TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Mukazi w'omugagga wa Movit atutte Gav't mu kkooti

Mukazi w'omugagga wa Movit atutte Gav't mu kkooti

Added 12th June 2018

AB’ENGANDA z’omugagga wa Movit, Simpson Birungi bagenze mu kkooti Enkulu ne baggula omusango ku gavumenti ne poliisi ogw’okukwata omuntu waabwe nga kati baagala kkooti eragire poliisi etwale Birungi mu kkooti bw'aba alina omusango gwonna gw'emuvunaana.

 Omugagga wa Movit, Simpson Birungi eyakwatiddwa yali ne mukyala we.

Omugagga wa Movit, Simpson Birungi eyakwatiddwa yali ne mukyala we.

Bya ALICE NAMUTEBI

Bano bakulembeddwaamu mukyala we Sheila Birungi . Birungi era avunaana akulira ekitongole ekikkesi ekya ISO,  aduumira poliisi Martin Okoth  Ochola n’akulira ekitongole kya CMI.

Birungi agamba nti bba yakwatibwa abasajja abalina emmundu nga June 7, 2018 bwe yali agenze ku poliisi y'e Kibuli ku misango gy’okutemula eyali omukozi we Stephen Asaba mu 2010.

Agamba nti poliisi n’ebitongole ebikuumaddembe omwami we byamukutte mu bukyamu kubanga amateeka gabalagira kumutwala mu kkooti nga tewannayita ssaawa 48 kyokka bamaze naye ennaku eziwera nga tebamutwala mu kkooti.

Asaba ng’ono yali maneja wa Birungi yattibwa abantu abatannategeerekeka omulambo gwe ne bagusuula e Nakawuka ekisangibwa mu disitulikiti y'e Wakiso.

Eggulo akulira ISO,  Col. Frank Bagyenda Kaka yakakasizza okukwatibwa kwa  nnannyini Movit, Simpson Birungi n'agamba nti bamulina mu kaduukulu kaabwe era bamunoonyerezaako.

Okukwatibwa kwa Birungi  kiddiridde poliisi okufuna obujulizi nti yandiba nga yeenyigira mu kutemula  Asaba.

Waliwo n’obujulizi aba ISO bwe bafunye obw’omu ku batemu abenyigira mu ttemu lino okulumiriza Birungi nti ye yabawa omulimu guno era n'abasasula ne ssente.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Basajjabalaba

Ebyapa Basajjabalaba by'ali...

EBYAPA omugagga Haji Hassan Basajjabalaba bye yafuna ku ttaka lya Panda PL e Luzira, bisattiza abatuuze nga bagamba...

Abatuuze nga bagezaako okuzikiriza omuliro

Omuliro gwokezza amayumba 1...

ABATUUZE b’e Kawaala bali mu maziga olw’omuliro ogugambibwa okuva ku masannyalaze okusaanyaawo amayumba agawera...

Abakozi ba Imperial Royale ...

ABAKOZI ba wooteeri ya Imperial Royale bavunaaniddwa okujingirira ebiwandiiko n’okufiiriza gavumenti ya Uganda...

Bannansi ba Rwanda bakwatid...

POLIISI ekutte bannansi ba Rwanda 32 ababadde bakoze olukiiko e Mityana mu ngeri emenya amateeka. Baasangiddwa...

Ab'e Korea batandise kampey...

AB’E Korea bali mu kugaba musaayi okumala ennaku ttaano okutaasa bannaabwe abakwatibwa ekirwadde kya Corona.