TOP

Babakutte batunda 'Airtime' ow'ebicupuli

Added 11th June 2018

Abasajja bano okukwatibwa kiddiridde abantu okwekubira enduulu ku poliisi nga bagamba nti waliwo abasajja abatambula ne ‘airtime’ omungi mu mmotoka gwe beefuula nti bamutunda kyokka be bagenda okumuguza ne babaggyirayo emmundu ne babanyaga.

 Abasajja abaakwatiddwa nga bali ku poliisi.

Abasajja abaakwatiddwa nga bali ku poliisi.

ABASAJJA bana ababadde batunda ‘airtime’ ow’ebicupuli poliisi ebakutte ne bagamba nti baamuggya mu Congo nga baasooka kutuukira mu kabuga k’e Kihihi e Kanungu.

Abasajja bano okukwatibwa kiddiridde abantu okwekubira enduulu ku poliisi nga bagamba nti waliwo abasajja abatambula ne ‘airtime’ omungi mu mmotoka gwe beefuula nti bamutunda kyokka be bagenda okumuguza ne babaggyirayo emmundu ne babanyaga.

Omwogezi wa poliisi ya Kampala n’emiriraano, Lucas Owoyesigyire, yagambye nti abasajja bano okumatiza be baguza ‘airtime’, babalekerako amagoba mangi mu ngeri y’okubasikiriza.

Owoyesigyire yagambye nti, essaawa y’okufuna ssente bw’etuuka bagenda n’emmundu, ssente zonna omusuubuzi z’abeera akoze olunaku ne bazimunyagako.

Abaakwatiddwa ye, Benon Biraaro, Robison Muheki, Simon Bwambale ne Isaac Akankwasa nga munnaabwe omulala gwe yabadde naye yeemuludde n’adduka.

Abasajja bano ‘airtime’ gwe baabasanze naye yabadde aweza 112, 500,000/-, nga gwe babadde bakozesa okunyaga abantu. Owoyesigyire yagambye nti, baakwatiddwa poliisi y’e Naggalama nga nayo baabadde bagenze kunyaga bantu.

N’agamba nti poliisi ebanoonyerezaako okuzuula engeri gye baafuna ‘airtime’, ono n’abantu abalala be bakolagana nabo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo...

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga...

Aba NUP nga bawaga e Kamwokya.

Aba NUP si bamativu ku miso...

ABAKULEMBEZE b'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) bavuddeyo ku misolo emipya egiteekebwateekebwa gavumenti...

Zaake ng'ayogera e Kamwokya.

Omubaka Francis Zaake awera

Omubaka Francis Zaake akiikirira munisipaali y'e Mityana era nga ye mukulembeze w'abavubuka mu NUP, alojjedde Bannakibiina...

Kayongo ng'annyonnyola.

Nkyali mukulembeze w'akatal...

Abadde ssentebe w'akatale ka St.Balikuddembe, Godfrey Kayongo ategeezeza nti akyali mukulembeze w'abasuubuzi b'ekibiina...

Abakugu nga balaga ekyuma ekifuyiira n'okutta obuwuka bwa Covid 19.

Bakoze ekyuma ekifuyiira n'...

Abakugu mu bya tekinologiya okuva mu ggwanga lya Romania nga bali wamu n'ab'ekitongole kya Good Care baliko ekyuma...