TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abatuuze b'e Kawempe ttula basattira olw'okusanga omusaayi nga gusiigiddwa ku mayumba gaabwe

Abatuuze b'e Kawempe ttula basattira olw'okusanga omusaayi nga gusiigiddwa ku mayumba gaabwe

Added 11th June 2018

Abatuuze b'e Kawempe ttula basattira olw'okusanga omusaayi nga gusiigiddwa ku mayumba gaabwe

Dan Ampande ng'ayogerera mu lukiiko lw'abatuuze e Kawempe Ttula

Dan Ampande ng'ayogerera mu lukiiko lw'abatuuze e Kawempe Ttula

ABATUUZE  b’e Kawempe Ttula bali mu kusattira olw’abantu abatannategeerekeka abagenze bayiwa omusaayi ku mayumba ag'enjawulo.   

Amayumba agasoba 40 poliisi ge yasanze nga gayiiridwaako omusaayi n'etwalako ogumu okugiyambako mu kunonyereza era n’erabula n’abakazi okukomya okwagala lifiti eziwadde abawamba abantu okwanguyirwa.

Mu kiro ekyakeesezza ku Lwokutaano  abatuuze b’e Ttula mu muluka gwa Kawempe II mu munisipaali ye Kawempe  baagenze okuggulawo enzigi okugenda ku mirimu  amaaso gagudde ku musaayi ogwayiriddwa mu miryango ku mayumba agasoba 40  baayise poliisi  eyakulembeddwamu Dan Ampadde agitwala ne bambega ne bayoola ogumu ku musaayi guno ne bagutwala okwongera okunoonyerezza .

Embeera  eno yatadde ekyalo ku bunkenke ekyawalirizza LC okukuba olukiiko mwe baayitidde Dan Ampadde atwala poliisi ye Ttula  okusalira awamu amagezi  ku nsonga z’eby’okwerinda ng’abatuuze abaamu baategeezezza nti kirabika waliwo abantu abaagenda mu Nyanja okunoonya obugagga eby’okoola n’ebibefulira  nga kati  basazewo okusaddaaka bantu kye baavudde bayiiwa omusaayi ku mayumba .

Ate abalala baategeezezza nti kandiba  kakodyo k’abatemu abagenda bawamba abantu ne  babatta okuwudiisa  ebitongole ebikuuma ddembe abamu ku batuuze abaayiriddwa omusaayi ku mayumba kuliko Annet

Dan Ampadde atwala poliisi ye Ttula yasinzidde mu lukiiko n'agumya abatuuze kuba omusaayi gwayiibwa ku mayumba gaabwe poliisi yasobodde okuyoolako ogumu n’egutwala okwongera okugunyoonyerezzako, yagasseeko n’ababula abakazi okukomya okulaba buli wa kidduka ne bamusaba Lifiti nga kino kiviriddeko abawamba abantu okwanguyirwa.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mmotoka ya minisita Atwoki eyakubiddwa amasasi.

Minisita asimattuse amasasi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku byenfuna mu offiisi y'omumyuka wa Pulezidenti, Dr Baltazar Kasirivu-Atwooki,...

Kiddu (ku kkono) ne munne.

Bannabyamizannyo abattiddwa...

Nga December 30 omwaka oguwedde, abantu abatamanyiddwa baasindiridde Isaac 'Zebra' Senyange, eyaliko kapiteeni...

Sserunjogi ng’alaga ebintu by’atonaatona omuli essaati, ebikopo n’ebirala ebikozesebwa mu kunoonya obululu okusikiriza abalonzi.

Sserunjogi kkampeyini aziko...

AWAGWA ekku tewabula kalondererwa, ekiseera kya kkampeyini bangi bakikozesezza okuyiiya ssente era gubeera mugano...

Ssentebe Andrew Kasatiiro ng'agezaako okunnyonnyola abaatafunye butimba.

Ab'e Jinja Kalooli batabuki...

Abatuuze b'e Jinja Kalooli mu Wakiso beeweereza ebisongovu n'abakulembeze baabwe lwa butabawa butimba bwa nsiri....

Kasibante ku mpingu  ng'akwatiddwa.

Agambibwa okugezaako okufum...

OMUSUUBUZI   aloopye omuvubuka ku poliisi n'amulumiriza  okumuggyiraayo ekiso amufumite abaduukirize ne bamutaasa....