TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nawa pulezidenti akatambi akafa ku ky'okutta Kaweesi -Mbabazi

Nawa pulezidenti akatambi akafa ku ky'okutta Kaweesi -Mbabazi

Added 16th June 2018

Omuvubuka Rasita alumiriza Mbabazi okubaako ky’amanyi ku ttemu lino agamba nti baali ne Mbabazi mu lukiiko olwasembayo olw’okutta omugenzi Kaweesi ku Kati Kati, olwetabwamu abanene mu byokwerinda era bonna yaboogera amannya (gasirikiddwa). Rasita ono, naye yeerumiriza nga bwe yali mu lukiiko luno nga ogugwe gwali gwa kuvuga batemu ku pikipiki, nti yasalawo akolagane ne ISO agibuulire amazima kubanga misoni olwaggwa nga bamaze okutta Kaweesi, ate omukulu eyabawa omulimu teyabasasula kwe kusalawo yeeweeyo eri ISO ayogere amazima.

 Rasta ku ddyo alumiriza Mbabazi ku by'okuba mu lukwe olwatta Kaweesi

Rasta ku ddyo alumiriza Mbabazi ku by'okuba mu lukwe olwatta Kaweesi

GIWEZE emyezi mwenda bukya ekitongole ky’ebyokwerinda ekya ISO kisibira Christine Muhoza amanyiddwa nga Mbabazi, omutuuze wa zooni ya Ssendawula e Lungujja mu maka ge.

Kimuteebereza okubaako by’amanyi ku by’okufa kw’eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga, omugenzi, Andrew Felix Kaweesi eyakubwa amasasi agaamuttirawo mu March wa 2017.

Eky’okumusibira mu maka ge kata kirwanaganye ebitongole by’ebyokwerinda mu ggwanga okuli; poliisi, Flying Squad n’amagye, poliisi bwe yali egenze okumununula oluvannyuma lwa wiiki bbiri ng’asibiddwa.

N’okutuusa kati omukazi ono akyasibiddwa mu maka ge. Akulira ekitongole kya ISO mu ggwanga, Col Frank Kaka Bagyenda, nga yaakasibira Mbabazi awaka we mu September w’omwaka oguwedde, yategeeza nga bwe baali bagudde mu lukwe olw’abantu abaali baagala okumutta (Mbabazi) basaanyeewo obujulizi bw’alina mu musango gwa Kaweesi.

Mbabazi agamba nti nga tebannamukwata kumusibira waka, yasooka kusisinkana mukulemebeze wa ggwanga n’abaako akatambi ke yamuwa akaalimu obubaka obw’amaanyi ennyo.

Mu kugenda ewa Pulezidenti yagenda ne Kaka yennyini, wabula Kaka naye teyamanya nti ate Mbabazi yali alina akatambi k’atwalidde omukulu, ekintu ekikyamutakuza omutwe n’okutuusa kati nga yeebuuza biki Mbabazi bye yawa Pulezidenti.

Mbabazi agamba nti wadde Kaka amuli bubi ku katambi ako kyokka ye tayinza kumubuulira by’akaliko kubanga yakatuusa ku muntu omutuufu, Pulezidenti.

Olw’obubaka obwali mu katambi ako, kigambibwa nti Pulezidenti yalagira musajja we Kaka okuwa Mbabazi obukuumi bwonna obwetaagisa obutabaawo kikyamu kyonna kimutuukako, osanga kye kintu ekikyamukuumye ng’assa n’okutuusa leero.

Omuvubuka Rasita alumiriza Mbabazi okubaako ky’amanyi ku ttemu lino agamba nti baali ne Mbabazi mu lukiiko olwasembayo olw’okutta omugenzi Kaweesi ku Kati Kati, olwetabwamu abanene mu byokwerinda era bonna yaboogera amannya (gasirikiddwa).

Rasita ono, naye yeerumiriza nga bwe yali mu lukiiko luno nga ogugwe gwali gwa kuvuga batemu ku pikipiki, nti yasalawo akolagane ne ISO agibuulire amazima kubanga misoni olwaggwa nga bamaze okutta Kaweesi, ate omukulu eyabawa omulimu teyabasasula kwe kusalawo yeeweeyo eri ISO ayogere amazima.

Ono yalumiriza Mbabazi nti omulimu ogwamuweebwa mu lukiiko olwo gwali gwa kwogeraganya ne ddereeva wa Kaweesi kubanga yali munywanyi we nfa nfe, ku kifo ki w’alina okusibira mmotoka n’obubonero bwe yalina okukozesa okulaga nti ddala Kaweesi mu mmotoka mw’ali.

Ebbanga Mbabazi ly’amaze mu busibe buno yeemulugunya agamba, akulira ISO Col. Frank Kaka amutulugunyizza nnyo olw’obutasobola kutuukiriza byetaago bye ate nga n’emisango gye yamukwatira tamuggyangako wadde sitatimenti, oba okutwalibwa mu mbuga yeewozeeko.

Embeera gye mpitamu entulugunya

Bwe twayogeddeko ne Mbabazi ku mbeera gy’ayitamu bukya asibirwa mu nju ye yagambye bino.

“Ddala bwe mba nnina omusango, lwaki sitwalibwa mu kkooti ne nvunaanibwa. Omuvubuka annumiriza nti twali mu lukwe lw’okutta Kaweesi waali bamulina, n’amannya gaabo b’ayogerako abaakulira okutta Kaweesi nabo weebali.

Nfunye endwadde ze saalina omuli; puleesa, alusa n’okweraliikirira kubanga sikyafuna byakulya bimala Kaka tampa ssente zimala. Buli mwezi Kaka ampa 800,000/-, okukola ku byetaago byange byonna, ku zino nsasulako omukozi wange eyeewaayo okubeera nange mu mbeera embi gye ndimu, mmusasulako 100,000/- buli mwezi.

Amasannyalaze gamalawo 200,000/- omwezi kuba abaserikale abasoba mu 10 abankuuma bonna kwe bakozesa, amazzi nago nsasula ezikunukkiriza 200,000/- , nnina omwana asoma ku Institute e Makerere naye atwalako z’entambula n’okulya, ebyetaago byonna bigenda okuggwaayo nga nsigazzaawo 200,000/- naye ntono nnyo tezimala era oluusi tusula enjala ne tulya kimu.

Ne bwe ndwala tebanzikiriza kugenda mu ddwaaliro ate n’omusawo anzijanjaba gwe bampa abanja kati obukadde butaano.

Ennyumba nali sigimalangayo nasasulako kitundu, nnyiniyo akyabanja ate ebbanga lye twalagaana lyaggwaako.

Njagala Pulezidenti aveeyo annyambe ku nsonga yange, waakiri ntwalibwe mu mbuga z’amateeka nvunaanibwe okusinga okunkuumira mu mbeera bweti nga sivunaanibwa ate ng’agamba waliwo omusango gwe nnina”, Mbabazi bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Musinga

Poliisi eraze enguudo ezige...

PULOGULAMU ya poliisi gye yafulumizza okulungamya eby’entambula ku luguudo lwa Jinja Road ng’abeegwanyiza obwapulezidenti...

Abakungubazi nga bayingira mu kkanisa e Kawaala.

Bazirise nga batuusa omulam...

EBIWOOBE n’emiranga byabuutikidde ekkanisa ya Revival Church e Kawaala ng’omulambo gw’abadde agisumba, Pasita Augustine...

Kabaaya ne ofiisa wa poliis...

POLIISI ng’eri wamu n’ekitongole ekirwanyisa obuli bw’enguzi mu maka g’obwapulezidenti ekikulirwa Lt. Col. Edith...

Pulezidenti Magufuli

Bawakanyizza obuwanguzi bwa...

Mu kiseera kino ng’ensi eri ku bunkenke olwa Corona era nga n’amawanga mangi gakyali mu muggalo, Magufuli yagaana...

Israel etenderezza Museveni...

EGGWANGA lya Israel litenderezza Pulezidenti Museveni olw’okuba omusaale mu kubatabaganya ne Sudan bwe baludde...