TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ekimotoka ky'omusenyu kigoyezza endala musanvu ku Kaleerwe

Ekimotoka ky'omusenyu kigoyezza endala musanvu ku Kaleerwe

Added 11th June 2018

Ekimotoka ky'omusenyu kigoyezza endala musanvu ku Kaleerwe

Ezimu ku mmotoka ez'enyigidde mu kabenje nga ziggyibwawo

Ezimu ku mmotoka ez'enyigidde mu kabenje nga ziggyibwawo

OMUGOBA wa loole  y’omusenyu emulemeredde okusiba n'akoona mmotoka 7 ku kalipagano k’ebidduka ku kaleerwe ne mufiiramu omuntu omu omulala n'amenyeka okugulu .

 

Akabenje kano kaguddewo leero ku makya  emmotoka nnamba UAP 381B eyabadde ettise omusenyu ng’eva mu Lwera ku lwe Masaka omugoba waayo bwe yatuuse  emabega w’ekkanisa ya Ssenyonga ku luguudo lwa Northern by pass   yagenze okulinnya ku buleeki n’egaana okusiba yatandise okukuba engombe erabula abali mu maaso nti mmotoka egaanye okusiba .

Bwe yatuuse ku ttaawo ly’oku kaleerwe okumpi ne nkulongo  wabaddewo akalipagano k’ebidduka n'akoona mmotoka nnamba UAS 388R  ne ndala n’ezigenda nga zitomeregana okukakkana ng’omuwala  eyabadde atambuza ebibala (Fruits) omutwe ne bagumementula n’omuvubuka omulala eyabadde atembeeya naye ne mumenya okugulu  n’abalala ne bafuna ebisago  ne  baddusibwa mu ddwaliro e Mulago.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Amaka ga Bisaka agali ku kyalo Kapyemi.

Obugagga bwa Bisaka buwunii...

OBUGAGGA Bisaka bw'alese obuli mu buwumbi buwuniikirizza abantu abagamba nti, tabadde na mulimu mutongole gw'aggyamu...

Abantu nga baaniriza Pulezidenti e Busega.

Abawagizi ba pulezidenti Mu...

Abawagizi ba pulezidenti Museveni wano mu Kampala bakwatiridde ku makubo okuva e Busega okumwaniriza nga bamukulisa...

Honarebo Ssegirinya ng'alumya abayaaye.

Ssegirinya wansuubiza okunf...

NKUBAKYEYO Goolixy Nalumansi eyali muninkini w'omubaka omulonde owa Kawempe North, Muhammad Ssegirinya akiise ensingo....

Kansala Bitamiisi (ku kkono) abantu gwe baagambye nti muto.

Omwana asuuzizza maama eggaati

ABANTU bawuniikiridde bwe balabye omuwala abamu gwe baayisa omwana ng'awangudde obwakansala okukiikirira eggombolola...

Bakaluba Mukasa.

NUP ewangudde disitulikiti ...

EKIBIINA kya National Unity Platform (NUP) kyeyongedde okweriisa enkuuli mu kulonda kwa bassentebe ba disitulikiti...