi (mu katono) ku kabangali yaayo.

Akkakkanye ku jjajjaawe n'a...

Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Rwengwe II ekisangibwa mu ggombolola y’e Kinkyenkye, mu disitulikiti y’e...

Poliisi ekyanoonyereza ku b...

OMWOGEZI w’ekitongole kya poliisi ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Charles Twine yagambye nti okunoonyereza...

Kenzo ne banne. Mu katono ye Bobi Wine

Kiki ekiri emabega wa Kenzo...

Lubega agamba nti ekintu kya Kenzo kyapangibwa aba People Power okumusosonkereza nga bamujooga aggweemu essuubi...

Kenzo bye yayogedde ku Bobi...

Waliwo ne Bannayuganda abali emitala w’amayanja naddala Dubai abaamusabye aleme kuddamu kulinnya mu nsi zaabwe...

Nnawasa omubanda n'antamya ...

NZE Naboth Nuwagira, 27, mbeera Kitintale. Obulamu bwange bwonna eby’abakyala saabiwanga nnyo budde nga nnoonya...