TOP

Abazadde b'e Budo basitudde enkundi

Added 14th June 2018

Abazadde b’e Budo basitudde enkundi

 Nnaalongo Betty Kigozi.

Nnaalongo Betty Kigozi.

EBY’OKUKWATA omugagga Simpson Birungi nnannyini kkampuni ya MOVIT bisaanudde abazadde abafiirwa abaana mu muliro ogwakwata essomero lya Budo Junior. Abazadde bagamba nti, okusinziira ku bye bazze balaba okuva abaana lwe baayokebwa, kano tekaali kabenje wabula olukwe olwali olutegeke ate nga luwanvu! Kuno kwe baasinziira okugamba nti y’ensonga lwaki omusango guno gwafutyankibwa kati emyaka 10 egiyise.

Baagambye nti abatemu baakozesa ettima n’obukambwe obw’ekika ekya waggulu okutuukiriza ebigendererwa byabwe era byonna bye baakola baakakasa nti tewali mwana yenna ateekwa kufuluma mu kisulo nga mulamu. Maama wa Merriam Nakato eyafiira mu muliro, nga yaakumaakuma bazadde banne yategeezezza nti ekyatuuka ku baana baabwe alowooza kwali kusaddaaka.

Yagambye nti mu muliro ogwata abayizi, tewali mwana yafuna buvune butono yasobola kwogera kye yalaba. “Abaana baffe be baali baagala battibwe bonna okukakasa nti tewali awona. Abalala be baali batayagala bonna baawona awatali wadde afunye kisago”, Nnaalongo Betty Kigozi bwe yagambye. Yayunguse amaziga bwe yajjukidde akaseera engeri poliisi gye yamugaana okutunula ku mulambo gwa muwala we Mariam.

Yagambye nti mu kisulo mwasangibwamu emirambo gy’abasajja babiri abagambibwa okukola obutemu ku baana kyokka nabo ate bwe baamaliriza omulimu abalala abaasigala ebweru ekizimbe ne bakiggala nabo ne bafiiramu. Abatemu baakakasa nti n’obujulizi obutono bo bwe bakuhhaanya poliisi ebubuzaawo.

Yagambye nti bambega ba poliisi abaali ku mulimu gw’okunoonyereza baatuusa ekiseera ne bababuulira amazima nti waliwo omukulu ayimiridde mu kunoonyereza okuliwo nti bo tebakyasobola wadde okweyongerayo mu maaso. Yagambye nti obujulizi bwonna busonga ku bagagga abaali mu lukwe kyokka ate nga n’abaali bakulira essomero balina okukunyizibwa buli muntu ayogere kye yakola amazima gaveeyo.

Kigozi yagambye nti yenna eyakola ettemu eryo tagenda kufuna mirembe era n’asaba ku lw’abazadde banne poliisi n’ebitongole byokwerinda ebirala okusituukiramu okutunuulira n’okutaganjula buli nsonda okuzuula abaabattira abaana awatali kuttira ku muntu ku liiso. Yagambye nti bakkiriziganyizza ng’abazadde abafiirwa abaana baabwe nti bagenda kweyiwa mu kkooti balumirize n’okugoberera omusango ku muntu yenna eyakwatiddwa. “Poliisi ezze evuluga ebinoonyezebwa era tubatunuulidde nkaliriza oba waliwo kye bagenda okukolawo ekyenjawulo” Kizito bwe yakkaatirizza.

Yagambye nti kati kyebatunuulidde kkooti. “Ebitongole bya Gavumenti ebirala twabivaako kati amaaso gatuli mu kkooti. Twagoba ebintu ne bitukooya naye kati wazzeewo essuubi nti amazima gagenda kweyoleka osanga tunakkakkana ku bulumi bw’abaana baffe”. Bweyakomekkerezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ennyumba Aligo gy'asulamu wamu ne bazzuku

WORLD POPULATION DAY: Abant...

KU Lwomukaaga nga July 7 lunaku lwa nsi yonna olw’obungi bw’abantu era eggulo we lwatuukidde nga mu Uganda mulimu...

   Jane Nnabukeera eyasudde bbebi mu kabuyonjo

Wuuno maama eyasudde bbebi ...

Poliisi egamba nti Nnabukeera ng'amaze okusuula omnwana we mu kaabuyonjo yaddayo n'abikira abatuuze nga bwe yamufiiriddeko...

Mutumba eyakumye ku nnyumba ye omuliro ne mufiiramu bbebi we Nambooze

Akumye ku famire ye omuliro...

Ronald Mutumba okuva mu mbeera kiddiridde okukubira nga mukyala we Annet Mirembe amasimu nga tagakwata ate ng'olumu...

Abakulembeze mu Kawempe ben...

ABAKULEMBEZE ba LC mu Kawempe balaze obwennyamivu eri balandiroodi abasusse okugobaganya abapangisa nga babanja...

"Abatakisi bafunye obukodyo...

POLIISI erabudde nti egenda kukola ekikwekweeto ku batakisi abasiize endabirwamu z’ebidduka byaber langi nga bagenderera...