TOP

Kayihura bamukutte ku bya Kaweesi

Added 14th June 2018

Kayihura bamukutte ku bya Kaweesi

 Kale Kayihura

Kale Kayihura

AMAGYE okukwata Gen. Kale Kayihura kiddiridde obujulizi obukakasa nti olukwe lw’okutta Felix Kaweesi lwakolebwa munda mu poliisi.

Nga Kayihura tannakwatibwa, amagye gaasoose kunyweza basajja be abazze bakwatibwa omu ku omu-bonna awamu bali 14 okuli boofi isa abamaanyi abaali ku lusegere lwa Kayihura.

Kyategeezeddwa nti emmundu yennyini egambibwa okukozesebwa okutemula Kaweesi nayo yazuuliddwa ng’eri mu mikono gy’omu ku boofi isa ba poliisi (amannya galekeddwa).

Abaakwatiddwa abalala kuliko Herbert Muhangi eyali akulira Flying Squad; eyali akulira ekitongole ekikessi ekya Crime Intelligence Lt. Col. Ndahura Amooti n’eyali abuuliriza ku misango egizzibwa nga bakozesa yintaneti Richard Ndabwoine.

Amagye gasindise ekibinja mu Algeria okunona eyali omuyambi wa Kayihura, ACP Jonathan Baroza akolera ku kitebe kya Uganda mu Algeria.

Kayihura 62, amagye gaamunonye ku ku ffaamu ye e Lyatonde gy’abadde alemedde bukya awaayo ofi isi y’obuduumizi bwa Poliisi nga March 15, 2018.

Yaleeteddwa ku nnyonnyi y’amagye eyamutuusizza e Kololo we yaggyiddwa mu kwerinda okw’amaanyi n’atwalibwa ku kitebe ky’amagye e Mbuya.

Amagye okukima Kayihura kyaddiridde omuduumizi wa UPDF Gen. David Muhoozi okumulagira yeeyanjule ku kitebe ky’amagye e Mbuya ku Lwokubiri era n’amusindikira ennyonnyi nnamunkanga okumutambuza. Kyokka ennyonnyi ya UPDF bwe yatuuse e Lyatonde yasanze Kayihura yeeyongeddeyo e Mbarara n’ekomawo nga temulina.

Abaserikale abeebulunguludde woteeri ya Courtyard International Hotel we baabadde balina okusanga Kayihura ku Lwokubiri, gattako abaserikale abaabadde ku faamu ya Kayihura e Kashaga, gaavuddeko amawulire okusasaana nti Kayihura yabadde akwatiddwa.

Kyokka eggulo, ennyonnyi yakedde kuddayo e Lyantonde era Kayihura n’aleetebwa. Ku Lwokubiri amagye gaalabiddwa ku wooteeri mu Lyantonde Kayihura w’atera okugobera abajaasi abalala nga balawuna Lyantonde.

Kigambibwa nti Kayihura bwe yeekengedde nti ayinza okukwatibwa, yavudde ku ffaamu e Katebe mu ggombolola y’e Kashagama mu Lyantonde okugenda e Mbarara apange ekiddako.

Amagye tegaamatidde nti agenze e Mbarara kwe kutandika okufuuza Lyantonde era ensonda zaategeezezza nti ekibinja ky’abajaasi omwabadde ab’ekitongole ky’amagye ekikessi ekya Chieftaincy of Military Intelligence (CMI), Internal Security Organisation (ISO) Special Forces Command (SFC) baafuuzizza buli kasenge mu wooteeri eya CourtYard ne Sky Blue okukakasa nti Kayihura talina we yeekukumye era abagenyi n’abakozi abaasangiddwa mu wooteeri ezo baabuuziddwa kajogijogi w’ebibuuzo ku mayitire ga Kayihura.

Kino kikwatagana n’ekiwandiko ekyafulumiziddwa omwogezi wa UPDF Brig. Richard Karemire eyategeezezza nti nnamunkanga y’amagye we yatuukidde e Lyantonde omulundi ogwasoose ku Lwokubiri nga Kayihura ali Mbarara.

Kayihura yaggyibwa ku buduumizi bwa Poliisi nga March 4, 2018 mu nkyukakyuuka, Pulezidenti mwe yalondera Martins Okoth Ochola okuduumira Poliisi ng’amyukibwa Brig. Muzeeyi Sabiiti. Mu nkyukakyuka ezo Museveni era yagoba Lt. Gen. Henry Tumukunde ku bwaminisita ow’obutebenkevu n’amusikiza Gen. Elly Tumwine.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Matia Lubega eyabula ku bakadde be

Eyabula kati emyezi ebiri y...

Omwana eyabula kati emyezi ebiri nga n'okutuusa kati tannamanyikako mayitire yeeraliikirizza bazadde be nga bagamba...

Omuwala atuuyanidde mu ofii...

OMUWALA agambibwa okubba ensimbi emitwalo 290,000/= ku muvubuka yakiguddeko omuvubuka bwe yamuguddeko mu Kampala...

Ensi kuyiiya: Wuuno nnamuka...

ABAVUBUKA bangi banyooma emirimu olwo ne badda mu kwekubagiza nga bwebatalina mirimu n’obwavu obubalemesa okubaako...

Ensi ekalubye omukazi ow'em...

Nansubuga agamba ku myaka 75 asoboola okwetuusaako buli kimu.

Dr. Diana Atwine n'abakulu abalala nga balambula eddwaaliro

Dr. Atwine alagidde eddwali...

MINISITULE y'ebyobulamu ekkirizza eddwaliro ly'e Kayunga erimaze emyaka ebiri nga liddaabirizibwa litandike okujjanjaba...